Allan Munaaba
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Yazaalibwa nga | 19 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1989 | |
| Omulimu | Omusambi w′omupiira | |
| Omuzannyo | omupiira ogw'ebigere | |
Allan Tarsis Munaaba (yazaalibwa nga 19 Ogwokuna1989) muzannyi wa mupiira Omunnayuganda eyawummula era yazannyirako mu Uganda Revenue Authority SC mu liigi ya Uganda Premier ng'omuzibizi wa kkono. Mu kiseera kino, akola nga akulira ttiimu ya Uganda Revenue Authority SC okuva mu Gwomwenda 2021.[1][2]
Okuzannyira kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Munaaba yatandika okuzannya omupiira mu Jinja Municipal Council FC mu 2005,[3] SC Villa era yasemba kuzannyira mu Uganda Revenue Authority SC. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (October 2025)">citation needed</span> ] Y'egatta ku Uganda Revenue Authority SC mu 2008 n'azannya omupiira gwe ogwasooka ne Young Africans FC mu Cecafa Cup 2008,[3] Uganda Revenue Authority SC yawangula ne ggoolo 2-0 Allan bwe yakola assist ku ggoolo eyookubiri. Yateeba ggoolo ye eyasooka mu Uganda Revenue Authority SC nga battunka ne Sharing FC e Nakivubo mu 2009. Allan yali mu ttiimu eyazannyira mu mpaka za CAF Confederation Cup 2015 era n’azannya mu mipiira gyonna.[4] Allan era yaliko kapiteeni wa ttiimu ya Uganda Revenue Authority SC.[5] Mu Gwomukaaga 2020, yawummula omupiira.[6] Mu Gwomwenda 2021, yalondebwa ng'akulira ttiimu ya Uganda Revenue Authority SC omuggya ng’adda mu bigere bya Henry Mayeku.[1]
Engeri y’obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2012, Munaaba yatikkirwa diguli mu by’obusuubuzi mu by’okutunda okuva mu yunivasite y’e Makerere.[3][7]
Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1st Runners Tusker cup(1): 2008
- Liigi ya Uganda eya Premier : 2
- FUFA Super Cup: 2
- 2010, 2013
- Uganda Cup : 2
- 2011-2012, 2013-2014
- Mapinduzi cup: 1
- 2016
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Isabirye, David (September 18, 2021). "Allan Munaaba: URA Football Club entrust former player with CEO role". Kawowo Sports.
- ↑ "Left Back Allan Munaaba Hangs Up His Boots".
- 1 2 3 "Bukedde News". Archived from the original on 25 July 2018. Retrieved 18 May 2022.
- ↑ "Allan Munaaba - Soccer player profile & career statistics - Global Sports Archive".
- ↑ "Mapinduzi cup day 11: Young Africans qualify for the semis with Singida draw as Rivals Simba exit competition after defeat to URA - MySoccer24". mysoccer24.com. Archived from the original on 18 May 2022. Retrieved 18 May 2022.
{{cite web}}: CS1 maint: unfit URL (link) - ↑ Isabirye, David (30 June 2020).
- ↑ "URA FC left back Munaaba shows another talent". September 27, 2016. Archived from the original on 5 April 2023. Retrieved 18 May 2022.