Amaanyi(Power)

Bisangiddwa ku Wikipedia


Ekigambo “Maanyi”(Power) mu Luganda olwa bulijjo kiyinza okutegeeza:

(a) Amasoboza(Energy) (b) Empalirizo(Force)

Kyokka mu Sayansi w’Obutonde/essomabuzimbe oba Ebyomuzimbe(Physics), amaanyi kikozesebwa okutegeeza "ekigerageranyo ky’enkozesa y’amasoboza" (rate of energy use). Kino si kigerageranyo kya bya ttunzi na nsimbi , wabula kigerageranyo kya masoboza na biseera oba okukola n’ebiseera.

Mu sayansi w’obutonde , amaanyi kikozesebwa okunnyonnyola ekigerageranyo ky’enkozesa y’amasoboza.Kino kitegeeza nti amaanyi kipimo kya bwangu amasoboza kwe gakozesebwa.

Amaanyi = Omulimu /Ebiseera

Ssinga baggamba nti abasajja babiri, Kisekka ne Ssekitto, baaweebwa omulimu buli omu okukoola yiika 12 ez’emwanyi mu naku 6 . Kisekka yamala omulimu mu nnaku 2 kyokka sekitto n’amala omulimu mu nnaku 6. Ani eyasinga okukozesa amaanyi amangi?

Okiraba nti:

Kisekka yakola yiika 12 mu nnaku bbiri, n’aba ng’ataddemu amaanyi ga Namaanyi 6 .Namaanyi kitegeeza “namunigina z’amaanyi”.

Sekitto yakola yiika 12 mu nnaku 6 , n’aba ng’ataddemu amaanyi ga Namaanyi 2

Okiraba nti eyakola omulimu gwe gumu mu kiseera ekimpi yateekamu amaanyi mangi okusinga eyakola omulimu gwe gumu mu naku mukaaga.

Okiraba nti bano bombi baakola omulimu gwe gumu naye omu yakola omulimu munene buli kiseera kye kimu okusinga omulala. Eyakola omulimu omunene buli kiseera okusinga omulala ya kozesa amaanyi mangi okusinga munne

Engeri y’Okupimamu Amaanyi

Namunigina ezikozesebwa okupima amaanyi mu Luganda ze (i) Namaanyi(Watt).

Namaanyi kiva mu bigambo by’oluganda “namunigina y’amaanyi” (unit of power).

Namunigina y’okukola ye Nakkoola (joule). “Nakkoola” kiva mu bigambo by’oluganda “namunigina y’okukola”(Unit of work) . Namaanyi namunigina ng’etegeeza kye kimu ne “Nakkoola buli ka sikonda.

(ii) Maanyigandogoyi (Horsepower).

Maanyigandogoyi namunigina ya maanyi ga bitondekamaanyi bya motoka n’ennyanguyirizi endala.Kino kiri bwe kityo kubanga nga tewannabaawo motoka endogoyi yakozesebwa nnyo okugonza eby’entambula mu bulaaya kubanga obutaba nga nsolo ndala ekigerageranyo ky’amasoboza gaayo kiri waggulu era nga yetikka n’okulinnya obusozi okumala engendo empanvu nga tennakoowa. Maanyigandogoyi emu ekunuukiriza Namaanyi 745.7

(iii) Empalirizo n’engenda. Amaanyi era gayinza okubalangulwa okuva mu mpalirizo n’engenda y’ekintu okuyita mu nakyenkanyajuyi eno:

Amaanyi = Empalirizo x Engenda

(iv) Amaanyi g’amasannyalaze. Bwe tuba gubaza amaanyi g’amasannyalaze, tweyambisa “omugendo gw’obusannyalazo” (current) ne “volutaagi”.

Omugendo gw’obusannyalazo oba omugendo gw’amasannyalaze (current) gupimibwa mu Naggendo (ampares). Naggendo kiva mu bigambo by’oluganda “namunigina z’omugendo gw’amasannyalaze” ate volutaagi zipimibwa mu voluti (volts).

Amaanyi g’amasannyalaze = Omugendo gw’obusannyalazo x Volutaagi