Jump to content

Anthony Akol

Bisangiddwa ku Wikipedia
Anthony Akol
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAnthony Kyusa
Gy'azaalwaAmuru Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa
Ekifo ky'alimumubaka wa palamenti Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziForum for Democratic Change Kyusa

Anthony Akol Munnayuganda munnabyabufuzi era mmemba wa Paalamenti ya Uganda akiikirira ekitundu kya Kilak North. Yalondebwa okukulira Acholi Parliamentary Group (APG) mu mwezi Ogwomusanvu mu 2021 okumala emyaka ebiri n’ekitundu.[1][2][3][4][5][6]

Emirimu gye egy’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Akol yalondebwa mu paalamenti ku tikiti y’ekibiina kya Forum for Democratic Change[7][8] era aweereza ku bukiiko obuvunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu, ebyensimbi n’okuteekeratekera eggwanga. Mu mwezi Ogwomusanvu 2021, yalondebwa okukulira ekibiina kya Acholi Parliamentary Group (APG) n’obululu 11 n’awangula omubaka omukyala owa Paalamenti owa Disitulikiti y’e Omoro, Catherine Lamwaka eyafuna obululu 10.[9] Nga 30 omwezi Ogwolubereberye 2020, Akol yalwaanagana ne munne akiikirira Aruu County, Odonga Otto ku pigeon hall lobby eya paalamenti.[10] Oluvannyuma lw’olutalo, Akol yategeeza bannamawulire nti ye yali yetaasa ekikonde okuva eri munne,[11] n’ategeeza nti ye muzito era n’agamba nti singa yakuba Otto ebikonde yandibadde wansi. Mu mwezi Ogwokuna 2019, emmotoka ya Akol yatomera ente ng’esala okkubo ku kyalo Wakisanyi mu disitulikiti y’e Kiryandongo ekyaviirako akabenje ne kamulumya.[12]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Anthony Akol Elected Chairperson of Acholi Parliamentary Group". ChimpReports (in American English). 2021-07-23. Retrieved 2021-08-17.
  2. "Kadaga orders MP Anthony Akol to exit Parliament over coronavirus". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2021-08-17.
  3. "Akol Anthony - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  4. "Anthony Akol". theyworkforyou.github.io. Retrieved 2023-02-04.
  5. "Amuru petition: Court declares Akol district MP". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-02-04.
  6. Kyonjo, Rashid (2021-09-20). "Court Dismisses Election Petition Against Kilak North MP Anthony Akol". TowerPostNews (in American English). Retrieved 2023-02-04.
  7. "Hon. Akol Anthony » Forum for Democratic Change". Forum for Democratic Change (in American English). Retrieved 2023-02-04.
  8. "FDC MP Akol blasts Mpuuga for boycotting House sessions". Bukedde (in Lungereza). Archived from the original on 2023-02-04. Retrieved 2023-02-04.
  9. "Akol calls for unity as he assumes Acholi Parliamentary Group leadership". The Independent Uganda (in American English). 2021-07-23. Retrieved 2021-08-17.
  10. "MPs Odonga Otto, Anthony Akol trade punches". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-08-17.
  11. "I simply slapped MP Otto in self-defence, says MP Akol". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2021-08-17.
  12. "Kilak North County MP Anthony Akol involved in accident". Nile Post (in American English). 2019-04-25. Retrieved 2021-08-17.