Andrew Felix Kaweesi
Andrew Felix Kaweesi yaliko omuyambi w’omuduumizi wa poliisi (AIGP) mu Uganda, era nga muserikale. . Yaliko omwogezi wa poliisi okuva mu mwaka gwa 2016 omwezi ogw'omunaana okutuuka mu mwaka gwa 2017 lwe yattibwa. Yafiira ku ddaala lya Major General (eyenkana koodi ya NATO OF-7). [1] Kaweesi yali omu ku bayingizibwa poliisi mu mwaka gwa 2001 era ye yasooka okufa mu bantu abo . [2] Mu 2016, Kaweesi yalondebwa omuduumizi wa Poliisi ( Kale Kayihura ) okubeera akulira ekitongole kya Poliisi ekikwatagana n’abantu. [3]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Kaweesi yazaalibwa Kyazanga, mu disitulikiti y’e Lwengo. . Bazadde be (Esther ne Alfonse Mutabazi) baafa ekyamuleka mu mikono gya b'oluganda lwaabwe. Bazadde ba Kaweesi baabalekera ettaka eriweza yiika 640 ku kyalo Kitwekyagonja mu disitulikiti y’e Lwengo . Oluvannyuma Kaweesi yakunga baganda be okuteeka ekizimbe ku ttaka eryo. [4] Oluvannyuma yawasa Annet Kaweesi gwe yazaala naye abaana bataano. Omwana waabwe ow'okutaano yazaalibwa ku lunaku nga Kaweesi amaze okuziikibwa. Omwana ono yatuumibwa erinnya lya Kaweesi okujjukira kitaawe. [5]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kaweesi yasomera pulayimale ku St. Jude primary school okuva mu mwaka gwa 1982 okutuuka mu 1989. Yeegatta ku St. Benard college school, Kiswera okusoma O'level era yamaliriza A'level ku Kitante High school okuva mu 1994–1996. Kaweesi yasoma diguli mu by’enjigiriza ku yunivasite y’e Makerere okuva mu 1996 okutuuka mu 1999. Oluvannyuma yagenda ku diguli eyookubiri mu yunivasite y’e Nkumba ne Yunivasite y’e Nairobi gye yasomera diguli eyookubiri mu nteekateeka n’okuddukanya ebyenjigiriza ne diguli ey'okubiri mu misomo egigatta amawanga [6]
Obuweereza bwe mu gavumenti
[kyusa | kolera mu edit source]- 2015 okutuuka 2017: Dayirekita w’okutumbula abakozi/Omwogezi wa poliisi ya Uganda
- Mu mwezi ogw'omwenda mu mwaka gwa 2014: Dayirekita w’ebikwekweto mu poliisi ya Uganda.
- 2007–2010: Omuduumizi w’essomero eritendeka poliisi Kabalye.
- 2009: Omuduumizi w’essomero eritendeka poliisi Kabalye.
- 2006–2009: Omuyambi w’omuduumizi wa poliisi.
- 2005: Omuwabuzi ku kutendeka poliisi mu ttendekero lya amor Police Academy Somalia .
- 2004–2005: Omumyuka w’omuduumizi w’essomero eritendeka poliisi e Masindi .
- Okuva mu mwezi gw'okubiri- mu mwezi ogw'okutaano mu mwaka gwa 2004: Omuwi w’amagezi ku poliisi mu bugwanjuba bwa Sudan wansi w’ekitongole ky’enkulaakulana eky’ensi yonna
- 2002–2003: Omuserikale avunaanyizibwa ku poliisi ya Disitulikiti y’e Ntungamo .
- 2001: Omukulembeze wa ba kadeti mu ssomero eritendeka abaserikale e Kibuli .
- 2000: Omuyambi wa Ssentebe wa Disitulikiti y'e Masaka owa gavumenti y'ebitundu
- 1999: Dayirekita w’Emisomo era omusomesa mu ssomero lya St. Benard’s College Kiswera.
- 1997–1999: Ssentebe mu kibiina ekigatta abayizi abesasulira e Makerere (MUPSA)
Emisomo gy’okuddukanya emirimu n’obukulembeze gyeyetabyemu
[kyusa | kolera mu edit source]- Enzirukanya y’ebyokwerinda by’eggwanga 2015: Ekitongole ky’ensi yonna ekiddukanya emirimu mu Ggaliraaya.
- Omulabirizi w’okukuuma amateeka Course 2012: International Law Enforcement Academy.
- Okunoonyereza ku by’okwerinda eby’obukodyo Omusomo 2010–2011: National Defense College Nairobi .
- Omusomo gw’okukulaakulanya poliisi y’abakulira emirimu 2009: Interpol Lyon France .
- Okukwasaganya okuyiga, Omusomo gw’okukola dizayini n’okukulaakulanya: 2008 person peacekeeping Centre- Cairo Egypt .
- Obukugu mu kulabirira 2004 Makerere University Business School .
- Omusomo gw'obukodyo bw'okusomesa: Oct 2003 Essomero ly'okutendeka poliisi Masindi .
- Okuddukanya emirimu gy’okutendeka: June 2003 South Africa .
- Yagenda mu musomo gwa Police Officer Cadet Course 2001: Essomero ly'okutendeka poliisi e Kibuli . [6]
Okuttibwa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kaweesi yatemulwa ku makya ga 17 omwezi gw'okussatu mu mwaka gwa 2017 bwe yali ava mu maka ge okugenda ku mulimu. Yali atambudde n’omu ku bakuumi be Kenneth Erau, ddereeva we Geoffrey Wambewo nabo abattibwa mita nga 100 okuva ku kikomera kya Kaweesi ekisooka. Okusinziira ku byava mu kukeberebwa emirambo gino ku ddwaaliro lya Mulago National Referral Hospital kyazuulibwa nti Kaweesi yakubibwa amasasi 27, omukuumi we, Kenneth Erau, 33 ate ddereeva we Geoffrey Wambewo yakubwa amasasi 11. Emmotoka ya poliisi abassatu bano mwebaali batambulira yasangibwamu ebituli by’amasasi 77. Okusinziira ku byalabibwa abaaliwo bagamba abalumbaganyi babbiri abaali batambulira ku pikipiki baava emabega waabwe ne babayitako ne babayimirira mu maaso oluvannyuma ne basindirira emmotoka Kaweesi mweyali amasasi ne gagiyitamu. Ddereeva wa Kaweesi yagezaako okwongera ku sipiidi y'emmotoka kyokka pikipiki ne zimusinza. Uganda ebadde efuna obutemu obw'engeri emu okuva mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu mu mwaka gwa 2016. Ekyokulabirako ye muserikale w’amagye Major Sulaiman Kiggundu eyakubwa amasasi mu mmotoka ye abazigu abaali ku pikipiki bbiri. Nga ebula ennaku bbiri afe, Kaweesi yabuulira faaza ku bubaka bwe yafuna ku ssimu ye nga bumutiisatiisa. Obubaka buno bwaali buva ku nnamba etaali mpandiise. Abantu 22 abateeberezebwa okukola ekikolwa kino bakwatibbwa era nga bakyavunaanibwa emisango gino.[7]
Okuziikibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Kaweesi yaziikibwa ku biggya bya bajjaajja be e Kyazanga, mu disitulikiti y’e Lwengo ku Lwokubiri nga 21 March. Ekyo nga tekinatuukibwako, omulambo gwa Kaweesi gwatwalibwa ku kkanisa ya St. Andrew, Kulambiro, Ntinda, Kampala ku Ssande nga 19 omwezi ogw'okussatu okusaba ku ssaawa 9 ez’olw'eggulo. Olumbe lwakumibwa mu maka ge e Kulambiro. Era ku lwa Kaweesi missa yategekebwa ku Lutikko e Rubaga ku Mmande nga 20 omwezi ogw'okussatu [8]
Laba nabino
[kyusa | kolera mu edit source]- Poliisi y'eggwanga
- Olukalala lw'amassomero g'amagye mu Uganda
- Eyaliko omuyizi omumanyifu kuYunivasite y’e Makerere
Ebiwandiiko ebikozeseddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "In Pictures: Andrew Felix Kaweesi's life and times". No. 17 March 2017. Retrieved 12 January 2018.
- ↑ "Kaweesi first to die among 2001 police intake". Retrieved 12 January 2018.
- ↑ "Uganda: Andrew Felix Kaweesi Appointed New Police Spokesperson". Retrieved 12 January 2018.
- ↑ "The Andrew Felix Kaweesi I knew". Retrieved 12 January 2018.
- ↑ "Kaweesi's last-born child Kaweesi Jr baptized". Retrieved 12 January 2018.
- 1 2 "BIOGRAPHY: WHO WAS ANDREW FELIX KAWEESI?". Archived from the original on 13 January 2018. Retrieved 12 January 2018. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "auto" defined multiple times with different content - ↑ "Uganda police spokesperson, two others shot dead in moving vehicle". Retrieved 12 January 2018.
- ↑ "Kaweesi: Police release burial arrangements". Retrieved 12 January 2018.