Amasiinya
Amasiinya mu Lungereza agetera okuyitibwa red palm weevil, Asian palm weevil oba sago palm weevil . Kiwuka ekiriibwa yadde nga kiriibwa ku mutendera nga kiringa ekisokomi oba ekisaanyi. Amasiinya gawangaalira mu bibala n'emiti egirimu engeri y'ebiwuzi mu nduli yaazo okugeza ebinazi, ebibo ne kokonanti. [1]
Yadde nga ebiwandiiko binji bigamba nti amasiinya gaasibuka ku lukalu lwa Asia, okusobola okusaasanira Afirika ne Bulaaya. Mu bitundu byenyanja Mediterranean gasooka kuzuulibwa mu myaka gya 1980. Naye kino kyakulya ekiwoomera ennyo abantu mu bizinga e Ssese mu disitulikiti ya Kalangala.[2]
Amasiinya bwegakula okusukka wegaliirwa gafuuka ekiwuka mu lulimi lwa banna ssayansi kyebayita Rhynchophorus ferrugineus era galiibwa ne mu bitundu byensi ebirala nga mu mawanga g'obukiikaddyo bwa Asiya . Kyokka olw'okuba amasiinya gasaanyawo emiti mwgakulira, abalimi naddala abamasamba g'ebinazi n'ebibo bagekokkola nnyo era mu bitundu binji tegakkirizibwa kulundibwa . [3][4]
Emitendera mu nkula
[kyusa | kolera mu edit source]


Amasiinya ganyumirwa nnyo okubeera mu binazi nebibo ebikuze obulunji naddala nga ebyo ebiri mu myaka amakumi abiri n'okudda waggulu. Ekiwuuka ekibiika amagi agavamu amasiinya kibiika amagi wakati w'ebikumi bibiri okutuuka ku bitaano buli lubiika mu nduli y'omuti. Era okuva mu ggi okutuuka ku kiwuka kitwaala emyezi esatu ku ena[5]
Endya n'enfumba
[kyusa | kolera mu edit source]
Amasiinya gafumbibwa era negaliibwa mu ngeri ezenjawulo mu mawanga gyegaliibwa okugeza mu nsi nga Vietnam . [6] galiibwa mabisi ku nva zebyennyanja. abalala nga mu bitundu bya Ssese bagasiika oba okugakalanga mu ntamu negakala olwo nebagaliira ku lumonde omufumbe obulungi, omuceere oba kacuumbaali.. [6][7]
Ebiwandiiko ebikozeseddwa
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help) https://web.archive.org/web/20210519030406/https://www.pestalerts.org/pest-alert/rhynchophorus-ferrugineus-oliver-0 - ↑ http://www.cabi.org/isc/datasheet/47472
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help) https://thuvienphapluat.vn/van-ban/Linh-vuc-khac/Chi-thi-01-2015-CT-UBND-nghiem-cam-nhan-nuoi-phat-tan-duong-dua-tinh-Ben-Tre-282219.aspx - ↑ "Rhynchophorus ferrugineus (RHYCFE)". Global Database. European and Mediterranean Plant Protection Organization. 2002-10-21. Retrieved 2021-02-15.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs namedIntegrated-Management
- ↑ 6.0 6.1
{{cite web}}
: Empty citation (help) http://vietnamnet.vn/vn/kinh-doanh/164434/kinh-di-duong-dua-dac-san-kho-xoi.html - ↑ (677–686).
{{cite journal}}
: Cite journal requires|journal=
(help); Missing or empty|title=
(help)