Anne Juuko (Munnabyanfuna)

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Anne Juuko yazaalibwa mu 1981, MunnaYuganda Akola ne Bbanka ate era Mukungu wa Bank ya Stanbic era Ssenkulu, bank ye by'obusuubuzi esinga obunene mu ggwanga ng'ezitowa akawumbi kamu n'obukadde 600 mu za ddoola bwe gwatuukira omwaka 2019.[1] Yatwala obuvunaanyizibwa buno mu gw'okusatu wa 2020 nga 1.[2]

Ebyafaayo n'ebyenjigiriza[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu masekkati ga Uganda mu gye 80. Yasomera mu masomero g'okukitundu ga Primary ne Siniya oluvannyuma ne yeegatta ku ssettendekero wa Makerere, Ssettendekero w'eggwanga asinga obukadde n'obunene. Eyo yafunayo ddiguli mu by'obusuubuzi. Ddiguli ye ey'okubiri mu by'enteekateeka yagifunira mu Heriot-Watt University Business School, mu kibuga Edinburgh, e Scotland, mu Bungereza. Mukyala Juuko yamaliriza amasoma g'obukugu amalala mangi mu by'obukulembeze n'okulungamya.[2][3]

Emirimu[kyusa | edit source]

Yatandika emirimu gy'okwenyigira mu bya Bank mu 2001.Mu gye 2000, yakolako nga amyuka akwanaganya eby'ensimbi mu Citibank Uganda Limited. Yasuumusibwa n'atwalibwa mu S Citibank Kenya Limited, gye yakola nga amyuka akwanaganya ba kasitoma n'okunoonya akatale okumala emyaka ebiri okuva mu Gwomukaaga 2010 okutuusa ogwomukaaga 2012.[2][3]

Mu 2012, yabapangisibwa ekitongole kya Standard Bank Group, okukola nga omukulu okunoonyeza ekitongole kino akatale mu nsi yonna okutuukira ddala omwaka 2017. Mu mwezi ogusooka 2018, yalondebwa okubeera akulira eby'ekikugu mu Standard Bank Namibia, kye yokolera okutuuka ogwokubiri 2020.[2][3][4]

Nga 1 Ogwokusatu 2020, Juuko yasikira Patrick Mweheire, nga Ssenkulu wa Banka ya Stanbic mu Uganda,[5] era n'afuuka omukyala Munnayuganda eyasooka mu kifo kino. Mweheire yalondebwa okuba ssenkulu wa Bank eno mu bintu ebirala nga Ethiopia, Kenya, Tanzania, Uganda ne South Sudan.[6]

Ebirabo n'engule[kyusa | edit source]

Nga akulira eby'okunoonyeza Stanbic bank akatale mu nsi yonna mu Uganda, Juuko yawangula engule ya Primary Dealer of the Year award okumala emyaka mukaaga egy'omuddiringwana.[2][3][7]

Ffamire[kyusa | edit source]

Yafumbirwa munnamateeka Apollo Nelson Makubuya okuva mu kkampuni y'amateeka eya MMAKS Advocates kkampuni y'amateeka eby'ensimbi mu Kampala, Uganda[8][9]

Laba ne Bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Bernard Busuulwa (3 March 2020). "Stanbic Uganda boss heads EA bank units". The EastAfrican. Nairobi. Retrieved 14 March 2020.
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 Martin Luther Oketch (25 February 2020). "Stanbic appoints Anne Juuko as new CEO". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 26 February 2020. Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 Ivan Mubiru (25 February 2020). "Who is Anne Juuko, the new Stanbic Bank CEO". Kampala: Watchdoguganda.com. Retrieved 26 February 2020 Cite error: Invalid <ref> tag; name "3R" defined multiple times with different content
  4. Donald Matthys (16 February 2018). "Standard Bank Appoints New Executives". Namibia Economist. Windhoek. Retrieved 26 February 2020.
  5. East Africa Business Week (25 February 2020). "Anne Juuko Appointed New Stanbic Bank Uganda Chief Executive". East Africa Business Week. Kampala. Retrieved 12 March 2020.
  6. Javira Ssebwami (25 February 2020). "Anne Juuko named new Stanbic CEO". PML Daily. Kampala. Retrieved 26 February 2020.
  7. CEO Magazine Uganda (4 November 2019). "Sources: Anne Juuko reportedly frontrunner for Stanbic top job". CEO Magazine Uganda. Kampala. Retrieved 26 February 2020.
  8. New Vision (24 January 2022). "Stanbic Bank CEO engaged to lawyer Makubuya". New Vision. The New Vision Printing and Publishing Company Limited. Retrieved 24 February 2022.
  9. New Vision (14 March 2022). "Stanbic Bank CEO, lawyer beau flaunt love at Rotary event". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 14 March 2022.

Ebibanja bya Yintaneeti eby'ebweru[kyusa | edit source]