Amadinda

Amadinda ( mu lulimi Olu Greek olw’edda ξύλον [1] [2] lit. ' eddoboozi ly'obubaawo' ) kino kivuga ekigwa mu ttuluba ly'ebivuga ebikolebwa mu emiti nga bikubibwa obuti okuvaamu amaloboozi. Buli kabaawo kaba ddinda ly'anjawulo erikolebwa okusobola okuvaamu eddoboozi ery'enjawulo omuli erya pentatonic oba heptatonic mu mbeera y’ebivuga bingi eby’Afirica ne Asia, diatonic mu bivuga bingi eby’abaana ab’amawanga g’omubugwanjuba, oba chromatic okukozesebwa mu kibiina ky’abayimbi.
Erinnya amadinda liyinza okukozesebwa okutwalira awamu, okuzingiramu ebivuga byonna ng’ebyo okugeza nga marimba, balafon kwossa ne semantron . Naye mu kibiina ky’abayimbi, ekigambo madinda kitegeeza nnyo ekivuga ekivaamu eddoboozi ery'awaggulu erisingako katono ku buwanvu era nga gaba gakoleddwa embaawo enkalu okusinga marimba, era ebivuga bino ebibiri tebisaanidde kutabulwa. Omuntu akuba amadinda amanyiddwa nga xylophonist oba mu njogera ennyamgu ayitibwa mukubi w'amadinda. [3]
Erinnya lino era likozesebwa nnyo okutegeeza ebivuga ebifaanagana eby’ekika kya lithophone ne metallophone . Okugeza, Pixiphone n’eby’okuzannyisa bingi ebifaananako bwe bityo ababikola bye baayogerako nga amadinda agalina ebyuma mu kifo ky'embaawo, era bwe kityo mu lulimi lw'ebivuga bitwalibwa nga glockenspiels mu kifo ky'amadinda.
Enzimba yaago
[kyusa | kolera mu edit source]
Amadinda ag'omulembe mu bugwanjuba galina obubaawo obukolebwa mu miti nga rosewood, padauk, cocobolo, oba ebintu eby’enjawulo ebikoleddwa nga fiberglass oba fiberglass-reinforced plastic ekisobozesa eddoboozi okuba waggulu. [4] Agamu gasobola okuba amatono nga octaves zaago ziri nga 21/2 naye amadinda agakozesebwa mu bivvulu gatera okuba oba ne 31/2 oba 4 octaves. Okufaananako ne glockenspiel, xylophone kivuga ekikyusa : ebitundu byakyo biwandiikibwa octave emu wansi w’ennukuta eziwulikika. [5]
Amadinda agakozrsebwa mu bivvulu gaba n' obuuma obwongeza amaloboozo wansi w’embaawo okutumbula tone n’okuyimirizaawo. Fuleemu zikolebwa mu mbaawo oba ttanka z’ekyuma ez’ebbeeyi entono: xylophones ez’ebbeeyi zirina okutereeza obuwanvu n’okunyweza ennyo mu siteegi. Mu buwangwa bw'ennyimba obulala enkyusa ezimu zirina ebikuta [4] ebikola nga Helmholtz resonators . Endala za "trough" xylophones nga zirina omubiri gumu ogw'ekituli ogukola nga resonator eri ebbaala zonna. [6] Enkola enkadde zaalimu okusengeka ebikondo ku bikuta by’obusaanyi ebisibiddwa, era, n’okutuusa kati kikolebwa n’okutuusa kati, okuteeka embaawo okumpi ne ndala mu nsengeka eringa amadaala. Ensigo ez’edda zaakolebwanga mu mbaawo z’omuti gwa willow nga ku nkomerero zazo kuliko ebibya ebiringa ekijiiko. [4]
Mallets
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20201207215715/https://www.lexico.com/definition/xylophonist
- ↑ https://www.perseus.tufts.edu/hopper/text?doc=Perseus:text:1999.04.0057:entry=cu/lon1
- ↑ https://web.archive.org/web/20201207215715/https://www.lexico.com/definition/xylophonist
- 1 2 3 "How xylophone is made". Madehow.com. 26 June 2000. Retrieved 2011-11-01.
- ↑ https://web.archive.org/web/20201207215715/https://www.lexico.com/definition/xylophonist
- ↑ https://web.archive.org/web/20201207215715/https://www.lexico.com/definition/xylophonist