Alum Sandra Ogwang Santa

Alum Sandra Ogwang yazaalibwa 2 Ogwekkuminebiri 1972. Munnayuganda omukugu mu by’embeera z’abantu, munnabyabufuzi era mubaka mu Paalamenti.[1] Akiikirira abantu ba Disitulikiti y'e Oyam ng'omubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda.[2] Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress ( UPC),[3] ekibiina ekikubirizibwa Jimmy Akena, nga ye mubaka wa palamenti owa munisipaali y'e Lira [4] era mutabani w'eyaliko pulezidenti Apollo Milton Obote .[5]
Okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Alum pulayimale ye yagisomera ku Anai primary school gye yatuulira ebigezo bye eby'akamalirizo (PLE) mu 1987. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Ikwera girls secondary school okusoma O'levo gye yafunira satifikeeti ya Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1990. Oluvannyuma yeegatta ku Bombo senior secondary school okusoma A'levo gye yafunira satifikeeti ya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1994. Yasomera ku Yunivasite y’e Makerere gye yatikkirwa diguli esooka mu kutereka ebitabo n’eby’amawulire mu 1998. Oluvannyuma yayongerako diguli ey'okubiri mu kikula ky'abantu mu 2010 mu yunivasite y’emu.[6]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Alum akola nga dayirekita/omuwandiisi wa Sysplus Limited okuva mu 1998 okutuuka kati.[7] Okuva mu 2005 okutuuka 2006 yaliko ayingiza data mu yunivasite y'e Makerere Era yali mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti mu Disitulikiti y'e Oyam okuva mu 2006 okutuuka mu 2010. Mu 1998 yali musomesa mu ttendekero lya Almond College, Lira .
Ono abadde mubaka mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2011 n’okutuusa kati. Mu Paalamenti, ye nnampala w’ekibiina kya Uganda People’s Congress (UPC)[8] era akola ne ku kakiiko akakola ku by’obusuubuzi n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi. Ono era mmemba w’ekibiina ekigatta ababaka abakyala mu Paalamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).
Alum Santa mmemba mu kibiina kya Uganda parliamentary forum on social protection (UPFSP) olukiiko olulwanirira okukuuma embeera z’abantu naddala abantu ba Uganda abisinga okubeera mu kabaate.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.wikidata.org/wiki/Q57829630
- ↑ https://web.archive.org/web/20210427105804/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=379
- ↑ https://www.observer.ug/component/content/article?id=13480:new-otuke-mp-appointed-upc-leader-in-house
- ↑ https://nilepost.co.ug/2019/12/18/jimmy-akena-seeks-new-term-as-upc-president/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1515957/history-obote-president
- ↑ https://web.archive.org/web/20210427105804/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=379
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-01-25. Retrieved 2025-09-14.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/role-of-government-chief-whip-in-question