Angufiru Margaret
Angufiru Margaret Munnayuganda, munnabyabufuzi, musawo omutendeke era omukozi w'omu kitundu era nga yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey’omunaana ng’omubaka wa Paalamenti ow'Essaza ly’e Ayivu, mu Disitulikiti y’e Arua nga talina kibiina.
Ebimukwatako mu kisaawe kye by'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe yali omubaka wa Paalamenti ow'e kitundu kye Ayivu, yazimba eddwaaliro eribalirirwamu obukadde bwa sillingi za Uganda 300 mu Ggombolola y’e Oluko nga kigendereddwamu okutumbula embeera y’ebyobulamu mu bantu b'ekitundu kino. [1] Margaret yadda mu bigere by'oyo eyali Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Betty Akech era n’asuubiza okubunyisa eby'enjigiriza eri abantu b’omu Ssaza ly'e Ayivu. Kigambibwa nti yali alina obwagazi okuvuganya ku kifo ku'omubaka wa Paalamenti omukyala. [2] Oluvannyuma lw'okuwangula akalulu nga talina kibiina, Margaret yalangirira nti agenda kwegatta ku kibiina ky'ebyobufuzi National Resistance Movement . [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Ayivu MP constructs sh300m hospital". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-04-06.
- ↑ "FDC's Abia setting the pace in Arua". Monitor (in Lungereza). 2021-01-10. Retrieved 2024-04-06.
- ↑ "In Brief". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-04-06.