Jump to content

Amon Bazira

Bisangiddwa ku Wikipedia

Amon Bazira oluusi ayitibwa Amon Kabunga Bazira ; [1] yazaalibwa 1944–1993 yali mukulembeze wa Uganda ow'omwoyo gw'okulwanirira eddembe ly'Abafirika era eyateekawo enkola ey'ekikessi ey'ekyama eyagenderera okuvuunika gavumenti y'eyali munnamagye era eyali pulezidenti wa Uganda, Idi Amin. Oluvannyuma lw’okuyambako okuggyako Idi Amin, Bazira yaweereza ng’omumyuka wa Dayirekita w’ekitongole ekikessi, n’oluvannyuma n’akola nga Dayirekita w’ekitongole ekikessi mu Uganda mu 1979. Yakola lipooti ya gavumenti ng’alagula nti waali wajja kubaawo ekittabantu mu Rwanda era kijja okuvaako akasambattuko mu Masekkati n’Obuvanjuba bwa Afrika, era n’ateesa okuwa obutuuze eri bannansi ba Rwanda n’Abafirika abalala mu Uganda, ng’engeri y’okuziyiza ekittabantu. Mu Gwomunaana 1993 Amon Bazira yatemulwa wakati w'ebibuga Nairobi ne Nakuru mu Kenya. [2]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Amon Bazira yasomera mu Bwera Junior Secondary School oluvvannyuma ne yeegatta ku Nyakasura School mu Disitulikiti y'e Fort Portal. [3] Oluvannyuma yeegatta ku Yunivasite y’e Makerere gye yasomera obufirosoofa, Ebyafaayo n’amateeka n’atikkirwa mu 1970.

Amon Bazira yaweereza ng'omubaka mu Paalamenti owa Kosityuwensi ya Kasese ey'Obuggwanjuba wakati wa 1980 ne 1985 [4] [5] .Era yaweereza nga Minisita omubeezi ow’ettaka, amazzi n’okupunta mu gavumenti ya Obote II, ekifo kye yalimu okutuusa gavumenti eyo lwe yagwa mu Gwomusanvu nga 27, 1985. [6] [7]

Obulamu bwe obw'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Amon Bazira yali mufumbo eri Mary Bazira [8] era ye taata wa Daniel Bazira Kashagama, [9] eyalondebwa okuba omukulembeze ow'ennono owa Busongora. [10]

Era yali Ssezaala wa Obiora Chinedu Okafor eyawasa muwala we Annette Atugonza. [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Former MP Bazira deserves a decent burial in Kasese - Daily Monitor". www.monitor.co.ug. Retrieved 2019-05-16.
  2. "Uganda Rebel Chief Murdered in Kenya". Los Angeles Times. Nairobi, Kenya. Reuters. 21 August 1993.
  3. Kambere, Amos Mubunga (2010). Celebrating Literacy in the Rwenzori Region: Lest We Forget: A Biographical Narrative of Uganda's Youngest Member of Parliament, 1980-1985 (in Lungereza). Trafford Publishing. ISBN 9781426930973.
  4. "Former MP Bazira deserves a decent burial in Kasese - Daily Monitor". www.monitor.co.ug. Archived from the original on 2018-10-20. Retrieved 2019-05-16.
  5. "Four princes line up for Bakonzo/Bamba kingship". www.newvision.co.ug. Retrieved 2019-05-16.
  6. "Former MP Bazira deserves a decent burial in Kasese - Daily Monitor". www.monitor.co.ug. Archived from the original on 2018-10-20. Retrieved 2019-05-16.
  7. "Ugandan rebel group says bomb attacks to continue - Uganda". ReliefWeb (in Lungereza). 15 May 1999. Retrieved 2019-05-16.
  8. "Former MP Bazira deserves a decent burial in Kasese - Daily Monitor". www.monitor.co.ug. Archived from the original on 2018-10-20. Retrieved 2019-05-21.
  9. "Two fight for Busongora throne - Daily Monitor". www.monitor.co.ug. Retrieved 2019-05-21.
  10. "Imara Dan Kashagama Ndahura II crowned as King of Busongora". Uganda Radio Network. Retrieved 2019-07-27.
  11. Okafor, Obiora Chinedu (2000-01-26). Re-Defining Legitimate Statehood: International Law and State Fragmentation in Africa (in Lungereza). Martinus Nijhoff Publishers. ISBN 9789041113535.