Jump to content

Anthony Ochaya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Anthony Ochaya
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAnthony Kyusa
Yazaalibwa nga25 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1932 Kyusa
Gy'azaalwaAtiak Kyusa
Olunaku lwe yafa6 Gwamusanvu(Kasambula) 1998 Kyusa
Place of deathMulago National Specialised Hospital Kyusa
Manner of deathnatural causes Kyusa
Cause of deathpneumonia Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, economist Kyusa
Ekifo ky'alimuMinisita Kyusa
GyeyasomeraSsettendekero wa Makerere Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziDemocratic Party (Uganda) Kyusa

Anthony Ochaya (25 Ogwekkumineebiri 1932 – 6 Ogwomusanvu 1998) Munnayuganda, munnabyabufuzi era omukugu mu by'enfuna. Yaliko Minisita w'enteekateeka n'enkulaakulana mu by'enfuna mu gavumenti ya Uganda National Liberation Front era nga yaliko ne kaminsona avunaanyizibwa ku by'enfuna mu bbanka y'ensi yonna.[1]

Obuto bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Anthony Ochaya yazaalibwa mu kibuga Atiak, mu Disitulikiti y'e Amuru mu Bukiikakkono bwa Uganda nga 25 Ogwekkumineebiri 1932.

Anthony Ochaya yatandika okusoma mu St. Joseph's Primary School, e Gulu mu Uganda. Oluvannyuma yeegatta ku St. Joseph's Secondary School era mu Gulu, Uganda . Oluvannyuma yasomera mu St. Aloysisus College Nyapea e Zombo, Uganda okuva mu 1952 okutuuka mu 1955, n’oluvannyuma n’atandika okukola diguli ye eya Bachelor of Arts mu 1956 okuva mu Ssettendekero wa Makerere mu Kampala, Uganda, n’atikkirwa mu Ssettendekero wa Makerere mu 1956.[2]

Omulimu gwe yasooka okukola

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu yunivasite y’e Makerere mu 1956, Anthony Ochaya yakola ng’omukozi wa gavumenti mu bifo eby’enjawulo ebya wansi.[3] Yasooka kukola ng'omuyambi wa kaminsona wa Disitulikiti mu Disitulikiti y’e Moyo mu Bukkikakkono bwa Uganda, ekifo kye yalimu okutuusa mu 1960. Oluvannyuma yakola nga akulira ebikujjuko bya meefuga mu ofiisi ekwasaganya ebikujjuko bino esangibwa mu Kampala, nga tannakyuka n’akola nga administrative officer mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Protectorate wansi wa Katikkiro Benedicto Kiwanuka okuva mu 1960 okutuusa 1962. Mu 1962, ekifo kya Katikkiro wa Uganda ettwale kyakyusibwa ne kifuulibwa Ssaabaminisita wa Uganda ettwaale, kyokka ekifo kya Anthony Ochaya n’omulimu gwe yakola mu ofiisi ya Ssaabaminisita Benedicto Kiwanuka byasigala bwe bimu wadde ng’erinnya ly’ekifo kino lyakyusibwa mu kukulembera ameefuga ga Uganda okuva mu Bungereza.[4]

Mu gavumenti ya Milton Obote eyasooka, Anthony Ochaya yalina ebifo eby’enjawulo eby’omutendera ogwa wakati mu ggwanga lya Uganda eryali lyakafuna obwetwaze. Mu 1962, yafuulibwa omuyambi w'omuwandiisi mu minisitule y’ebyensimbi. Mu 1963, yakolera mu minisitule y’ebyensimbi, nga tannalondebwa kubeera saabawandiisi mu minisitule y’ebyobulamu mu 1964. Yakola nga mu minisitule y’ebyobulamu okumala omwaka gumu nga tannagenda mu Minisitule y’okuteekateeka n’enkulaakulana y’abantu mu 1965. Oluvannyuma yaddayo mu minisitule y’ebyensimbi, n’akuzibwa n’afuuka omuwandiisi mu 1966.

Obuweereza bwe mu Bbanka y’Ensi Yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1966, Ochaya yava mu Uganda n’agenda mu Disitulikiti y’e Columbia mu Amerika okutwala ekifo mu kitongole ekikulaakulanya eby'enfuna mu Bbanka y’ensi yonna. Yakolera mu Philippines Division ya Bbanka y'ensi yonna oluvannyuma, ekifo kye yalimu okutuusa mu 1979 lwe yakomawo e Uganda.

Okudda kwe mu Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Bwe yali ebweru w’eggwanga ng’akolera mu Bbanka y’ensi yonna mu Disitulikiti y’e Columbia, Ochaya yatandika okwenyigira mu kibiina kya Uganda National Liberation Front, ekibinja ky’abantu abamanyifu abasinga obungi mu buwanganguse abaali bawakanya enfuga y'oyo eyali Pulezidenti wa Uganda mu kaseera ako Idi Amin era nga baagala okuggya Idi Amin mu buyinza n’oluvannyuma okutandikawo mu bwangu gavumenti ey’abantu baabulijjo ey’ekiseera.[5] Ekibiina kya Uganda National Liberation Front bwe kyatwala obuyinza mu Gavumenti ya Uganda obwali obw'ekiseera mu 1979, Anthony Ochaya yaddayo mu minisitule y'enteekateeka n'enkulaakulana y'ebyenfuna, ku mulundi guno gavumenti ya Uganda National Liberation Front yalondebwa nga Minisita w'enteekateeka n'enkulaakulana y'ebyenfuna.[6]

Nga Minisita w’enteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna, Ochaya enfunda eziwera yalwanagana ne Gavana wa Bank of Uganda eyali yakalondebwa, Gideon Nkojo. Ensonga emu eyabaawulamu naddala ensonga y’ebbeeyi y’ebintu okulinnya. Ochaya yali ayagala abayizi ba Yunivasite y'e Makerere okukola okunoonyereza ku biki abyali biviiriddeko obwavu mu Uganda nga tebannaba kubinika emiwendo songa Nkojoyali ayagala kugyirawo ddala ebyo ebyali bitawaanya bannayuganda. Mu nkomerero, Minisita w’ebyensimbi yatabaganya enkaayana era n’agezaako okuddamu okutegeka eby'enfuna bya Uganda okulwanyisa ebbeeyi y’ebintu, mu nkola eno n’agaziya obuyinza Bbanka ya Uganda bwe yalina ku by’enfuna bya Uganda.

Mu 1984, Ochaya yatandikawo ekibiina kya Nationalist Liberal Party ng’ali wamu ne Tiberio Okeny Atwoma, Cuthbert Joseph Obwangor, ne Francis Bwengye.[7] Ekibiina kya Nationalist Liberalist Party kyali kibiina ekyawukana okuva mu kibiina ekyali kivuganya gavumenti ekyali kikulembera mu kiseera ekyo, Democratic Party.[8] Ekibiina kya Nationalist Liberal Party kyatondebwawo nga kyanukula eyali akola nga Ssaabawandiisi w’ekibiina kya Democratic Party Tiberio Okeny Atwoma okusomooza Paul Kawanga Ssemogerere ku bukulembeze bw’ekibiina kya Democratic Party (Uganda).[7]

Anthony Ochaya yakwata omulimu gw’omuwandiisi omukulu ow’ekibiina kya Nationalist Liberal Party bwe kyatondebwawo.[9] Ekibiina kino kyali kya kaseera katono, era okukkakkana nga kiyungiddwa wamu n'ekibiina kya Democratic Party we gwatuukira mu 1986 nga Okeny azzeemu okwegatta ku Democratic Party of Uganda.[9]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu lutalo lwa Uganda Tanzania War olwali wakati wa Uganda ne Tanzania, waaliwo okuttibwa kw’abantu baabulijjo mu Arua mu Bukiikakkono bwa Uganda. Abakozi ba gavumenti abawerako n’amaka agamu baasaba obukuumi okuva ku lutalo olwali mu lukuubo lwa White Rhino Tourist Hotel, gye battibwa. Anthony Ochaya ne minisita munne Moses Apilaga eyali akulembera Minisitule y'ebyamaguzi, bombi baalina "abooluganda abawerako" abaafiira mu bulumbaganyi buno.[10]

Anthony Ochaya yaweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago mu Kampala, Uganda nga 24 Ogwomukaaga 1998, ku bigambibwa nti alina ekirwadde kya Pneumonia n’obulwadde bw’ensigo. Yafa nga 6 Ogwomusanvu 1998. Yaziikibwa mu Agwe, ekyalo ekiriraanye Gulu, Uganda.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

 

  1. Uwechue, Raph (1991). Africa Whoʼs Who: 2nd Edition (in Lungereza). London. ISBN 978-0-903274-17-3. OCLC 962855596.
  2. Who's Who in East Africa, 1967–1968. Nairobi: Marco Publishers. 1968.
  3. Phares M Mutibwa, D. Phil. Bank of Uganda: 1966–2006 A Historical Perspective. Sussex: Bank of Uganda. p. 409.
  4. "East Africa Living Encyclopedia: Uganda History". www.africa.upenn.edu. African Studies Center: University of Pennsylvania. Archived from the original on 28 November 2018. Retrieved 16 November 2018.
  5. Byrnes, Rita M (1990). "Uganda After Amin- The Interim Period: 1979–1980". Uganda: A Country Study. Washington, DC: The U.S. Government Publishing Office for the Library of Congress.
  6. Lakidi, Eric (8 July 1998). "Uganda: Anthony Ochaya is Dead". New Vision. Archived from the original on 28 April 2017. Retrieved 5 November 2018.
  7. 1 2 Aber, Patience; Langalanga, Tony (14 October 2012). "Uganda: Veteran Democratic Party VP Dies, Aged 87". New Vision. Retrieved 26 November 2018.
  8. Bute, Evangeline; Harmer, H. J. P. (2016). The Black Handbook: The People, History and Politics of Africa and the African Diaspora. Bloomsbury Publishing. p. 272. ISBN 978-1-4742-9287-0.
  9. 1 2 Mugabe, Faustin (24 April 2017). "Tracing Democratic Party divisions since 1964". Daily Monitor. Archived from the original on 28 November 2018. Retrieved 27 November 2018.
  10. Mukasa., Mutibwa, Phares (1992). Uganda since independence : a story of unfulfilled hopes. Trenton, NJ: Africa World Press. ISBN 978-0-86543-356-4. OCLC 28216159.