Jump to content

Andrew Kaluya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kiiza Andrew Namitego Kaluya
Munnayuganda munnabyabufuzi Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waAndrew Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga8 Gwakubiri (Mukutulansanja) 1978 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waIganga, Iganga Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, legislator Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziNational Unity Platform Kyusa Wikidata
Okwe­siim­ba­wo kwe mu kaluluAkalulu ka Uganda aka 2026 Kyusa Wikidata
Mmemba wa12th Parliament of Uganda Kyusa Wikidata

Andrew Kiiza Kaaluya Namitego ( yazaalibwa 8 Ogwokubiri 1978 ) munnayuganda, omukozi mu kitongole ky'ensonga z'abantu, omutandisi w'emirimu era munnabyabufuzi. Ye mubaka wa paalamenti omulonde ow'essaza lya Kigulu ey'obukiika ddyo, mu Disitulikiti ye Iganga , era talina kakwate ku kibiina kya byabufuzi kyonna mu Uganda. [1] Mubaka wa kabondo ka babaka abajjira ku bwa namunigina era aweereza ku kakiiko k'ebyobulimi n'akakiiko akavunaanyizibwa kubulwadde bwa mukenenya/siriimu n'endwadde ezimugenderako mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi .[2]

Kaluya era ye pulezidenti w’ekitongole kya SCOPE Foundation ekilafuubana okuvujjirira / okwasirira abaana b’abasibe ba Uganda, nga bwe kiri mu kiwandiiko ekitongole ekiraga ensonga lwaki ekitongole wekiri n'ebigendererwa byakyo (Mission statement).[3]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kaluya yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Iganga mu ttundutundu kya Busoga nga 8 Omwezi ogwokubiri mu mwaka gwa 1978 mu maka amakulisitu ag'e Busoga. Kitaawe omugenzi Wilson Kaluya Tidhomu yali mukozi mu banka era yakolako ng'omukwasi w'ensimbi omukulu ( chief cashier ) owa Bbanka ya uganda enkulu ate maama we Martha Nabirye Tidhomu yali mukyala wa waka .

Yasomera ku somero lya Kampala Parents ku misomo gye egya pulayimale Nabumali High School ku misomo gya siniya eyokuna ne Kiira College Butiki ku bukugu bwa siniya ey'omukaaga . N’ekyavaamu, yafuna satifikeeti ye emalako omutendera gwa pulayimale ( P.L.E) mu 1991, satifikeeti ye emalako omutendera gwa siniya eyokuna ( UCE) mu mwaka gwa 1995 ne satifikeeti ye emalako omutendera gwa siniya eyomukaaga mu 1998.[1] Kaluya yeeyongerayo ku yunivasite y'e Makerere ku misomo gye egy'omutendera gwa yunivasite gye yatikkirwa mu mwaka gwa 2001 ne ddiguli esooka ekwata ku bantu ng'abantu, ebitundu n'amawanga g'abantu nengeri gye bawangaalamu ( Bachelor of Arts in Social Sciences)

Bweyali akyali mu ssomero, Kaluya yaweeweza ng’omuyuka w'akulira ekisulo/ ennyumba ekya /eya Banks House ku ssomero lya siniya era Nabumali High School, ng’amyuka kulira e ekisulo / ennyumba ya Mulondo House ku somero kya siniya erya Kiira College Butiki era; nga mmemba w’akakiiko akakiikirira abayizi (GRC) era Minisita w'ebyensimbi ku yunivasite y’e Makerere.

Andrew Kaluya (mu langi emmyufu) n’abamu ku balonzi be mu mwaka gwa 2017

Olw’okuba yakulira mu Iganga, ekimu ku bifo ebisingamu obwavu ku nsi, Kaluya yawangaalira mu mbeera y’okubulwa eby'etago n’okubonaabona olw’obwavu.Ng'amamaze okufuna ddiguli ye esooka mu mwaka gwa 2001, yafumintiriza n'okwolesebwa ku kitundu ng' abaana b'abasibe abawangalira mu makomera / oba abawi b'obuyambi abasookerwako mwe balina okufunira obukuumi, obugabirizi, enkulaakulana n’emikisa gy’okwetabamu mu ngeri etaliiko kkomo era etaziyizibwa. Nga bw’ekiri, yatandikawo ekitongole kya SCOPE era n’aweereza nga pulezidenti w’ekitongole kino, ekifo ky’akyalina n’okutuusa kati.[3]

Mu mwaka gwa 2015, okwagala okuleeta enkyukakyuka mu kitundu kye kyawaliriza Kaluya okwetaba mu by'obufuzi eby’okulonda nga munnabyabufuzi ku bwa namunigina . Yagenda mu maaso n’awangula akalulu ke akasooka, n’afuuka omubaka wa Paalamenti ya Uganda ey’ekkumi ng’akiikirira Essaza lye Kigulu ey'obukiika ddyo Disitulikiti ye Iganga.[4] Mu Paalamenti ey'ekkumi, Kaluya aweereza ng'omubaka w'akabondo k'ababaka abali ku bwa namunigina era aweereza ku kakiiko k'ebyobulimi n'akakiiko akavunaanyizibwa ku mukenenya / siriimu n'endwadde ezigwa mutuluba eryo.[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "KALUYA ANDREW KIIZA NAMITEGO". Parliament of Uganda.
  2. ↑ "UGANDA DECIDES 2016". Vision Group. Archived from the original on 24 March 2016. Retrieved 4 September 2017.
  3. 1 2 "Home". SCOPE Foundation. Archived from the original on 1 December 2017. Retrieved 1 December 2017.
  4. ↑ "Magyezi bill swims in hostile waters". The Observer - Uganda. The Observer. Archived from the original on 2018-06-06. Retrieved 2026-04-22.
  5. ↑ Kiggundu, Edris. "2003: How term limits got into Ssempebwa report". The Observer - Uganda. The Observer.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]