Alternate Warriors
Endabika
Alternate Warriors ye kitabo ky'ebyafaayo ekirina ebiwandiiko eby'ediringana ekyasengekebwa Mike Resnick, ekyafulumizibwa mu Amerika aba Tor Books. Ekitabo kino kirimu emboozi enyimpi 29, omuli eza Resnick zenyini "Mwalimu mu Squared Circle". Emboozi endala za bawandiisi ab’enjawulo, era ziraga embeera ey'ebiseera eby'obuliwo ng'abaleeta emirembe balwanyi mu ngeri etaaliwo mu bulamu obw’addala. [1] Ekitabo kino kyafulumizibwa mu Gwomwenda nga 1, 1993. [2]
Emboozi
[kyusa | kolera mu edit source]| Omutwe | Omwandiisi | Kwebasizniira okugiwandiika |
|---|---|---|
| "Mwalimu in the Squared Circle" | Mike Resnick | Mu 1979, mungeri y'okwagala okukomekereza olutalo wakati wa Uganda ne Tanzania, Julius Nyerere yakiri Idi Amin eyali amusabye bakubaganye mu luzannya lw'ebikonde. Wabula olw'okuba nga yali amusinga obuzito bwa pawuundi 200, Nyerere yalwana okusigala nga mulamu ng'ali mu kisaawe gyebazannyira ebikonde |
| "Jane's Fighting Ships" | Esther Friesner | Mu 1798, Napoleon, yalumba n'awanba Bungereza. Mu 1811, Jane Austen yasisinkana Davy Crockett nebakizuula nti baalina bingi byebaali bafanaganya nga mwemuli n'ebirubirirwa bya l'empereur byeyali tayagala ng'ebirubirirwa. |
| "Taking Action" | Lawrence Schimel | Mu 1955, oluvannyuma lw'okubeera nga yali atunudde mu biseera by'omumaaso ng'alina n'ebirubirira by'omu 1992, Rodney King ng'awangudde, Martin Luther King Jr. yasindikirizibwa mu kubo ly'obutabeera mu butabanguko, ekyavirako ekibiina ky'eddembe ly'abantu oluvannyuma lw'engeri ey'obutabanguko. Kino kyavirako enkolagana wakati w'Omukulembezze w'eby'obuwangwa ne gavana wa Alabama George Wallace. |
| "Because Thou Lovest the Burning-Ground" | Michael P. Kube-McDowell | Mu 1890, oluvannyuma lw'okugwa ebigezo bya yunivasite ebiwerako, Mohandas Gandhi, yesisinkana ab'ekibiina kya Thuggee eky'eraguza bweyali ku luguudo n'afuuka omugoberezi.Oluvannyuma lw'ekyo eby'enjigiriza bya Gandhi n'ekisinde ky'obutabanguko byatandika emyaka egyaddako oluvannyuma lw'okutibwa kw'abantu okwali e Jallianwala Bagh mu 1919. Olupapula lw'akatabo olusooka lwali lulaga Gandhi eyalina omubiri omunene nga mubusungu obungi akute ekikopola, ng'ajulirira olugero. |
| "Ballad of the Spanish Civil Guard" | Kathe Koja | |
| "The Vatican Outfit" | Laura Resnick | Mu 1978 Mafiosi yalabula Paapa Yowana Paul I olw'okutemulwakwe okwali kusoboka, era oluvannyuma lw'okugezaako okutemula, Paapa yafuna engeri empya eyali ey'okudukanya Eklezia. |
| "Tut’s Wife" | Maureen F. McHugh | Oluvannyuma lw'okufa kw'omukulembezze w'enono Tuntankhamun mu 1352, eyali namwandu era nga bagata omuzadde omu Ankhesenamun yafuna omwami omulala amukuume n'okubuyisa enzikiriza ya Aten mu Misiri. |
| "Extreme Feminism" | Nicholas A. DiChario | Mu 1865, Susan B. Anthony yagula emundu era oluvannyuma lw'okwekalakaasa n'okubeera ng'alina byeyali byegwanyiza, yeesisinkana ng'afuuse omumenyi w'amateeka. Kino kyavirago eky'Abakazi okubeera nga basobola okwenyigira mu by'okulonda bya Amerika okusalika ekyavirako obutabanguko okweyongera. |
| "The Battle of All Mothers" | Jack Nimersheim | |
| "Jihad" | Mercedes Lackey | Mu 1918, oluvannyuma lwa Daraa T.E Lawrence yasisinkana enkyukakyuka, yakyuusa ediini n'afuuka omuyisiraamu era n'abuulira ku lutalo lw'ediini. Lawrence n'abawalabu baawamba Damascus nga tebawambuddwaako Bangereza. |
| "Sam Clemens and the Notable Mare" | Mel. White | Sam Clemens yakulembera Buvanjuba okuva mu kibuga kya Nevada mu 1864 era n’akwatibwa aba Quantrill's Raiders. Embalaasi ya Clemens yakola kinene nnyo okuwugula abayeekera amagyega Union bwegaali gatuuse. |
| "...But the Sword!" | Anthony R. Lewis | Mu 1202, Francis of Assisi yafuuka omulwaanyi mu ntalo z’ediini my kifo ky’okubeera omubuulirizi w’enjiri , wabula n’abyabulira mungeri ey’enyinyibaza oluvannyuma lw’okulaba aba Constantinople nga bagobwa. Nga tetunatuuka kw’ekyo, Francis yalondebwa Paapa okukulembera ekisinde ky’amagye ekipya era n’okukulembera abalwanyi b’ediini abaddamu okuwamba ekibuga kya Yeruzaalemu mu 1221, nga kino oluvannyuma kyakivirako okutekebwa mu bibuga by’abatume. |
| "Fugato" | Barry N. Malzberg | Mu biseera bya Sematalo Ow’okubiri mu 1942, Leonard Bernstein yatwalibwa mu magye ga Amerika n’asengekebwa nga 1A. Mu 1944, bweyali akwatiddwa mu kiyumba ekyali mu nimiro ya Ardennes, Bernstein yeekolera ekubo eryamutusaayo.
|
| "The Firebringers" | David Gerrold | Abaannyi ba ffiirmu okuva mu Hollywood, mu biseera eby’obuliwo bebaali ebika by’abasajja abaazannya mu ffirimu. Okugeza Coloneeri Gregory Peck yabuuza ennyonyi ekika eyali eriko bomu namuzisa ng’ayolekera ekibuga kya Berlin, wadde nga yalina endowooza endala era n’akayana ne Ronald Reagan, Humphrey Bogart n’abalala. |
| "Albert Schweitzer and the Treasures of Atlantis" | George Alec Effinger | |
| "Queen of Asia" | Judith Tarr | Mu myaka gya 332 BC, oluvannyuma lw’okubeera nga yali atawanyiziddwa mutabani we Darius II, olw’okulaga obutiitiizi mu mu lutalo lwa Alexander the Great, maama we Sisygambis yamuvirako okutibwa neyeegata ku muzukulu we Drypetis. Ng’eggwanga lya Persia liri wansi wa bukulembezze bwe, Sisygambis yabavirako okulumba Alexander the Great nga bamuva mabega ku kifo ekyali kiyitibwa Tyre, era n’afuna by’awandiika mu katabo ke akakwata ku musibe we. |
| "Zealot" | Bill Fawcett | Moses yakulembera Abayizirayiri okugenda mu lutalo lw’abayeekera nga bawakanya eyali Omukulembezze w’enono mu Misiri era oluvannyuma lw’emyaka esatu egy’okulwanagana, baawamba olubiri lw’omukulemzze olwe Gizan. Wabula, luvannyuma nebesingaana nga balumbiddwa amagye agaali tegasoboka. |
| "The Cold Warrior" | Jack C. Haldeman II | |
| "For Love of God" | Michelle Sagara | Mu 1170, Thomas Becket teyakomawo oluvannyuma lw’okuduka mu Bungereza, obutakaanya wakati we n’eyali mubukulembezze bwenono Henry II. Amagye agaali gakiikirira Bungereza ne Bufalansa gaasisinkana ku kifo ewaali olutalo mu Bufalansa, era Becket ajukira enkolagana ye ne Henry. |
| "Al Einstein — Nazi Smasher!" | Lea Hernandez | Mu kifo ky’okufuuka munasayaansi Albert Einstein yafuuka omukubi wa myuziki omukugu era oluvannyuma n’abeera mbega. Eyaka nga giyiseewo ng’alina gyebamutumye okugenda okubega mu Peenemunde, Einstein yasisinkana Eva Braun omukazi eyali akema ne nakyemalira we Adolf Schicklgruber. |
| "Mind over Matter" | Jack Nimersheim | |
| "One by One" | Beth Meacham | Mu 1813, Tecumseh ne beyali akwatagana nabo bakyuukira Amerika ku lutalo olwali luyitibwa Battle of Thames nga bamulemesa obutatibwa. Kino kyavirako Amatwale G’omuBukiikakkono Bw’omubugwanjuba, eryafuuka essaza lya Amerika emyaka nga 10 oluvannyuma. Wadde nga wayise emyaka 100 ng’olutalo luwedde, obutabanguko wakati w’abeeru n’abamyuusu mu ggwanga ly’Abayindi kyavira ngako obutujju n’okuzaayo omuliro., |
| "The Mark of the Angel" | Tappan Wright King | Oluvannyuma lw’okubeera nga yali afunye ebisago bweyali ava gyeyali atumiddwa e Rooma ne Paris mu 1943, Angelo Roncalli eyali takyalina kyajukira, mu biseera by’omumaaso eyalina okubeera Paapa Yowaha XXIII yeegata magye ga Bufalansa agaali gawakanya. Mu 1961, ajukizibwa ebiseera bye ng’ali mu magye agaali gajeemye. |
| "Standing Firm" | Barbara Delaplace | Mu 1938, Neville Chamberlain yasalawo okwengaana Adolf Hitler e Munich, nga muno mwemwali okwogerezeganya n’eyali amuwakanya Winston Churchill. |
| "A Sense of Loyalty, a Sense of Betrayal" | Brian Thomsen | Mu 1918, oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Sidney Reilly olw’okugezaako okugya Vladimir Lenin ne Leon Trotsky, yaweebwa eky’okusalawo. |
| "Unmerited Favor" | Brad Linaweaver | Mu myaa gya 30 AD, Yeesu Kulisitu yayogera ku nsonga eyali ey’ekijaasi. Oluvannyuma yawaayo eby’okulwanyisa eri abagoberezi bbe era n’abatwaala mu ddungu okwengaanga sitaani. Bangi banyiizibwa, wabula tebalumba Barooma. |
| "Death of a Dream" | Jack C. Haldeman II | Mu 1963, J. Edgar Hoover yasalawo okusiiga Martin Luther King Jr. nga tanaba kwogera kisinga mujukirwaako, ekya ‘I Have a Dream’ oba Nina Ekirooto, ekyavirako ekisinde ekirwanirizi ky’eddembe ly’abantu okusasika. Nga wayise emyaka 10, King yategeka okutemula Pulezidenti Richard J.Daley eyali aleese obutebenvu n’eddembe, n’ayungula amaziga mu lutalo olwali limannyikiddwa nga race war olwali lumalawo Amerika. |
| "Monsieur Verne and the Martian Invasion" | Josepha Sherman | Mu mungeri y’ebyafaayo ng’eri mungeri etategerekeka ey’ekyasa kye 19 , omuyiiya Jules Verne yakizuula era n’alwanagana n’aba Martians. |
| "The Arrival of Truth" | Kristine Kathryn Rusch | Mu myaka gya 1850, Sojourner Truth yakumba ng’ayita mu Masaza G’omubukiikaddyo ng’abulira abaddu okutwaala ebyabwe, ekyavirako okujeema kw’abaddu. |
Ebyadibwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- Ebyadubwaamu Mark R. Kelly mu 1993 mu Locus, #394 Ogwekuminoogumu 1993
- Ebyadibwaamu Leigh Grossman mu 1994 mu Ntiisa #1, Ogwoluberyeberye 1994
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Uchronia: Mike Resnick anthologies". www.uchronia.net.
- ↑ "Alternate Warriors by Mike Resnick". www.fictiondb.com.