Allan Okello
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Allan |
| Erinnya lya famire | Okello |
| Yazaalibwa nga | 4 Gwamusanvu(Kasambula) 2000 |
| Gy'azaalwa | Lira |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | association football player |
| Ekifo ky'azannya/ obumanyi | midfielder |
| Azannyira mu Kiraabu | Kampala Capital City Authority FC, Uganda Revenue Authority SC, Kiraabu ya Vipers SC, Young Africans S.C., Uganda Cranes |
| Omuzannyo | omupiira ogw'ebigere |
| League or competition | Africa Cup of Nations |
Allan Okello (Yazaalibwa nga 4 Ogwomusanvu 2000)[1] nga Munnayuganda azannya omupiira gw'ensimbi ng'omuwuwuttanyi mu Liigi y'e Tanzania ey'okuntikko mu kiraabu ya Young Africans[2][3] n'e ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.[1][4]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa n'akuzibwa mu Ggombolola y'e Barr, mu Disitulikiti y'e Lira mu Bukiikakkono bwa Uganda, Okello yeesanga e Kampala bweyali asomera ku Kibuli Secondary School agamu ku masomero agasinga etutumu mu wekituuka ku kusamba ng'eno yatuukayo oluvannyuma lwa nnyina okufa mu 2012. Okello yazaalibwa abagenzi Patrick Ojom ne Joan Agomu.[5]
Ku Kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]KCCA
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 24 Ogwokubiri 2017, Okello yayanjulwa ku kisaawe kya Kampala Capital City Authority' e Lugogo.[6] Okello yateeba ggoolo ssatu n'okukola omukisa gumu ogwavaamu ggoolo ku mupiira gwe ogwasooka ng'azannyira Kampala Capital City Authority bwe baali bakuba Onduparaka FC 7–0 ku kisaawe kya Phillip Omondi nga 27 Ogwokubiri 2017,[7] n'afuuka omusambi eyasooka okuteeba ggoolo essatu mu mupiira ogumu Liigi ya Uganda mu sizoni ya 2016–2017.[8] Mu Gwomusanvu 2017 ng'ali mu siniya ey'omukaaga e Kibuli Secondary School gye yali amaze emyaka mukaaga okuva mu 2012, ttiimu ez'amaanyi okwetooloola ensi yonna okugeza Mamelodi Sundowns, Amsterdamsche Football Club Ajax ne kiraabu y'e Misiri Al Ahly Sporting Club zaalaga obwagazi eri Okello. Wabula kitunzi we Isaac Mwesigwa yakakasa nti teyali wakuva mu ggwanga okutuusa ng'amalirizza emisomo gye egya siniya ey'omukaaga.[9]
Sizoni ya 2018–19
[kyusa | kolera mu edit source]Okello yazannya omupiira gwe ogusooka mu sizoni nga 28 Ogwomwenda, ne Soana FC mu kisaawe kya StarTimes Phillip Omondi, Kampala Capital City Authority (yawangula 2-1).[10] Yateeba ggoolo ye esooka mu sizoni nga battunka ne Onduparaka nga 19 Ogwekkumi mu kisaawe kya Green Light, Arua.[11] Okello yazannya omupiira gwe ogwasembayo mu sizoni nga battunka ne Maroons FC nga 4 Ogwokutaano 2019, mu kisaawe kya StarTimes Phillip Omondi.[12] Yazannya emipiira egisukka mu 24 mu sizoni eyo. Kampala Capital City Authority yawangula ekikopo kya Liigi. Okello sizoni yamalako Liigi ya Uganda eya 2018–2019 ng'alina ggoolo mukaaga.[13]
Paradou
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 21 Ogwoluberyeberye 2020, Okello yakola endagaano ya myaka ena ne Paradou AC . [14] eyali eteekeddwa okugwaako nga 21 Ogwoluberyeberye 2024. Ebyembi, endagaano ya Allan ne kiraabu ya Algeria yasazibwamu oluvannyuma lw’okukaanya, ekyamuleka nga talina kiraabu okumala akaseera.[15]
Akomawo ku KCCA ku bbanja
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 20 Ogwomwenda 2022 oluvannyuma lw'okukaanya ne Paradou, Okello yassa omukono ku ndagaano ya mwaka gumu ne KCCA FC ey'okugisambira ku bbanja.[16] Yagenda mu maaso n'azannya emipiira 14 mu kiraabu eno n'awangula engule 6 ez'omusambi eyasinga okwolesa omuntindo mu mupiira oguzannyiddwa.
Vipers
[kyusa | kolera mu edit source]Ku nkomerero ya sizoni oluvannyuma lwa KCCA okulemererwa okukkaanya obukwakkulizo ku ndagaano empya, Okello yeegatta ku Vipers SC mungeri eyeewunyisa buli muntu kuba eno y'emu ku kiraabu ezivuganya eyamukuza eya KCCA oluvannyuma lw’okutuukirirwa akulira kiraabu eno Dr. Lawrence Mulindwa mu ddiiru egambibwa nti yamalawo ddoola za ssente za Amerika 30,000, amawulire gano gaasasaana ku mikutu gya yintaneeti ne kireka abawagizi ba KCCA bangi nga sibasanyufu olw'omusambi eno okubaabulira.
Kiraabu ya Young Africans
[kyusa | kolera mu edit source]Omuwuwuttanyi wa Uganda ne Vipers SC Okello Allan yamalirizza yeegasse ku ttiimu ya Tanzania ey'amaanyi Young Africans SC ku ddoola za Amerika 300,000 ng'akawumbi kamu mu za Uganda, gyeyateeka omukono ku ndagaano ya myaka esatu.[17]
Mu sizoni ye eyasoose eya 2025-26 mu kiraabu ya Young Africans, Okello yabawangulidde ekikopo liigi y'e Tanzania eyababinywera, nga kuno kweyatadde n'okumaliri mu kifo eky'okubiri ku lukalala lw'abasinga okuteeba ggoolo ng'alina 11.[18][19][20]
Ku lukalala lw'abateera ngawo banaabwe emipiira nigivaamu ggoolo, yakwata kya kusatu ng'alina 7 ng'ababiri abamusunga okwali Feisal Salum owa Aazam ne Elie Mpanzu owa Simba baali basibaganidde ku 8 buli omu.[21]
Ku ttiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Ey'abali wansi w'emyaka-20
[kyusa | kolera mu edit source]Okello yazannyira Uganda y'abali wansi w'emyaka 20 mu mpaka za COSAFA ez'abatasusa myaka 20 ezaategekebwa e Zambia mu 2017.[22] Yazannya omupiira gwe ogusooka nga 6 Ogwekumineebiri 2017, nga battunka ne Zambia y'abali wansi w'emyaka 20 bwe yayingira mu kifo kya Pius Obuya mu kisaawe kya Arthur Davis ekisinganibwa e Kitwe.[23]
Eyabali wansi w'emyaka-23
[kyusa | kolera mu edit source]Okello azannyidde mu Uganda y'abali wansi w'emyaka 23 mu mpaka za TOTAL AFCON U-23 ez'okusunsulamu.[24] Omupiira gweyasooka okuzannya gwaliwo nga 14 Ogwekuminoogumu mu 2018, nga battunka ne South Sudan y'abali wansi w'emyaka 23 mu kisaawe kya Star Times Lugogo, Uganda yawangula omupiira guno ggoolo 1-0.[25]
Ttiimu enkulu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 13 Ogwokusatu 2019, eyali omutendesi Uganda Sébastien Desabre yayita Okello yeegate ku ttiimu esembayo bweyali egenda okuzannya omupiira gwa Afcon ogw’okusunsulamu ogusembayo ne Tanzania.[26] Wabula ng'omupiira gweyasooka kuzannyira ttiimu y'eggwanga ey'abakulu yali ettunka ne Somalia.
Ebibalo gy'azze azannyira
[kyusa | kolera mu edit source]- Ggoolo n'ebivudde mupiira bisinganibwa ku lukalala lwa Uganda olukozesebwa okugatta ggoolo
| No. | Ennaku z'omwezi | Ekifo | Gwebaali bazannya | Ggoolo | Ebyaguvaamu | Empaka |
|---|---|---|---|---|---|---|
| 1. | 19 Ogwekkumi 2019 | StarTimes Stadium, Kampala, Uganda | Burundi | 3–0 | 3–0 | Empaka za Africa ez'okusunsulamu 2020 |
| 2. | 9 Ogwekkumineebiri 2019 | Lugogo Stadium, Kampala, Uganda | Somalia | 1–0 | 2–0 | Ekikopo kya CECAFA ekya 2019 |
| 3. | 2–0 | |||||
| 4. | 25 Ogwokusatu 2025 | Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | Guinea | 1–0 | 1–0 | Empaka z'ekikopo ky'ensi yonna ez'okusunsulamu 2026 |
| 5. | 5 Ogwomwenda 2025 | Mozambique | 4–0 | |||
| 6. | 8 Ogwomwenda 2025 | Somalia | 2–0 |
By'awangudde
[kyusa | kolera mu edit source]Lira Destiny Ettendekero ly'ebyemizannyo
- Omuwanguzi – Ekitundu ky’obukiikakkono bwa ARS: 2014 [27]
Kibuli S.S
KCCA FC
- Liigi ya Uganda: 2016–17, 2018–19 [29]
- Uganda Cup: 2016–17, 2017–18[30]
Vipers SC
[kyusa | kolera mu edit source]Young Africans
[kyusa | kolera mu edit source]- Liigi y'e Tanzania: 2025-26
By'awangudde ng'omuntu ssekinnomu
- Buzz Teeniez Awards Sports Personality of the Year 2019
- Airtel Rising Stars M.V.P: 2014, 2015, 2016
- Copa Coca-Cola M.V.P: 2016
- FUFA Junior League M.V.P: 2016[7]
- Omuzannyi omuto ow'omwaka : 2016–2017[33]
- Abazannyi 11 abasinga nga baalondebwa Airtel FUFA: 2017–18[34]
- Omuzanny wa Airtel FUFA abawagizi gwe basinga okwagala ow'omwaka: 2018[34]
- Airtel Fufa Omuzannyi w'omwaka: 2019.[35]
- Engule ezitegekebwa Fortebet : 2025.[36]
- Engatto y'omuzannyi asinze okuteeba Ggoolo mu Liigi ya Uganda mu Sizoni ya: 2024-2025 Season.[37]
- Yawangula eky'omuzannyi w'omwezi mu liigi y'e Tanzania emirundi 2: Ogwokuna n'Ogwokutaamu mu 2026[38][39]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Kibuli Secondary School
- Kampala Capital City Authority
- Young Africans SC
- Vipers SC
- Reagan Mpande
- Dr. Lawrence Mulindwa
- Mike Mutebi
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Allan Okello". KCCA FC. Archived from the original on 3 November 2018. Retrieved 19 December 2018.
- ↑ "Uganda's star player Okello joins Tanzanian giants Young Africans SC". 13 January 2026. Retrieved 2026-01-13.
- ↑ "Okello enters Vipers history books after Young Africans deal". panafricafootball.com.
- ↑ Allan Okello at National-Football-teams.com
- ↑ Isabirye, David (13 October 2015). "KNOW YOUR STARS: Allan Okello dreams of playing professional football". Retrieved 19 December 2018.
- ↑ "KCCA FC unveil teenagers". Daily Monitor. Retrieved 19 December 2018.
- 1 2 Kaweru, Franklin (28 February 2017). "KCCA F.C youngster Okello grateful to coach after memorable debut". Retrieved 19 December 2018.
- ↑ Muyita, Joel (26 February 2017). "Okello Delighted With Scintillating Debut Performance". ChimpReports. Retrieved 19 December 2018.
- ↑ Isabirye, David (14 July 2017). "Offers for Allan Okello will be accepted after A-Level studies, says agent". Retrieved 19 December 2018.
- ↑ "KCCA FC vs Tooro United FC". Retrieved 27 May 2019.
- ↑ Lubega, Shaban. "KCCA, URA register victories to take over at the summit". PML Daily Sports. Retrieved 27 May 2019.
- ↑ "KCCA FC 6-1 Maroons FC". Retrieved 27 May 2019.
- ↑ Isabirye, David (11 May 2019). "KCCA playmaker Okello departs for greener pastures, Kizza returns". Retrieved 27 May 2019.
- ↑ "Allan Okello completes Paradou switch from KCCA FC". Latest football news in Uganda (in American English). 2020-01-21. Archived from the original on 6 June 2020. Retrieved 2020-09-23.
- ↑ Kiyonga, Ismael (2023-09-11). "Algeria's AC Paradou terminate Okello's contract". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-09-30.
- ↑ "Allan Okello returns to KCCA FC on loan".
- ↑ "Allan Okello Seals Billion-Shilling Move to Tanzanian Powerhouse Young Africans SC". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). 2026-02-12. Retrieved 2026-04-14.
- ↑ Kule, Edwin Kyle (2026-06-30). "Allan Okello's Yanga lifts 5th straight Tanzania league title". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-08-06.
- ↑ 2025–26 Tanzanian Premier League (in Lungereza). 2026-07-21.
- ↑ "Editing 2025–26 Tanzanian Premier League (section) - Wikipedia". en.wikipedia.org (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
- ↑ "Editing 2025–26 Tanzanian Premier League (section) - Wikipedia". en.wikipedia.org (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
- ↑ "COSAFA U-20 Update: Final travelling list for Uganda Hippos team". 3 December 2017. Retrieved 18 March 2019.
- ↑ "COSAFA U20 Update: Shaban leads by example as Uganda beats hosts Zambia". 6 December 2017. Retrieved 18 March 2019.
- ↑ "TOTAL AFCON U-23 Qualifiers: Uganda Kobs edge South Sudan in first leg". 14 November 2018. Retrieved 18 March 2019.
- ↑ "FULL TIME: Uganda Kobs ?? 1-0 ?? South Sudan - CAF U-23 Qualifiers". 14 November 2018. Retrieved 18 March 2019.
- ↑ "Okello named on Uganda Cranes team for Tanzania clash". 16 March 2019. Retrieved 18 March 2019.
- 1 2 Isabirye, David (26 May 2019). "Teenager Allan Okello arrives in Switzerland prior to trials". Retrieved 27 May 2019.
- ↑ Bbosa, Dennis (30 May 2016). "Kibuli lift Copa title". Daily Monitor. Archived from the original on 20 December 2018. Retrieved 20 December 2018.
- ↑ Kiyonga, Ismael. "KCCA dominates, Sserunkuma is the 2016-17 UPL MVP". Kawowo. Retrieved 20 December 2018.
- ↑ Wandati, Michael (10 June 2018). "KCCA FC beats Vipers, defends Uganda Cup". Dispatch. Archived from the original on 20 December 2018. Retrieved 20 December 2018.
- ↑ "One moment, please..." upl.co.ug (in Lungereza). Archived from the original on 2026-02-16. Retrieved 2026-04-14.
- ↑ Isabirye, David (2025-05-31). "Vipers defeats KCCA to clinch 4th Stanbic Uganda Cup title". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-04-14.
- ↑ "Pictorial: Fashion, class and elegance at 2016/17 Azam Uganda Premier League Awards". 28 July 2017. Retrieved 19 December 2018.
- 1 2 Isabirye, David (8 December 2018). "Airtel FUFA Awards 2018: Waiswa, Aturo drive home as season's finest". Retrieved 19 December 2018.
- ↑ Marsha, Ahmed (2019-12-14). "Airtel FUFA Awards 2019: Okello, Nalukenge crowned as the finest footballers". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2025-09-30.
- ↑ Aheebwa, Brian (2024-10-29). "Okello Caps Off an Impressive October with Real Stars Award". NBS Sport (in American English). Retrieved 2025-09-30.
- ↑ Marsha, Ahmed (2019-12-14). "Airtel FUFA Awards 2019: Okello, Nalukenge crowned as the finest footballers". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2025-09-30.
- ↑ 2025–26 Tanzanian Premier League (in Lungereza). 2026-07-21.
- ↑ "Editing 2025–26 Tanzanian Premier League (section) - Wikipedia". en.wikipedia.org (in Lungereza). Retrieved 2026-08-06.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Allan Okello ku Ttiimu y'eggwanga
- Allan Okello ku Soccerway
- newvision.co.ug
- monitor.co.ug
- chimpreports.com
- nimsportug.com okuva mu tterekero 18 Ogwomunaana 2018 ku kyuma kya Wayback.
- airtelfootball.ug okuva mu tterekero 16 Ogwomunaana 2018 ku kyuma kya Wayback
- nilepost.co.ug
- CS1 American English-language sources (en-us)
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- Pages with unreviewed translations
- Bannayuganda abasajja abasambi b'omupiira
- Bannabyamizannyo ab'ekyasa kya 21
- Abaazaalibwa mu 2000
- Abantu abalamu
- Abasambi ba kiraabu ya Kampala Capital City Authority FC
- Abantu abava mu Disitulikti y'e Lira
- Abasajja abazannya ng'abawuwuttanyi mu mupiira gwa Uganda
- Abasajja Abannayuganda abasambira ku ttiimu y'eggwanga
- Abantu bannabyamizannyo abava mu Bitundu by'Omubikiika kkono bwa Uganda
- Abazannyi abeetaba mu mpaka za 2025 ezivuganyizibwaamu amanwaga g'okulukalu lwa Afrika
- Abazannyi ba liigi ya Uganda eyababinywera
- Abazannyi ba Vipers SC
- Abazannyi ba Young Africans SC
- Ekibuga ky'e Lira
- Lango