Andrew Bashaija
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Andrew | |
| Yazaalibwa nga | 1963 | |
| Gy'azaalwa | Uganda | |
| Omulimu | munnamateeka | |
| Gyeyasomera | Washington International University, Law Development Centre, Ssettendekero wa Makerere | |
| Gyabeera | Kampala | |
Andrew Byabashaija Munnayuganda nga munnamateeka era omulamuzi ku kkooti enkulu mu Uganda. Yalondebwa mu kkooti eyo pulezidenti Yoweri Museveni nga 17 Owomukaaga 2010.[1] Nga omutandisi wa katemba mu Uganda, yaleeta eby’emikono mu bantu.[2] [ <span title="Source talks about completely different person (and is unreliable anyhow) (May 2026)">okukakasa kulemereddwa</span> ]
Ebyafaayo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yatikkirwa okuva mu Faculty of Law ey'e Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obunene era enkadde mu Uganda, n'afuna diguli ya Mateeka, circa 1986. Omwaka ogwaddako, yaweebwa Dipuloma mu by'amateeka okuva mu ttendekero lya Law Development Center, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Alina ne diguli eyookubiri mu by’enkulaakulana, nayo okuva ku yunivasite y’e Makerere. Diguli ye eya Doctor of Philosophy mu by'obusuubuzi yagifuna okuva mu Washington International University, ettendekero eriri ku yintaneeti eritaweebwanga lukusa erisangibwa mu bizinga bya British Virgin Islands.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannafuuka mulamuzi, Bashaija yali mukozi mu kitongole kya Pearl Advocates & Solicitors. Era yaweereza ng'omusomesa omukulu mu Kampala International University School of Law era nga external examiner ku Law Development Centre.[1] Yasooka okulondebwa ku bulamuzi mu 1992 ng'omulamuzi ow'omutendera ogusooka. Oluvannyuma, mu mwaka gwa 2000, yalinnyisibwa eddaala n'aweebwa ekifo kya Registrar.[1]
Ku kkooti enkulu, omulamuzi Andrew Bashaija y’akulira ekitongole ekikwata ku by'ettaka.[3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 Milton Olupot, Mary Karugaba (17 June 2010). "Museveni appoints ten new judges". Retrieved 25 February 2018. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "One" defined multiple times with different content. - ↑ "JOHN RUGANDA: THE VOICE THAT SPOKE TRUTH TO POWER". Facebook. African Ink Publishers Ltd. August 10, 2025.
- ↑ Judiciary of Uganda (15 August 2017). "The Honorable Judges Of The High Court". Judiciary of Uganda. Retrieved 25 February 2018.