Anne Nassanga
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 16 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1995 |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | singer |
Anne Nassanga oba Ann Maria Nassanga (yazaalibwa nga 16, Ogwokuna, 1995) era amanyiddwa nga Afrie Muunnayuganda omukozi wa firimu, omuyimbi, omuyiiya w'ennyimba, omuzirakisa, era omukugu mu by'amannyo.[1] Firimu ye "Little Faith" yawangula firimu ya Documentary esinga mu mpaka za Uganda Film Festival.[2] Era ye mubaka wa African Union CIEFFA mu kampeyini ya AfricaEducate Her.[2]
Ebyafaayo n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2018, yamaliriza diguli eya Bachelor of Science in Dental Technology okuva mu Makerere University.[3][4] Siniya yagisomera ku Gayaza High School oluvannyuma lw’okumaliriza pulayimale ku Kampala Parents School.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yatandikawo enkola ya Cal-verse, egenderera okubuulirira n’okuwagira abavubuka abakyala abayiiya.[5] Yali mubalirizi wa bitabo mu Aquila.[4] Omulimu gwe ogw'okuyimba yagutandika mu 2017 n'oluyimba lwe olwasooka ''Let her Know''.[6]
Ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]* Mulala *Like a boss *Lie *Dai
*Enuma *Don't delay *G.U.N *Sabalwanyi
*Blessing *Yodiyodi *Kalosaa *Balongo
*Kabaka *New man *Mpungu *Ggulu
*Alleluya *Her *Let her know
*Over and Above *Your girl
*Go to school *Askari *Little Faith
*Ali nange
Enyimba z'ayimbye n'abalala
[kyusa | kolera mu edit source]- Gusula wano ng'ali ne Kenneth Mugabi
Firimu ze
[kyusa | kolera mu edit source]- Little Faith
Engule z'afunye n'empaka mw'avuganyizza
[kyusa | kolera mu edit source]Yawangula engule y’ennyimba za Afro fusion era emirundi ena yasunsulwamu okuvuganya mu mpaka za All-Africa Music Awards (AFRIMA) eza 2019 ne 2021.[6] Mu awaadi za Uganda Film Festival, yaweebwa engule ya firimu ya Documentary esinga mu pulojekiti ye eya "Little Faith".[2]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Loukman Ali
- Ndagire Mariam
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Afrie takes 50 to heaven with new album Ggulu". Monitor. 2025-01-25. Retrieved 2025-03-22.
- 1 2 3 NAHABWE, TIMOTHY NSUBUGA & BRUCE (2025-03-11). "Afrie, the scientist who has found her lab in music and film". The Observer. Retrieved 2025-03-22.
- ↑ "Beyond the classroom: MultiChoice Talent Factory's Alum Ann Nassanga, breaking the glass ceiling in film production". The Independent Uganda. 2023-05-03. Retrieved 2025-03-22.
- 1 2 3 Ssejjombwe, Isaac (2021-12-05). "I sing away my depression – Afrie - Sqoop - Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos". Retrieved 2025-03-22.
- ↑ "Afrie". Music In Africa. 2019-03-17. Retrieved 2025-03-22.
- 1 2 "Singer Afrie impresses in debut solo show". Monitor. 2021-01-08. Retrieved 2025-03-22.