Allan Oyirwoth
Allan Oyirwoth yazaalibwa 23 Ogwolubereberye 2007 muzannyi wa mupiira munna Uganda nga omupiira ogw'ensimbi aguzannyira ku kiraabu eya New England Revolution mu kibinja eky'okuntikko mu ggwanga lya America ekiyitibwa Major League Soccer Oyirwoth era azannya ne ku ttiimu y’eggwanga Uganda ey’omupiira . [1]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Oyirwoth asibuka Packwach mu kitundu kya West Nile mu Uganda. Yasomera ku Kibuli SS ne Amus College mu Uganda ate e Bungereza naasomera ku Brooke House College and Academy mu kibuga Leicester. [2] Mu mpaka z'omupiira ezaali mu mu kibuga Fort Portal ye muzannyi eyasinga okwolesa omutindo era naweebwa engule. Mu mpaka zamasomero ez'ensi yonna mu mwaka 2023 e Morocco Oyirwoth yeeyasinga banne okuteeba ggoolo enyingi. [3] [4]
Omupiira ku kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Kuntandikwa ya 2025, Oyirwoth yassa omukono ku ndagaano okuzannyira kiraabu ya New England Revolution mu America . [5] Endagaano eno ya myaka esatu wadde yateekebwamu akawaayiro ak'omwaka omulala gumu. [6]
Ku ttiimu y'egwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Oyirwoth ajjukirwa ku ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 20 eyatuuka ku fayinolo mu mizannyo egya All African games mu mwaka 2023 e Ghana era nga yeyateeba ggoolo nga Uganda emegga Senegal ggoolo 1-0 bwetyo nekulembera ekibinja. [7] [8]
Omupiira gwe ogwasooka ku ttiimu y’eggwanga enkulu yaguzannya mu 2023 era gwali mu mpaka z'okusunsulamu abalyetaba mu mpaka za FIFA World Cup 2026 nga Uganda ezannya Somalia mu November wa 2023. [9]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://uk.soccerway.com/players/allan-oyirwoth/942565/
- ↑ https://kawowo.com/2024/03/12/allan-oyirwoth-dedicates-goal-against-senegal-to-mother-13th-african-games/
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/youngster-allan-oyirwoth-off-to-england-for-further-nurturing-2024020618373453573
- ↑ https://kawowo.com/2024/02/06/allan-oyirwoth-moves-to-united-kingdom-for-further-development/
- ↑ https://www.oursportscentral.com/services/releases/revolution-sign-ugandan-midfielder-allan-oyirwoth/n-6179240
- ↑ https://www.masslive.com/sports/2025/01/revolution-add-17-year-old-ugandan-midfielder-allan-oyirwoth.html?outputType=amp
- ↑ https://chimpreports.com/13th-african-games-uganda-hippos-come-from-goals-down-to-beat-congo-4-2/#
- ↑ https://kawowo.com/2024/03/12/allan-oyirwoth-wins-against-nigeria-senegal-are-a-testament-of-what-we-can-do-african-games-2023/
- ↑ https://uk.soccerway.com/matches/2023/11/21/africa/wc-qualifying-africa/somalia/uganda/4236939/