Amos Okot
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Omulimu | munnabyabufuzi, pastor |
| Ekifo ky'alimu | mubaka wa palamenti |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement |
Amos John Okot Munnayuganda omusumba, munnabyabufuzi era mubaka wa Paalamenti ya Uganda nga akiikirira Agago ey'Obukiikakkono ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Yasooka kulondebwa mu 2011 mu Paalamenti ey’omwenda, kyokka n’alemererwa okuddamu okulondebwa mu 2016. Yaddamu okulondebwa mu Paalamenti mu kulonda kwa bonna okwa 2021. [1] [2] [3] [4]
Omulimu gwe ogwebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Okot omulimu gwe mu by’obufuzi gwatandika 2011, bwe yawangula ekifo ky’omubaka wa Paalamenti ek'ya Bukiika-kono bwa Agago n’alondebwa okuba omubaka mu Paalamenti ya Uganda eyomwenda (9th Ugandan Parliament), ng’adda mu kifo kya Ogenga Latigo, eyali akulira ab’oludda oluvuganya mu Paalamenti. Yafuna okusoomozebwa mu by’obufuzi nga 18 Ogwokubiri 2016, bwe yawangulwa mu kalulu ke akaali ak'okuddamu okulondebwa mu lukiiko lw'eggwanga olw'omulundi ogwe kumi, eyamuvuganya, Morris Ogenga Latigo yafuna obululu omutwalo gumu m'wenkumi nnya mu nsavu mummwenda (14,079) okukulembera Okot n'obululu mutwala gumu mu biina mwabiri (10,420).. [5] [6] Okot yawakanya ebyava mu kulonda mu kkooti ng’alumiriza okugulirira abalonzi, okutyoboola erinnya n’obutagoberera mateeka ga Paalamenti ag’okulonda ng'avunaana Ogenga Latigo n’akakiiko k’ebyokulonda kyokka n’alemererwa okukakasa ensonga ze era n’agobwa saako n'okuliyirira. [7] [8] Oluvannyuma Okot yakomawo mu by'obufuzi mu kulonda kwa bonna okwa 2021 era ne yeddiza ekifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Agago ey'Obukiikakkono okuva ku Latigo eyali amuwangudde mu 2016.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Robert Kayanja
- Jessica Alupo
- Jessica Kayanja
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://thekalongotimes.com/okot-john-amos-the-newly-elected-member-of-parliament-for-agago-north-sets-out-his-vision-for-his-constituency/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/agago-mp-explains-ambulance-withdrawal-from-hospital-1591260
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/okot-john-amos-6811/
- ↑ https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/8eec0ad3-8774-485e-b103-f0b22c4933dd/
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/prof-ogenga-latigo-bounces-back-in-agago-
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/professor-ogenga-plots-political-comeback
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-22. Retrieved 2025-08-11.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-01-30. Retrieved 2025-08-11.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)