Amade Camal
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Mozambique |
| Yazaalibwa nga | 1954 |
| Olunaku lwe yafa | 18 Gwamwenda(Mutunda) 2025 |
| Ennimi z'amanyi | Portuguese |
| Omulimu | munnabyabufuzi |
| Ekifo ky'alimu | Member of the Assembly of the Republic |
| Ediini | Islam |
Amade Chemane Camal Jr. (yazaalibwa 1954 – n'afa nga 18 Mutunda 2025) yali munnabyabufuzi era omusuubuzi mu Mozambique. Y'akulira kkampuni ya Sir Comercio Internacional, era ye mutandisi wa bizinensi z’ebyentambula ezaamanyi mu Mozambique. Yali mukiise w'olukiiko olukulu olwa Mozambique ng'akiikirira essaza ly'e Nampula okuva mu 1994 okutuuka mu 1999.[1]
Camal yavumiriranga ebizibu by’okuteekateeka ekibuga Maputo, ng’agamba nti enteekateeka embi eri mu kibuga yevaako akalippagano k'ebidduka mu biseera ebyakanaayokyani ekikosa entambula y’ekibuga mu ssaza lino.[2]
Mu 2023, nga bawakanya Yisirayiri okuwamba Palestine, ebibiina by'omu Mozambique ebiwerako byatandikawo enkola eyatuumibwa "Israeli Apartheid free zone" etaali ntongole ng'ewakanya obulumbaganyi bwa Yisirayiri. Kkampuni ya Camal eya Sir International yeegatta ku kwekalakaasa kuno, n’etegeeza nti tebagenda kutunda kintu kyonna kiva Yisirayiri.[3]
Camal musiraamu era yeetabye mu bikujjuko bya Eid al-Adha mu lujjudde e Maputo.[4] Yavumiridde obwannalukalala bwa basiraamu mu Mozambique n’agamba nti Obusiraamu ddiini ya mirembe.[5]
Camal yafa nga 18 Mutunda 2025, ku myaka 71.[6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Unknown title". Mozambiquefile: A Mozambique News Agency Monthly (274–284): 10. 1999.
- ↑ "Amade Camal: "falta de um estudo sobre a organização da mobilidade retrai soluções sustentáveis"" (in Portuguese). O Económico. 17 September 2020. Retrieved 16 June 2025.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ "Mozambican citizens establish an Israeli Apartheid free zone". Mozambique Insights. 16 March 2023. Retrieved 16 June 2025.
- ↑ Morier-Genoud, Eric (26 October 2023). Towards Jihad?: Muslims and Politics in Postcolonial Mozambique. Hurst Publishers. ISBN 978-1-80526-322-7.
- ↑ ""Nenhum muçulmano mata em nome da religião", disse Sheikh Umar Ayuba" (in Portuguese). O Pais. 28 June 2023. Retrieved 16 June 2025.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Morreu Amade Camal vítima de doença Template:In lang