Jump to content

Angela Leigh

Bisangiddwa ku Wikipedia

Angela Leigh (1927–2004) yali Munnayuganda eyatandikawo ekibiina ky'abazinnyi b'amazina ga Ballet ekya National Ballet of Canada ng'omuzinyi omukulu era nga yali muzinyi omukulu era omuyimbi omu yekka mu Royal Ballet.[1]

Yazaalibwa mu Uganda, Leigh yatendekebwa era n’azina ne Royal Ballet e London. Eyo, Leigh yakolagana n’omuyiiya w'amazina John Cranko, era n’asisinkana omwami we eyasooka, Clayton Leigh, gwe yazaala naye omwana omuwala, Stephanie.[2]

Leigh yali omu ku bammemba abiri mu abataano abaatandikawo ekibiina kya National Ballet of Canada,[3] era yazina ng'omuzini atambulirwako olugero lw'amazina mu mazina ga kkampuni aga classical and modern repertoire[4][5] ng’atera okuzina ne Joey Harris (aka Ivan Demidoff).[6] Ng’oggyeeko okusomesa n’okutendeka mu ssomero lya National Ballet school ne mu kkampuni, Leigh yali muyambi wa pulofeesa w’amazina mu York University[7] ne George Brown College.

Ku ntandikwa y’omwaka gwa 1950, Leigh yazina mu sizoni y’omusana n’ekibiina kya Toronto Theatre Ballet.[8]

Yalabikira mu kifo ekikulu mu firimu ya The Other Man.[9] Mu kuyiiya kw'omweso gwa mazina ga Leigh mulimu egy'essomero lya National Ballet School, Canadian Opera Company ne Ontario Ballet Theatre.

Obufumbo bwe obw’okubiri bwali n’omukozi wa firimu Omukanada (Canadian), Paul Almond. Leigh yalina omwana ow'obuwala omu Stephanie Leigh, naye nga muzinyi era musomesa.[10][11]

Mu 2003 Leigh yayambako okutandikawo kkampuni ya Ballet Victoria, kkampuni ya baleedi ey’ekikugu eyasooka ku kizinga Vancouver, British Columbia, Canada. Mu kaseera we yafiira nga 30 Ogwekkuminogumu 2004 yali muwabuzi wa kkampuni eno ku by’amazina.[12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.imdb.com/name/nm0500167/
  2. https://books.google.com/books?id=yWYCAQAAQBAJ&pg=PA195
  3. https://www.latimes.com/archives/la-xpm-2004-dec-03-me-passings3.1-story.html
  4. http://fultonhistory.com/Newspapers%2021/Buffalo%20NY%20Courier%20Express/Buffalo%20NY%20Courier%20Express%201961/Buffalo%20NY%20Courier%20Express%201961%20a%20-%201642.pdf
  5. http://www.thecanadianencyclopedia.ca/en/article/barbara-allen-emc/
  6. https://www.theglobeandmail.com/arts/obituary-joey-harris-was-a-dramatic-dancer-and-an-exacting-teacher/article18293946/
  7. http://digital.yorku.ca/i/68655/28
  8. https://books.google.com/books?id=SdalA20J_ewC&pg=PA40
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-24. Retrieved 2025-08-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://web.archive.org/web/20140513034126/http://national.ballet.ca/interact/virtual_museum/The_Tutus/#/#frame9
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-05. Retrieved 2025-08-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2015-02-03. Retrieved 2025-08-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)