Andrew Tendo
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Yazaalibwa nga | 22 Gwamusanvu(Kasambula) 1979 | |
| Omulimu | basketball player, basketball coach | |
| Omuzannyo | basketball | |
Andrew Tendo Senyondwa[1] (yazaalibwa 22 ogwomusanvu 1979)[2] mutendesi w′ansero era yali omuzannyi waazo mu Uganda. Mu kiseera kino ye mutendesi omukulu owa tiimu eyitibwa City Oilers mu liigi y'eggwanga eya Basketball (NBL) era akola n'omutendesi omuyambi wa ttiimu y'eggwanga eya Uganda ey'abasajja . Mu 2023, yamala akaseera katono ng’omutendesi omukulu owa ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 16.
Tendo yazannya ng’omukuumi mu mulimu gye, n’akiikirira Falcons okuva mu 1999 okutuuka mu 2007 n’oluvannyuma City Oilers okutuusa lwe yawummula mu 2016.[3] Oluvannyuma lw’okuzannya, yakyuka n’agenda mu butendesi, n’amala emyaka egiwerako ng’omuyambi w’omutendesi mu Oilers nga tannakuzibwa kufuuka mutendesi omukulu mu 2024.
Omulimu gw’okuzannya
[kyusa | kolera mu edit source]Tendo yazannyira Falcons okuva mu 1999 okutuuka mu 2007, n’awangula ekikopo kya NBL ttaano mu kiseera kye.[3] Oluvannyuma yeegatta ku City Oilers, gye yaweereza nga kapiteeni wa ttiimu okutuusa lwe yawummula mu 2016.[4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okuwummula, Tendo yafuuka omuyambi w’omutendesi wa City Oilers wansi wa Mandy Juruni.[4] Nga 22 Ogwekumineebiri 2023, yalondebwa okuba omutendesi omukulu owa Oilers oluvannyuma lwa Juruni okugenda okwegatta ku Kepler BBC esangibwa e Rwanda.[5] Tendo ayolekedde okukulembera ttiimu eno mu sizoni yaayo eyookubiri mu Basketball Africa League (BAL) mu April 2024.
Mu 2023, Tendo yatendeka ttiimu ya Uganda ey’abali wansi w’emyaka 16.[6] Era yafuuka omuyambi w'omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'abakulu mu Uganda, n'addamu okukwatagana ne Juruni.[7][8]
Omulimu ogutali gwa nsero
[kyusa | kolera mu edit source]Tendo munnamateeka omutendeke.[9]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "City Oilers at the Africa Champions Clubs ROAD TO B.A.L 2020 2019". FIBA.basketball (in Lungereza). Retrieved 25 February 2024.
- ↑ "Andrew Tendo Senyondwa - Player Profile". FIBA.basketball. Retrieved 13 June 2024.
- 1 2 "Andrew Tendo, Basketball Player, News, Stats". Afrobasket.com. Retrieved 25 February 2024. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content. - 1 2 "City Oilers' core back Tendo ahead of big task". Monitor (in Lungereza). 2024-01-03. Retrieved 2024-02-25. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - ↑ "Tendo, Koma appointed City Oilers' coaches". MTN Sports (in American English). 2023-12-23. Retrieved 2024-01-28.
- ↑ "Can lessons learnt from top coaches help Tendo qualify Uganda for the U16 African Championships?". FIBA.basketball (in Lungereza). Retrieved 2024-02-25.
- ↑ "Can Uganda secure fourth straight AfroBasket ticket?". FIBA.basketball (in Lungereza). Retrieved 2024-02-25.
- ↑ Kaweru, Franklin (2023-02-23). "Home-based players make late trip to Angola for FIBA World Cup qualifiers". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-02-25.
- ↑ Lehohla, Manyehlisa (2024-01-18). "Tendo ready to write new page in Oilers history". The Big Tip Off (in American English). Retrieved 2024-02-25.