Jump to content

Amos Mubunga Kambere

Bisangiddwa ku Wikipedia

Amos Mubunga Kambere muwandiisi wa Uganda–Canada, omukugu mu by’enjigiriza, era eyali omubaka wa Palamenti mu Palamenti ya Uganda . Mu 1980, Amos Mubunga Kambere yafuuka omubaka wa Palamenti ya Uganda asinga obuto ku myaka abiri mu mukaaga ng’akiikirira Bukiikaddyo bwa Kasese. [1]

Muwandiisi era awandiise ekitabo ekiyitibwa Celebrating Literacy in the Rwenzori Region: Lest We Forget: A Biographical Narrative of Uganda’s Youngest Member of Parliament, 1980–1985. Ekitabo kino kirina omuko ogw'okubiri ku mukutu gwa Amazon .

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Amos Mubunga Kambere yazaalibwa mu 1954 e Kyarumba mu Disitulikiti y’e Kasese mu Bugwanjuba bwa Uganda, nga yakulira ku nsozi za Rwenzori. Yasomerako ku Kyarumba Primary School nga tannayingira siniya mu kibuga ekikulu ekya Uganda Kampala . Oluvannyuma yasoma eby’enfuna n’ebyenjigiriza mu Kyambogo University College.

Mu 1978, Amos yagenda e Kabale, disitulikiti eri mu kitundu ky’obukiikaddyo bw'obugwanjuba bwa Uganda gye yasomesa ku ssomero lya Kigezi High School ng’akulira ekitongole ky'essomo ly’ebyobusuubuzi. Era yali akola nga kapiteeni wa ttiimu y’omupiira ey’omu kitundu eyitibwa Kabale Town Council (KTC).

Ebyobufuzi bye

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw’okumala akaseera katono ng’omusomesa e Kabale, Amos yaddayo mu [disitulikiti y’e Kasese] gye yeesanga ng’ali mu byobufuzi oluvannyuma lw'okusunsulwa okukiikirira ekitundu ky’e Kasese South wansi w’ekibiina kya Uganda Peoples Congress ng’omukwasi wa bendera yaakyo.

Mu kiseera ekyo, Amos Mubunga yali yeegasse ku kibiina ky’ebyobufuzi ekya Uganda Peoples Congress ekyali kikulirwa Milton Obote bwe yali mu Kigezi Highschool.

Amos Mubunga Kambere yayitamu mu kulonda kwa Uganda okwa 1980, ekyamufuula omubaka asinga obuto mu palamenti mu lukiiko lwa Uganda olwokusatu.

Amos Mubunga awandiise ebitabo ebiwerako omuli; Celebrating Literacy in the Rwenzori Region: Lest We Forget: A Biographical Narrative of Uganda's Youngest Member of Parliament, 1980–1985, mw’awandiika olugendo lw’omutendera ku mutendera olwamutuusa ku kufuuka omubaka wa palamenti asinga obuto mu Uganda. [2] [3] Mu kitabo kino ekyafulumizibwa mu 2011, era anyumya ku kitundu kya Rwenzori mu Uganda n’olutalo lwa Bakonzo olw’okusiimibwa.

Obulamu obw’obuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Amos Kambere mufumbo ne Edith Kambere era bonna balina abaana bana ab’obulenzi. Babeera Canada gy’akyagenda mu maaso n’okuwagira abagwiira n’amaka g’ababundabunda ng’ayita mu kibiina kya Umoja Operation Compassion Society. [4] [5] [6] Mu Canada, Amos Mubunga yasoma eby’okuddukanya emirimu n’abakozi mu British Columbia Institute of Technology.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/what-nrm-can-do-to-regain-kasese-1861052
  2. https://books.google.com/books?id=ej5VzQEACAAJ
  3. https://books.google.com/books?id=ej5VzQEACAAJ
  4. https://bhayanafoundation.org/winner/amos-kambere/
  5. https://www.cbc.ca/news/canada/british-columbia/surrey-refugees-syrian-1.3315644
  6. https://www.surreynowleader.com/news/scholarship-program-launched-for-immigrant-youth-in-surrey/