Jump to content

Andrew Rugasira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Andrew Rugasira, Munnayuganda omusuubuzi era omuwandiisi w'ebitabo.[1] Ye muwandiisi w'ekitabo ekimannyikiddwa nga <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/A_Good_African_Story" rel="mw:ExtLink" title="A Good African Story" class="cx-link" data-linkid="51">A Good African Story: How a Small Company Built a Global Coffee Brand</a>.[2] Mu 2003, yatandikawo Good African Coffee, ekika kya kaawa ekyasooka nga kidukanyizibwa Afrika okuteekebwa mu zi semaduuka wa Bungereza n’abasuubuzi mu Amerika. Rugasira yaliko ssentebe w'ekibiina ekigata Abakola Kaawa Atukiridde mu Buvanjuba bwa Afrika, memba w’ekibiina kya kya Presidential Investor Roundtable (PIRT) mu Uganda era atuula ku kakiiko akafuzi aka Maisha Film Lab. Rugasira abeera mu Kampala era taata w’abaana bataano.[3][4]

Obulamu bwe n'eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Rugasira yakulira Kampala, mu Uganda. Yatikkirwa okuva ku University of London, ne diguli mu Mateeka n'eby'Enfuna mu 1992. Awandiise empapula eziwerako n'ebiwandiiko mu mpapula z’amawulire ng'olwa Guardian mu Bungereza, Financial Times mu Bungereza, Telegraph mu Bungereza, ne New Vision mu Uganda. Rugasira munnakibiina kya Royal Society of Arts e London ng'era ayogereddeyo kumulamwa ogugamba nti “ Trade not Aid for Africa .” oba '' Musuubuzi sosi kudukirira Afrika.'' Mu Gwomukaaga 2011, yamaliriza Diguli ye ey'okubiri Sayaansi mu misomo gya Afrika ku Oxford University e Bungereza.

Good Africa Coffe

[kyusa | kolera mu edit source]

Good African Coffee yatongozebwa mu 2003, nekifuuka ekika kya kaawa ekyasooka okubeera nga kidukanyizibwa Afrika wabula nga kisinganibwa mu zisemaduuka wa Bungereza nga kuno kwaliko ekika kya Waitrose, Sainsbury’s ne Tesco. Kampuni eno ekolagana n’omukutu gw’abalimi ba kaawa abasoba mu 14,000 mu bugwanjuba bwa Uganda, ng'eno era kampuni eno gy’ekoledde n’ebifo 17 eby’okutereka n’okuwola ssente eri ebitundu ebyo eby’abalimi. Ng’oggyeeko okubeera nga asinganibwa mu zisemaduuka za Bungereza ezisoba mu 700 n’amaterekero g'eby'amaguzi agawera 500 mu Afrika, kati Good African Coffee kali asinganibwa ku mutimbagano gya yintaneeti mu Amerika.[5][6][7]

Ebifulumiziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • A Good African Story: How a Small Company Built a Global Coffee Brand. Random House UK. 2013. ISBN 978-1847922076.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Andrew Rugasira: can coffee transform lives in Africa" theguardian.com. Retrieved November 21, 2014.
  2. "Book Review: “A Good African Story” by Andrew Rugasira" africaontheblog.com. Retrieved November 21, 2014.
  3. "Book Review: “About Andrew Rugasira" Template:Webarchive randomstruik.co.za. Retrieved November 21, 2014.
  4. "Our Distinguished Fellows" Template:Webarchive africaprosperity.com. Retrieved November 21, 2014.
  5. "Selling Ugandan coffee on US shelves: A story of persistence and constant lessons" monitor.co.ug. Retrieved November 21, 2014.
  6. "Good African Coffee: From Kasese hills to American malls" newvision.co.ug. Retrieved November 21, 2014.
  7. "Trade, not Aid – Andrew Rugasira Shares His Story as an African Entrepreneur" africabookclub.com. Retrieved November 21, 2014.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]