Amanda Tumusiime
Amanda Tumusiime | |
|---|---|
![]() | |
| Amannya
ag'obuzaale |
Kaaharo-kabale |
| Obutuuze | Munnayuganda |
| Okusoma | Makerere University |
| Omulimu gwe | Munnabyafaayo |
Amanda Tumusiime era amanyiddwa nga Amanda Evassy Tumusiime (yazaalibwa mu 1973) Munnayuganda, munoonyereza, mulwanirizi wa ddembe lya bakyala, mulwanirizi wa ddembe lya buntu, munnabyanfaayo, era ali ku ddaala eriddirira erya Polofeesa mu byempuliziganya mu Makerere University.[1]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Amanda Tumusiime yazaalibwa e Kaharo, mu Disitulikiti y'e Kabale mu Uganda.
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yasomera mu ssomero lya Comboni Missionary School e Rukungiri era oluvannyuma yeegatta ku Mary Hill High school e Mbarara gye yali akiikirira Ekibiina kya Red Cross Society ekya Red Crescent Movement Youth Expo ekisibuka e Seville mu Spain.[2] Tumusiime alina diguli eyookusatu eya doctorate of Literature and Philosophy in History of Art okuva mu University of South Africa, diguli esooka eya bachelor's degree Industrial and Fine Arts ezaamutikkirwa mu Makerere University, n'eyookubiri eya Master's in Arts okuva mu University for the Witwatersrand, Johannesburg.[3]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Tumusiime ye yali Diini w'ettendekero lya Margaret Trowell School of Industrial and Fine Art (MTSIFIA) era omukulu w'ekitongole kya Sculpture and Drawing (2010-2011) era yaliko akulira ekitongole kya Visual, Communication, Design and Multimedia (20202-2022) mu Makerere University.[4][5]
Tumusiime musiizi wa langi, munnabyafaayo, era ali ku ddaala eriddirira erya Pulofeesa mu Department of Visual Communication Design, Art and Multimedia. Mukugu era alina obumanyirivu mu kunoonyereza mu kitongole kya Rhodes University's Department of Fine Arts mu South Africa.[3] Akozesa obukugu bwe okuyambako mu kulwanirira eddembe ly'abakyala.[6][7]
Engule ezimuweereddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Tumusiime afunye awaadi eziwera, omuli: eya African Studies Association mu ASA Presidential Fellowship eyategekebwa ku Princeton University, okusomera obwereere mu sikaala ya Fulbright Scholarship, ssaako sikaala endala bbiri eza postgraduate merit award mu University of the Witwatersrand.[7]
Era munna kibiina kya Carnegie Next Generation of African Academics.
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebyawandiikibwa ebijulize
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://news.mak.ac.ug/2022/10/assoc-prof-amanda-tumusiime-takes-over-the-office-of-dean-at-mtsifa/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1336909/tumusiime-taking-emancipation-canvas
- 1 2 https://www.ru.ac.za/artsofafrica/people/researchassociates/dramandatumusiime/
- ↑ https://www.acls.org/fellow-grantees/amanda-tumusiime/
- ↑ https://softpower.ug/prof-amanda-tumusiime-appointed-dean-of-margaret-trowell-school-of-industrial-and-fine-art/
- ↑ https://www.ru.ac.za/latestnews/archives/2014%20archive/myloveforgrahamstownshinesthroughmyartwork.html
- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/she-paints-the-pain-of-the-girl-child-on-canvas--1816552 Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":4" defined multiple times with different content
