Jump to content

Allan Children's Foundation

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Allan Children's Foundation kibiina ekisinganibwa mu Uganda ekitadukanyizibwa gavumenti. Kyatandikibwaawo mu 2019 ng'era kisinganibwa mu Mawanga G'omubuvanjuba bwa Afrika mu Uganda mu Disitulikiti y'e Wakiso. [1]

Allan Children's Foundation kibiina ekyatandikibwawo Allan Kato mu 2019. [2] Ekibiina kino kyategeeza nga bwekyali kiwa abaana abataka wansi wa 1000 obuyambi mu by’enjigiriza mu 2023. [3]

Omubala gwa Allan Children’s Foundation gugamba nti ‘ Empowering lives through Education ’ oba gamba nti Okusitula Obulamu nga bayita mu By'enjigiriza, gulaga omulimu gwakyo ogw’okukola ku nsonga z’obwavu, eby'obulamu, nga bayita mu kulongoosa mu kufuna n’omutindo gw’ebyenjigiriza, ng’esira liteekeddwa ku mujiji gwa Uganda omuto. [1] Pulojekiti za Allan Children Foundation ziteeka esira okusuka ku mpeereza z’eby'enjigiriza ezisookerwaako okusobola okwongera okwetaba mu bintu ebitali bimu n’okukubiriza abaana okunoonyereza ku bye baagala okumannya n’ebyo bye baagala okutegeera. [2] [4] Ebigendererwa by’ekibiina kino kwe kuwa abaana abatalina mwasirizi n’abatalina webabeera emikisa gy'okulaakulanya mu bujjuvu obusobozi bwabwe obw’omubiri, obw’amagezi n’okuyiiya; [5] okuyamba n’okukolagana n’abantu sekinnoomu n’ebibiina ebikola ku by’enjigiriza n’embeera y’abaana enungi; [5] okukuuma abaana abatulugunyizibwa n’okulagajjalirwa, n’okuzaawo enkolagana mu famire zaabwe; [1] n’okukola kakuyege w’okumanyisa abantu ku ddembe ly’abaana. [6]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 Mugisha, Mugibson (2 March 2023). "The Allan Children's Foundation, Raising A Beacon Of Hope For Abandoned Children - MUGIBSON". mugibson.com. Cite error: Invalid <ref> tag; name "auto2" defined multiple times with different content
  2. 1 2 Reporter, Express (5 September 2023). "Allan Children's Foundation: A Home of Hope for over 150 orphaned children". Cite error: Invalid <ref> tag; name "auto1" defined multiple times with different content
  3. Taremwa, Trevor (15 March 2023). "Allan Children's Foundation launches campaign to build home for underprivileged children". Pulse Uganda.
  4. "How Allan Children's Foundation is Changing Lives". 23 March 2023.
  5. 1 2 "Allan Children's Foundation donates scholastic materials to 300 children". New Vision. 20 September 2023. Retrieved 30 December 2024.
  6. Mbabazi, Charity (29 August 2023). "Allan Children's Foundation Initiates Fundraising Campaign to Construct a Home of Hope for 150 Orphans".

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]