Aminah Zawedde
Aminah Zawedde, munnayuganda omukugu mu kukozesa kompyuta ,omusomesa ku matendekero aga waggulu era omukulembeze mu wofiisi za gavumenti, aweereza ng'omuwandiisi ow'enkalakkalira owa minisitule ya Uganda eya tekinologiya w'eby'empuliziganya n'okulungamya eggwanga okuva nga 15 Omwezi ogwomusanvu(Kasambula) 2021. Ekyo nga tekinnabaawo Zawedde yali musomesa era omunoonyereza mu bbanguliro ly'ebyuma bi kalimagezi (Computer ), ne tekinologiya w'ebyempuliziganya (School of Computing and Information Technology) ku Ssetendekero y'e Makerere, Ssetendekero ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda.[1][2]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu ttundutundu lya Buganda ekya Uganda mu myaka gya 1970. Oluvannyuma lw’okusomera mu masomero ga pulayimale ne siniya agoomukitundu, yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere . Yatikkirwa ddiguli esooka mu bibalo n'ebyefuna mu 2001. Kweyo yazzaako ddiguli eyokubiri mu nkola ennungamu era ezirimu tekinologiya eziteekateekebwa okukunganya, okulongoosa, okutereka n'okusaasanya obubaka oba amawulire ( Information Systems ) era nayo okuva mu yunivasite y’e Makerere.[1][2]
N'era yasomera ku Yunivasite y'e Cape Town , n’atikkirwa ne dipuloma eddirira ku ddiguli esooka (Post graduate diploma ) mu tekinologiya w'ebyenjigiriza , mu 2014. Ddiguli ye eyokusatu PhD- (Doctor of Philosophy) yali mu kuzimba / okukola / oba okubaga ebiragiro ebiwa ebyuma bi kalimagezi / komupyuta eky'okukola (Software Engineering )gye yafuna okuva mu yunivasite y'e Eindhoven eya Tekinologiya (Eindhoven University of Technology) , mu Budaaki, mu 2016.[1][2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Zawedde abadde musomesa era omunoonyereza ku bbanguliro ly'ebyuma bi kalimagezi ne tekinologiya w'ebyempuliziganya e Makerere emyaka egisoba mu kkumi n'etaano . Emyaka etaano egyasooka, yali musomesa omuyambi . Okutandika n'Omwezi ogusooka 2011, okutuuka mu mwezi ogwomusanvu 2021 yali omusomesa ow’enkalakkalira alondoola abayizi abasoma ddiguli esooka n’eddiguli eziddirira esooka ku bbanguliro.[3]
Mu kiseera ekyo, yakola era naweereza nga tasasullwa mu bifo eby’enjawulo eby'okusomesa n’ebitali bitali bya kusomesa, omuli nga Omukozi akunganya ebikwata ku bantu n'ebitundu (Data officer ) mu kakiiko k’ebyokulonda mu Uganda, ng'omuyizi asoma tekinologiya w'obubaka /ebyempuliziganya (IT) agezesebwa mu kitongole kya Uganda ekikunganya omusolo , ng'eyebuuzibwako ku tekinologiya w'obubaka / ebyempuliziganya mu kitongole ekirwanyisa endwadde ezisiigibwa (Infectious Diseases Institute ) era ng'omusomesa agenyiwalako okusomesa mu yunivasite ya KCA mu Nairobi, Kenya.[3]
Nga 15 Omwezi ogwomusanvu 2021, pulezidenti Yoweri Museveni yakola enkyukakyuka engazi ezaakosa minisitule za kabineti eziwerako omuli n’okuwummula kw’abawandiisi ab’enkalakkalira musanvu. Ng’ekitundu ku nkyukakyuka ezo, Zawedde yaweebwa ogw'obuwandiisi obw'enkalakkalira owa minisitule y'a tekinologiya obubaka ,empuliziganya n'okulungamya eggwanga (ICT) n’adda mu bigere bya Vincent Waiswa Bagiire eyatwalibwa mu minisitule y’ensonga z’ebweru.[4]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Zawedde awandiise oba yeegasse n'abawandiisi abalala okuwandiika ebiwandiiko ebikebeddwa era nebiyitwamu abakugu, mu bisaawe omuli obukugu bwe era n'agabana ebimu ku byo mu nkiiko z'ebitundu n'ez'eggwanga ezikungaanya abayizi, abayivu n'abakugu.[5]
Akola nga omukulu atali ku lukiiko lw'abakulu abaddukanya emirimu, aba kkampuni ya DFCU Group, kkampuni eyazaala DFCU Bank n;ekitongole ky'eggwanga Uganda eky'obubaka ne tekinologiya ki (NITA-U).[6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Jonah Kirabo (15 July 2021). "Dr. Aminah Zawedde: Meet the new Permanent Secretary of Ministry of ICT and National Guidance". Nile Post Uganda. Kampala, Uganda. Retrieved 30 July 2021.
- George Asiimwe (16 July 2021). "Meet The New ICT Ministry PS: Dr. Amina Zawedde". ChimpReports. Kampala, Uganda. Retrieved 30 July 2021.
- Aminah Zawedde (30 July 2021). "Profile of Dr. Aminah Zawedde". LinkedIn.com. Retrieved 30 July 2021.
- Nathan Ernest Olupot (16 July 2021). "Dr. Aminah Zawedde Appointed as the new PS of Ministry of ICT". PC Tech Magazine. Kampala, Uganda. Retrieved 30 July 2021.
- "Partial List of Articles Authored By Aminah Zawedde, PhD". Scholar.Google.com. 30 July 2021. Retrieved 30 July 2021.
- Simon Abaho (16 July 2021). "Who Is Dr. Aminah Zawedde, The New Permanent Secretary Of ICT". ExposedUganda.com. Kampala, Uganda. Archived from the original on 30 July 2021. Retrieved 30 July 2021.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Dr. Aminah Zawedde: Munnakibiina kya NITA Uganda
- Breaking: Museveni alonze abawandiisi ab'enkalakkalira abapya Okuva nga 15 July 2021.
Lua error: Invalid configuration file.
- 1 2 3 Jonah Kirabo (15 July 2021). "Dr. Aminah Zawedde: Meet the new Permanent Secretary of Ministry of ICT and National Guidance". Nile Post Uganda. Retrieved 30 July 2021.
- 1 2 3 George Asiimwe (16 July 2021). "Meet The New ICT Ministry PS: Dr. Amina Zawedde". ChimpReports. Retrieved 30 July 2021.
- 1 2 Aminah Zawedde (30 July 2021). "Profile of Dr. Aminah Zawedde". LinkedIn.com. Retrieved 30 July 2021.
- ↑ Nathan Ernest Olupot (16 July 2021). "Dr. Aminah Zawedde Appointed as the new PS of Ministry of ICT". PC Tech Magazine. Retrieved 30 July 2021.
- ↑ "Partial List of Articles Authored By Aminah Zawedde, PhD". Scholar.Google.com. 30 July 2021. Retrieved 30 July 2021.
- ↑ Simon Abaho (16 July 2021). "Who Is Dr. Aminah Zawedde, The New Permanent Secretary Of ICT". ExposedUganda.com. Archived from the original on 30 July 2021. Retrieved 30 July 2021.