Jump to content

Amazina ga Agwara

Bisangiddwa ku Wikipedia
Alur man in Traditional Alur Cultural wear.
Omusajja ow'e ggwanga lya Alur mu nyambala y'ekinaansi eya Alur.
Abantu b'ggwanga lya Alur nga boolesa amazina gaabwe
Abantu ba Alur ku siteegi nga bayimba amazina ga Agwar

Agwara [1] mazina ga mu lubiri nadala mu bantu b'e Alur mu Bukiikakkono bwa Uganda n’ebitundu bya WestNile, agazinibwa mu maaso g'omukulembezze w'eby'obuwangwa amannyikiddwa nga Rwot.[2] Gazinibwa abakazi n’abasajja mu mikolo gy'awamu. Amazina gano gazinibwa kungoma, ng'era gakozesa enyiriri n'entambula y'okubeera munkulungo nga bakozesa amagulu n'okukyusa ebiwato nga ebide by'okubukongovule okuggumiza entambula y’ebigere byabwe.[3][4][5] Amazina gatuumibwa oluvannyuma lw'erinnya ly’amaloboozi g’amakondeere amawanvu agamanyiddwa nga amayembe ga agwara.[6] Amazina gagenze gakyukakyuka okusinziira mu nkola y’abantu ba Alur nga batabula n’okusiiga ebitoomi ku mayumba gaabwe nga muno entambula zaago mwezagibwa ne zifuuka okwolesebwa kw’amazina mu butongole.[7]

Engeri gyegazinibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu biseera ebyayita, Agwara yazinibwa nga ku mikolo egyategekebwanga ng'ebitundu okusobola okusinza oba okusanyusa bakatonda, okusobola okubasaba amakungula amalungi nga tebanasiga, ku mukolo gy'amasekati g'ekyeya oba ebikujuko by'amasekati gw'obutiti, oba ku mukolo gwokka ogw’okuyingira mu mutendera omupya ogw’omwezi oba singa waaliwo obwetaavu bw’enkuba. Okwongerako, waliwo ebika bya agwara byamirundi ebibiri, okuli " Kwaya" oba " Mbaka" agazinibwa okumala enaku bbiri naddala nga waliyo empaka z'ebika n'okujaguza ebikujuko by'abakulembezze b'eby'obuwangwa, ne " Selewa" nga gabeera ga bulijjo okwebaza olw'emikisa emirungi gamba ng'okukungula okulungi n'obuwanguzi obw'awamu.[8][9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "2007 Kampala, Uganda". doi.org. 2016-09-01. doi:10.14217/776362ed-en (inactive 1 July 2025). Retrieved 2025-02-23.{{cite web}}: CS1 maint: DOI inactive as of Gwamusanvu(Kasambula) 2025 (link)
  2. "Rwot Ubimi urges subjects on developing kingdom". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-27.
  3. Oneka, Dennis (2011-05-06). "Agwara dance" (in Lungereza). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help)Template:Dead link
  4. "Cultural Dances in Uganda". Waka Natures (in American English). Archived from the original on 2024-01-27. Retrieved 2024-01-27.
  5. "Alur". 101 Last Tribes. Retrieved 2024-01-27.
  6. "Agwara dance -- [Digital Collection of East African Recordings]". diglib.library.vanderbilt.edu. Retrieved 2025-02-23.
  7. Dennis, Oneka (2011-05-06). "Agwara dance". Archived from the original on 2024-01-09. Retrieved 2025-02-23. {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help)
  8. "2007 Kampala, Uganda". doi.org. 2016-09-01. doi:10.14217/776362ed-en (inactive 1 July 2025). Retrieved 2025-02-23.{{cite web}}: CS1 maint: DOI inactive as of Gwamusanvu(Kasambula) 2025 (link)
  9. "Rwot Ubimi urges subjects on developing kingdom". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-27.