Jump to content

Alphonse Lamola

Bisangiddwa ku Wikipedia

Alphonse Lamola (yazaalibwa c. 1971 mu Omeri, Gulu District, Northern Uganda ) mujaasi mu ggye lya Lord's Resistance Army erya Joseph Kony erikolera mu South Sudan ne Central African Republic .

Lamola yawambibwa mu makkati g’emyaka gya 1990, era 1999 weyatuukira, yali alinnye okutuuka ku ddaala lya Lieutenant mu kibinja ky’amagye ekya Meno mu South Sudan, ng’aduumirwa Owor Lakati. Oluvannyuma yeegatta ku kibinja ky'a magye ekya Safo nga kikulemberwa Raska Lukwiya.

Oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’omukuumi wa Kony, Lamola yakuzibwa n’afuuka omukuumi we omukulu bwe yasengukira mu kkuumiro ly’ebisolo erya Garamba National Park mu biseera bya 2006. Oluvannyuma mu omwaka ogwo, yateekebwa ku kuvunaanyizibwa ku kitongole kya High Protection Unit (HPU), ekibiina ekikulu eky’ebyokwerinda ekirabirira ebitongole byonna ebyaweebwa omulimu gw’okukuuma Kony ne famire ze. Oluvannyuma yasikizibwa Otto Agweng, era n’aweebwa obukulembeze bw’ekibinja ekitono (ekimu ku bisatu ebikola ekitundu eky’ebweru ekya HPU) ekyaweebwa omulimu gw’okukuuma enkambi ya Kony. Lamola yateranga okulondebwa okugenda ne Kony e Nabanga n’okussaawo enzigotta y’ebyokwerinda nga Kony tannatuuka.

Lamola alabika yafuna obutakkaanya ne Kony mu makkati ga 2011 oluvannyuma n’ateekebwa wansi w'obukuumi bw'abaduumizi abato abali mu myaka amakumi abiri, nga bano bamukuuma n’okumutangira okuva mu kibiina.

Awo nga mu gw'okuna gwa 2013, ekibiina kya Lamola kyali kikolera mu kitundu ekirimu abantu abatono ddala nga kino ekigatta omigga Chinko ne Vovodo mu mambuka mu bitundu bya Mbomou ne Haute-Kotto, mu masaza g'amasekkati ga ripabuliiki ya Afrika .Mu kiseera kino, ali ku ddaala lya kano.[1]

Ebyakolebwa oluvannyuma lwa 2014

[kyusa | kolera mu edit source]

Kiteeberezebwa nti Lamola akolera mu mambuka ga DRC okuva mu 2016. Mu gw'omwenda nga 5, 2016, Lamola yayimbula abakazi bana n’abaana basatu abaali bamaze ebbanga nga basibiddwa amagye ga LRA mu buwambe. [2]

  1. https://web.archive.org/web/20140826120144/http://www.lracrisistracker.com/command/alphonse-lamola
  2. http://invisiblechildren.com/blog/2016/10/24/lra-crisis-tracker-brief-quarter-3/