Jump to content

Allan Musoke

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox Rugby biographyAllan Musoke (yazaalibwa 1980) munnayuganda omuzannyi wa Rugby union mu Uganda. Azannya nga omuzanyi w'okumabbali g'ekisaawe. Mu by’ekikugu, mukugu ayigiriza n’okukulaakulanya akola nga eyebuuzibwako mu kukulembera n'okulabirira abakozi mu kkampuni ya Strategic Engagement Limited.

Musoke yagezesa emizannyo egiwerako okuva mu myaka gye egy’obuvubuka. Yazannyira DMark Power ensero (Basketbal) mu liigi ya FUBA, okuva mu 1996 okutuuka mu 1999, ng’omuteebi era abba emipiira ku bazibizi asobole okugiteeba (Shooting guard), n’ekisulo kya Nsibirwa ku yunivasite y’e Makerere omupiira gwebigere, okuva mu 2000 okutuuka mu 2002, ng’omuteebi, okutuusa lwe yasalawo okwewaayo mu kibiina kya rugby kyokka.

Musoke yali omu ku bazannyi ba Rugby bannayuganda abasinga obulungi, wadde teyazannyirako bweru wa ggwanga. Yakola obusuubuzi ne Kampala Old Boys (KOBs) RFC okutuusa mu 2012 lwe yawummula omuzannyo. Yaliko emirundi ebiri omuzanyi asinze okulabika obulungi mu muzannyo (MVP) owa liigi ya Uganda eya Rugby.

Ku mutendera gw'ensi yonna, yazannyira Uganda, era mu kiseera kino ye muteebi akyasinze kuteebera ttiimu y'eggwanga (Cranes). Yali muzannyi wa nkizo mu ttiimu eyawangula ekikopo ky'Afirika ekya Rugby ki (CAR Africa Cup) nga 29 Omwezi ogwomwenda 2007, mu luwangula ku Madagascar olwa ggoolo 42-11, mu muzannyo mweyateebera ng'ateeka omupiira ku lukoloboze ku ttaka mu goolo ya tiimu yaabwe . [1]

Musoke nera yazannyira ttiimu ya African Leopards ey’amawanga amangi, nga 23,Omwezi ogwomusanvu 2005, mu kukubwa 15–30 ku bayizi ba South Affica, mu Ellis Park, Johannesburg era oluvannyuma yali kitundu ku nnambula ebbiri ezaddirira e Bungereza (Amagye ga Bungereza) ne Bufalansa (Bufaransa ey'abali wansi w'emyaka amakumi abiri - U20).

Yasalawo okudda mu muzannyo gw'ensero nate era mu DMark Power mu liigi, ya Uganda, ey'ekibiina ekitwala omuzannyo gw'ensero (FUBA) mu 2009, ate era nga bwagenda mu maaso n'emirimu gye egy'omuzannyo gwa rugby . Mu kaseera kano akatono ddala yawangula engule za liigi y’eggwanga bbiri mu 2010 ne 2011 ne Power.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Uganda wins CAR Africa Cup". Archived from the original on 2012-10-15. Retrieved 2011-07-06.
  1. "Uganda wins CAR Africa Cup". Archived from the original on 2012-10-15. Retrieved 2011-07-06.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]