Amanda Ngabirano
Amanda Aziidah Ngabirano Munnayuganda omutegesi w’ebibuga era muyivu, musomesa era munoonyereza mu kitongole ky’okuzimba n’okuteekateeka mu ttendekero ly'okukanika, kukola dizayini, eby’emikono ne tekinologiya ku yunivasite y’e Makerere . [1]
Mutumbuzi wa ntambula y'obugaali mu bibuga, ng'alangirira engeri entambula eno gyeyinza "okukendeeza ku maloboozi n'obucaafu bw'empewo, okukendeeza ku ssente mu by'entambula, okukendeeza ku mugotteko mu bibuga, okutondawo ebifo ebirabika obulungi n'okutuuka ku ntambula erimu abantu bonna". [2]
Obuvo n'obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ngabirano yazaalibwa mu kibuga ky'e Kasese, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda mu myaka gya 1970. Yasomera ku Mubuku Primary School ne Hima Primary School nga tanaba kwegatta ku Kigezi High School, essomero lya ssiniya erya balenzi n'abawala, ery’ekisulo mu kibuga Kabale, mayiro nga 140 (225 km), okuva awaka. [2]
Oluvannyuma lwa ssiniya, yasubwa enteekateeka ya gavumenti eya sikaala n’atasobola kuyingira yunivasite kubanga bazadde be tebaasobola kusasula ssente. Emyaka essatu egyaddirira yagimala mu ssomero ly'ebyemikono mu kibuga Mbarara, ng'asoma Oluswayiri . Ettendekero ly’abasomesa gye yasomera, Kakoba National Teacher’s College, kati kitundu ku Bishop Stuart University, yunivasite y’obwannannyini ey’Abakristaayo. [2]
Mu mwaka gwe ogusembayo e Kakoba, yaddamu okwewandiisa okukola ebigezo by’okuyingira yunivasite. Yatuula ebigezo ku St. Leo’s College, Kyegobe, gyeyamalira ssiniya ey'omukaaga ku ssomero ly’Abakatuliki, erya balenzi boka, ery’ekisulo mu kibuga Fort Portal . Yayita era naweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere ku sikaala ya gavumenti, okusoma okutegekera ebibuga, akatundu koka keyalonda mu kusaba kwe. Mu 2002, yayingira yunivasite y’e Makerere, n’atikkirwa oluvannyuma lw’emyaka essatu n’afuna ddiguli ya Bachelor of Urban Planning . [2]
Oluvannyuma, yasomera mu Yunivasite ya Greenwich mu Bungereza ne mu Saxion University of Applied Sciences ku kampasi eri mu Deventer, kilomitta nga 110 (68 mi) mu buvanjuba bw'oluguudo oluva e Amsterdam.[3] Yatikkirwa diguli eyookubiri mu kutegeka ebibuga, n'okuteekerateekera ebitundu. Mu mwezi Ogw'ekkumi mu 2021, Ngabirano yafuna ddiguli ya "doctorate" mu kutegekekera ebibuga n’ebitundu ng’ayita mu Saxion University of Applied Sciences. [2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ngabirano bwe yali asoma diguli eyookubiri e Makerere, yasomanga amawulire mu lulimi Olukiswahili ku ttivvi ya Uganda (UTV) emirundi ebbiri mu wiiki. [2] Yatandika okusomesa e Makerere mu 2006 nga si mu mukozi mu bujuvu. Yalondebwa okubeera omusomesa omujjuvu mu 2010. [4]
Bwe yali asoma diguli ye eyookubiri e Bulaaya, yagula akagaali n’atandika okavuga mu magenda n'amadda wakati wa maka weyali asula ne yunivasite gyeyali asomera. Oluvannyuma lwa diguli ye ey'okubiri yakola ekiwandiiko "Okugatta entambula y'obugaali mu nteekateeka y'ekibuga: Okunoonyereza ku kibuga Kampala". Okunoonyereza kwe yakukola nga ayogera n'abavuzi b’obugaali ku nguudo z’omu Kampala. [2]
Ekirowoozo kye yayiiya, omulungamya we okuva ku yunivasite yalowooza nti tekisoboke wabula kyakkirizibwa ekitongole kya Kampala Capital City Authority. Oluguudo olukulu mu kibuga lwalekerebwawo ku lw'abatambuze, obugaali bwa balema n'obwa bulijo ne kiziyiza entambula y’emmotoka. Oluguudo luno luyitibwa Namirembe Road . [2]
Okunoonyereza mu by’ensoma
[kyusa | kolera mu edit source]Egimu ku mirimu gya Ngabirano mulimu (1) Okukyusa enkola z’okuteekateeka ebibuga n’ebivaamu nga tuyita mu nkola ez’obuyiiya. [5] (2) Okusoomoozebwa kw’entambula okugumira embeera y’obudde okuzingiramu abantu bonna mu Afrika. [6]
Emirimu emirala
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwezi Ogwekkuminebbiri mu 2021, yalondebwa okubeera ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa National Physical Planning Board- Uganda Yali yaweebwa ekifo kino nga ow'ekiseera okuva nga 4 mu mwezi Ogwomusanvu mu 2020. [7]
Emabegako yali yawerezaako nga omumyuka wa pulezidenti w'ekibiina ekigatta abavuzi b'obugaali mu nsi yonna . Ono memba ku lukiiko oluwabuzi okugatta abaddukanya takisi mu Uganda wansi w’ekibiina kimu.Ono mufirika akolagana wamu n'ekitongole kya Move Mobility, ekisangibwa mu kibuga Deventer ekya Budaaki. Ye mmemba w’ekibiina kya Collaboration for Active Mobility in Africa (CAMA). Ye mukwanaganya wa Uganda mu nteekateeka ya High Volume Transport Applied Research Program . [2]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo era nga alina abaana babbiri.[2]
Laba nabino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijjuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ CEDAT at Makerere University (October 2021). "Amanda Ngabirano: Brief Biography". Makerere University. Archived from the original on 17 July 2024. Retrieved 14 October 2021.
- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 Abdul-Nasser Ssemugabi (18 September 2021). "Ngabirano: Urban planner who altered Kampala's traffic". Daily Monitor. Retrieved 14 October 2021.Abdul-Nasser Ssemugabi (18 September 2021). "Ngabirano: Urban planner who altered Kampala's traffic". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 14 October 2021.
- ↑ Template:Google maps
- ↑ European Cyclists Federation (October 2021). "Amanda Ngabirano, Urban and Regional Planner". European Cyclists Federation. Retrieved 14 October 2021.
- ↑ Cinderby, Steve; de Bruin, Annemarieke; Cambridge, Howard; Muhoza, Cassilde; Ngabirano, Amanda (2021). "Transforming urban planning processes and outcomes through creative methods". Ambio (in Lungereza). 50 (5): 1018–1034. Bibcode:2021Ambio..50.1018C. doi:10.1007/s13280-020-01436-3. ISSN 0044-7447. PMC 7882470. PMID 33586051.
- ↑ Cinderby, Steve; Haq, Gary; Opiyo, Romanus; Muhoza, Cassilde; Ngabirano, Amanda; Wasike, Yusuf; Mwamba, Daniel; Cambridge, Howard (2022). "Inclusive Climate Resilient Transport Challenges in Africa". SSRN Electronic Journal (in Lungereza). doi:10.2139/ssrn.4121988. ISSN 1556-5068.
- ↑ Maurice Muhwezi (30 December 2021). "Top Makerere Don Amanda Ngabirano Confirmed as National Physical Planning Board Chairperson". Red Pepper Newspaper. Retrieved 31 December 2021.