Jump to content

Anitah Namata

Bisangiddwa ku Wikipedia
Anitah Namata
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAnita Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimuassociation football player Kyusa
Azannyira mu KiraabuKampala Queens Women Football Club Kyusa
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa

Anitah Namata (yazaalibwa 10 omwezi Ogwekkumi mu mwaka gwa 2001) muzannyi wa mupiira era Munnayuganda, azannya nga omuteebi era nga omuzibizi w'omu maaso mu ttiimu ya Kampala Queens FC mu liigi ya FUFA Women Super League .[1][2][3]

Anitah Namata yatandika okussoma kwe ku ssomero pulayimale erya Agali Awamu e Kawafu. Siniya ye yagi ssomera ku sosomero lya Princess Diana gye yasomera ekibina ekya siniya one ne siniya two.[4] Oluvannyuma, yakyuka n’agenda ku Uganda Martyrs High School, Lubaga, gye yamalira emisomo gye egya siniya mu mwaka gwa 2017, ng’abadde atendekebwa Coach Nkugwa era ng’awagirwa Ow’oluganda Leonard Nsubuga. Namata oluvannyuma yeegatta ku Kawempe Muslim Secondary School (2018), ettendekero erimanyiddwa ennyo mu mupiira gw'abakyala, gye yasomera ebyafaayo, ebyenfuna, eby'obutondde,awamu n'okubala okutono, n'afuna satifikeeti ye eya Uganda Advanced Certificate of Education mu mwaka gwa 2019 n'obubonero munaana.[5][4]

Ebyafaayo by’emirimu gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Anitah Namata yatandika okuzannya omupiira ku myaka munaana ng’asomera ku Agali Awamu Primary School. Yalabibwa Omutendesi Allan Kabonge, yeegatta ku ttendekero ly’omupiira erya Lake Victoria Soccer Academy. Yalina olugendo lw’omupiira olulungi, n’awangula empaka z’amasomero eziwerako n’essomero lya Kawempe Muslim Secondary School. Mu mwaka gwa 2022, yakola endagaano ne She Corporate FC, gye yavuganya mu mpaka za CAF CECAFA Women Zonal Qualifiers n’afuna omudaali gwa ffeeza. Ku nkomerero y’omwaka ogwo, yeegatta ku Vihiga Queens e Kenya, n’anyumirwa emyaka ebiri egy’amaanyi, n’awangula ekikopo kya liigi, n’ateeba ggoolo kkumi, n’okuwa asisiti musanvu mu sizoni y'eyasembayo. Mu mwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 2024, yakomawo mu Uganda ne yeegatta ku Kampala Queens, gy’akyagenda mu maaso n’okuzannyira.[6][2][7]

Emirimu gye mu kiraabu

[kyusa | kolera mu edit source]
Emitendera gya Kiraabu
Omwaka Kiraabu
2018-2019 Kawempe Muslim Ladies FC
2021-2022 Uganda Martyrs Lubaga WFC
2022. 2022 She Corporate FC
2022-2023 Vihiga Queens FC (Kenya)
2024 okutuuka kati Kampala Queens FC

Anitah azannye mu ttiimu y’eggwanga eya U20 mu mwaka gwa 2019 nga Uganda ettunka ne Tanzania.[8] Azannye ne ttiimu ya Senior, Crested Cranes emirundi esatu.[9]

Ebikopo byawangudde
Omwaka/Ekifo Omuzannyo
2016, 2019 – Mbale Fresh Diary School School Games
2018 – Mbale, 2019- Kasawo UMEA Games
2016 Independence
2017 – Lira Airtel Rising Stars
2018 FUFA Women Elite League
2018 Buganda Cup
2019 – Arusha East Africa Secondary School
2022/2023 - Nakuru SG Kenya Women's Premier League (KWPL)title

Emirimu gye mu mawanga g'ebulaaya

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu nsi yonna, Namata azannyinde mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Vihiga_Queens_F.C. Vihiga Queens] mu liigi y'abakazi eya Kenya . Ku Vihiga, yawangula ekikopo kya liigi n’afuna ekitiibwa kya ssekinnoomu, n’anyweza ekifo kye ng’omu ku bazannyi abasinga mu kitundu kino.[10][11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Ntege, John Paul (2024-01-10). "Kampala Queens Unveil Anita Namata". Live from ground (in Lungereza). Retrieved 2024-11-26.
  2. 1 2 "Kampala Queens unveil forward Anita Namata". MTN Sports (in American English). 2024-01-10. Retrieved 2024-11-26.
  3. "Anitah Namata - Soccer player profile & career statistics - Global Sports Archive". globalsportsarchive.com. Retrieved 2025-03-26.
  4. 1 2 "Star Profile: Parents a Driving Factor in Anitah Namata's Football Career | Voice of Bugerere" (in American English). 2024-11-08. Retrieved 2024-11-26.
  5. Abdusalam, Kigozi (2020-02-10). "Kawempe Muslims Edge Kampala Queens To Go Top". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-03-26.
  6. Isabirye, David (2022-09-09). "Anitah Namata: Forward departs She Corporate for Kenyan giants". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-26.
  7. Muyita, Joel (2024-01-11). "Kampala Queens announce first mid season transfer acquisition". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-26.
  8. Isabirye, David (2020-07-14). "Anitah Namata's exceptional love for football spurred her". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-26.
  9. Muyita, Joel (2019-03-29). "Crested Cranes: Full house after arrival of US-based duo". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-26.
  10. Sports, Pulse (2023-06-17). "Anita Namata: The prodigious Ugandan who has won Kenyans' hearts due to her prowess at Vihiga Queens". Pulse Sports Kenya (in Lungereza). Retrieved 2024-11-26.
  11. Ngwa, Lesley (2023-05-21). "Anita Namata brace inspires Vihiga to fourth league title". KICK442 Sport News (in American English). Retrieved 2024-11-26.