Jump to content

Amos Lugoloobi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Lugoloobi Amos
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAmos Kyusa
Yazaalibwa nga21 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1961 Kyusa
Gy'azaalwaKayunga Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza, Luganda Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, legislator Kyusa
Ekifo ky'alimuState Minister of Finance for Planning, Omubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
GyeyasomeraSsettendekero wa Makerere, Eastern and Southern African Management Institute Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa
Okwesiimbawo kwe mu kaluluAkalulu ka Uganda aka 2026 Kyusa
Mmemba wa12th Parliament of Uganda Kyusa
AkiikiriraKayunga Kyusa

Amos Lugoloobi (yazaalibwa 21 Ogwomukaaga 1961) MunnaUganda, munnabyabufuzi.Mu kiseera kino ye Minisita Omubeezi ow’ebyensimbi n’enteekateeka era nga ye mubaka akiikirira Ntenjeru ey'oBukiikakkono, Disitulikiti y'e Kayunga mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumin’emu.

Mu Gwekkumi, 2023, yavunaanibwa emisango egy'ali gy'ekuusa ku nguzi n'okubba amabaati, ekintu eky'atwaliramu abakungu ba gavumenti abawerako.[1] Akyagenda mu maaso n’okwegaana emisango gino. Yasigala ng'awakanya ebyamuvunaanibwa, ng'agamba nti talina musango era oluvannyuma omusango ne gukomezebwawo mu offiisi y'ekitongole kya Director of Public Prosecutions (DPP) okuggyawo emisango egyali gimuvunaanibwa mu kkooti y'okulwanyisa obuli bw'enguzi mu Kampala.[2][3][4][5]

Amosi Lugoloobi akyali ku lukalala lw'abantu abaateekebwako envumbo okuva mu Minisitule y'Ensonga z'Amawanga eza Amerika  ne Gavumenti ya Bungereza . Ku lukalala olwo mulimu ne mukyala we, wamu n'abakungu abalala mu gavumenti omuli Omwogezi wa Paalamenti Anita Annet Among, eyali Omumyuka w'Omuduumizi w'Eggye (CDF) Lt. Gen. Peter Elwelu, eyali Minisita Omubeezi ow'Ensonga za Karamoja Agnes Nandutu, ne Minisita eyali avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu.[6][7][8]

Obuto bwe nokusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Lugoloobi yazaalibwa 21 Ogwomukaaga 1961 eri Bwogi, eyali Dayirekita wa UTV ne Mary Bwogi mu Disitulikiti y'e Kayunga . Alina Diguli mu by’enfuna okuva mu Ssettendekero wa Makerere ne Diguli ey'okubiri mu kuddukanya bizinensi eya Master's Degree in Business Administration okuva ku Eastern and Southern African Management Institute (ESAMI). [9]

Munnabyabufuzi ali mu kibiina kya National Resistance Movement era mmemba wa paalamenti. [10] Addukanya pulojekiti ze ez’obuntu ezikwata ku mazzi amayonjo, emizannyo, ebyobulamu, ebyenjigiriza, pulogulaamu za sikaala eri abayizi n’enteekateeka z’okutumbula embeera z’abantu ng’okusima nayikondo n’okuziddaabiriza. [10]

Emirimu gya Paalamenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Mmemba  ku Kakiiko akavunaanyizibwa ku byobusuubuzi, akakiiko akavunaanyizibwa ku byensimbi, okuteekateeka n'enkulaakulana y'ebyenfuna, n’akakiiko akavunaanyizibwa ku mbalirira . [10] Mu kiseera kino ye Minisita omubeezi ow’ebyensimbi. [11]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Lugoloobi mufumbo eri Evelyne Nakimera. [12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://apnews.com/article/uganda-corruption-scandal-ministers-charged-16cd8b6d0f433381fdd34b6dadfa30d5
  2. Nabakooza, Shamim. "DPP Drops Mabati Theft Case Against Lugoloobi". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-11-11.
  3. "Minister Lugoloobi stole Karamoja iron sheets - state witnesses tell court". Observer. 26 October 2023. Retrieved 19 November 2023.
  4. "Iron sheets scandal: The evidence against Kitutu, Lugoloobi". Monitor (in Lungereza). 2023-06-29. Retrieved 2025-11-11.
  5. "Iron Sheets Saga: DPP withdraws charges against minister Lugoloobi". Monitor (in Lungereza). 2025-11-11. Retrieved 2025-11-11.
  6. Law, Madeline Yingling | U. Pittsburgh School of; US (2024-05-31). "US sanctions Uganda officials for corruption and human rights violations". www.jurist.org (in American English). Retrieved 2025-11-11.
  7. "Among, Magogo, Lugoloobi among eight Ugandan officials sanctioned by US". Monitor (in Lungereza). 2024-05-30. Retrieved 2025-11-11.
  8. "U.S. Joins UK in Sanctioning Senior Ugandan Officials". allAfrica.com (in Lungereza). 2024-05-31. Retrieved 2025-11-11.
  9. "Hon. Lugoloobi Amos". MPScan Uganda (in American English). Retrieved 2022-03-02.
  10. 1 2 3 https://www.mpscanug.com/profile/lugoloobiamos/
  11. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/lugoloobi-s-budget-full-speech-3432506
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-02. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Omukutu gwa Paalament ya Uganda
  • Omukutu gwa Gavumenti ez'ebitundu mu Disitulikiti y'e Kayunga