Amanya Mushega
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Yazaalibwa nga | 27 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1946 | |
| Gy'azaalwa | Bushenyi | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | diplomat, munnabyabufuzi, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Secretary General of the East African Community | |
| Gyeyasomera | University of Dar es Salaam, Queen's University, Mbarara High School | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
Nuwe Amanya Mushega, amanyiddwa ennyo nga Amanya Mushega, munnamateeka , munnabyabufuzi, munnamawulire omukozi wa gavumenti era Munna Uganda. Yaliko omuwandiisi omukulu ow’omukago gwa (East African Community) okuva mu 2001 okutuuka mu 2006.
Ebuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa nga 28 Omwezi gwomukaaga 1946 mu Disitulikiti y'e Bushenyi mu Maserengeta ga Uganda .
Okusomakwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mushega okusoma kwe yakutandikira mu Uganda . Yasomera ku Mbarara High School okuva mu 1963 okutuuka mu 1966, n’gatanegata ku Kings College Budo mu 1967. Yegatta ku Yunivasite y’e Dar es Salaam mu 1969 okusoma amateeka. Yafuna Diguli ye eya mateeka mu 1972 n’agenda mu maaso okusoma n’afuna Diguli eyokubiri mu mateeka okuva mu Queen’s University e Kingston, Ontario, Canada mu 1974. Ku nkomerero y’emyaka gye1970, Mushega yeewandiisa mu pulogulaamu ya Diguli eyokusatu ( Doctor of Philosophy ) mu London School of Economics kyokka n’alekawo pulogulaamu eyo bwe yeegatta ku National Resistance Movement mu 1981. [1]
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu Yunivasite y’e Dar es Salaam, yakomawo mu Uganda mu 1972 n’asomesa ng’omusomesa aliku ddala elisoka mu kitongole ky’amateeka mu Yunivasite y’e Makerere . Oluvannyuma lw’okufuna Diguli ye eyookubiri mu 1974, yafuuka omusomesa mu kitongole ky’amateeka mu Yunivasite y’e Zambia e Lusaka . Yaddayo mu Yunivasite y’e Makerere mu 1979 ng’omusomesa era n’agenda mu maaso n’omulimu ogwo okutuusa mu 1981.
Mu 1981, Mushega yeegatta ku ggye lya National Resistance Army erya Yoweri Museveni, gye yaweereza nga akulira ebyobufuzi mu ggwanga era n’alinnya ku ddaala lya coloneli . Wakati wa 1986 ne 2001, yaweereza ku mirimu gya baminisita egy’enjawulo, mu minisitule z’ebyokwerinda, gavumenti z’ebitundu, ebyenjigiriza, n’abakozi ba gavumenti. Mu kiseera ekyo era yaliko omubaka wa palaamenti ng’akiikirira Buvanjuba bwa Igara mu Disitulikiti y’e Bushenyi.
Mu 2001, yalondebwa abakulembeze b’amawanga ga EAC okuweereza ekisanja kya myaka etaano ng’omuwandiisi omukulu owa EAC. [2]
Ebikwata ebyomunda
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’emirimu gye mu mu mukago okugaata amawanga ga East Africa (EAC), Mushega yakomawo mu Uganda era ng’ali wamu n’abalala, ne batandikawo kkampuni ya Mushega & Associates Consultants, kkampuni ey’obwannannyini egaba amagezi ag’ekikugu ku nsonga ez’enjawulo. [3] Oluvannyuma lw'ennongoosereza mu ssemateeka eyaggyawo ekkomo ku bisanja bya pulezidenti mu Uganda mu 2005, Mushega eyawakanya ennongoosereza eno, yava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement ne yeegatta ku kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC). [4] Mu kiseera kino akola nga omumyuka wa pulezidenti wa FDC mu kitundu ku maserengeta ga Uganda. [5]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Template:Dead link
- ↑ "Work History of Amanya Mushega". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2011-04-21.
- ↑ "About Mushega & Associates". Archived from the original on 2011-08-22. Retrieved 2011-04-21.
- ↑ Amanya Mushega Left NRM Fo"About Mushega & Associates". Archived from the original on 2011-08-22. Retrieved 2011-04-21.r FDCTemplate:Dead link
- ↑ Amanya Mushega Is High "About Mushega & Associates". Archived from the original on 2011-08-22. Retrieved 2011-04-21.Ranking FDC OfficerTemplate:Dead link