Apollo Kironde
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Apollo |
| Yazaalibwa nga | 1915 |
| Olunaku lwe yafa | 25 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 2007 |
| Ezzadde lye | Katiti Kironde |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | munnabyabufuzi, diplomat |
| Ekifo ky'alimu | Minisita |
Apollo Kironde (1915 – 21 Ogwokuna 2007) yali Munnayuganda munnamateeka era ye Ambasada wa Uganda eyasooka mu kibiina ky’amawanga amagatte.[1][2]
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yali muzzukulu mu famire y’abakulu ab’edda ab’e Nsenene. Jjajjaawe, Apollo Kaggwa, yali minisita mu bwakabaka bwa Buganda Abangereza webaatuukira, era n’aweereza ng'omukulembeze ow'ekiseera eri kabaka wa Buganda eyali omuto Daudi Chwa okutuusa mu 1914, oluvannyuma y’asigala nga katikkiro wa Buganda okutuusa mu 1926. Olw’okufuba kwe, yaweebwa ekitiibwa kya knighting by Queen Victoria, n’afuuka Omufirika eyasooka okuweebwa ekitiibwa ky'obwa knight.[3]
Muzzukulu we era bwe bafaanaganya erinnya, Apollo Kironde, yali mutabani wa kubiri eri mutabani we eyasooka Assanasio Sentenza ne Bladina Kironde owookubiri. Ku myaka emito omuvubuka Apollo yalaga esuubi lingi era n’asindikibwa ebweru w’eggwanga okusoma. Yasoma okubeera omusomesa era oluvannyuma lw'emyaka mingi ng'asomesa yagenda e Bungereza n'asoma amateeka mu Middle Temple. Yadda mu Uganda era ye Mufirika eyasooka okuyita omutendera ogwo.
Kabaka wa Buganda Mutesa II bwe yawang’angusibwa mu Bungereza oluvannyuma lw’okukaayana ne gavumenti y’amatwale, ye Apollo Kironde eyagenda e Bungereza okufuna eddembe lye. Oluvannyuma yayitibwa okubeera minisita mu gavumenti y’amatwale, ekitiibwa kino kyali kya Bangereza bokka. Uganda bwe yawangula obwetwaze, yalondebwa okuba omubaka waayo eyasooka mu kibiina ky’amawanga amagatte.
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Obufumbo n'abaana
[kyusa | kolera mu edit source]Kironde yawasa emirundi egiwera naye obufumbo bwe obwasokera ddala bwali ne Santa okuva mu famire ya Bakaluba eyekitiibwa mu 1945. Bano baazaala abaana babiri.
- Kaddumukasa Kironde: Munnabyamawulire amnyiddwa ennyo mu Uganda. Obufumbo obuwera bwaletera Kironde okubeera
- Katiti Kironde: Abeera Amerika ng'ono yafuuka omutwe omukulu ku magaziini ya bakyala.
Eky'ennaku, Santa yaffa nga azaala mu 1954. Obufumbo obw'emirundi egiwera bwaletera Kironde okubeera n'amakka abiri mu Amerika ne mu Bungereza. Omu ku bakyala be abo'luvannyuma yali Josephine Hawkins, gwe yawasa mu Newark, New Jersey, mu 1966 ng'awereeza nga ambasada w'Ekibiina kya mawanga amagatte.[4] Awamu, yalina abaana abawerera ddala 16.
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]- King's College Budo: Yamaliriza siniya ye kulino essomero.
- Makerere College (University): Kironde yasooka kusoma busomesa ne sociology ku Makerere College (now Makerere University), ng'atendekebwa muntandikwa ng'omusomesa.
- University of Fort Hare: HYeeyongerayo n'emisomo gye ku yunivasite y'e Fort Hare mu South Africa, gyeyasomera n'eyali pulezidenti wa South Africa Nelson Mandela.
- Middle Temple, London: Kironde yagenda e Bugengereza okusoma amateeka, okuva ku limu ku makooti anna mu London.
- University of London: Yafuna diguli mu mateeka okuva ku yunivasite y'e London
Oluvannyuma lw'omulundi gwe ogwasooka mu Amerika, Kironde yadda e Uganda era yayitibwa ku Uganda bar mu Gwokuna 1953, nafuuka Omufirika asoose okwegezaamu nga munnamateeka mu ggwanga.
Ekifaananyi kya muwalawe Katiti Kironde kyafulumira ku magazini ya women's magazine.
Omukululo
[kyusa | kolera mu edit source]Appolo Kironde yaffa nga 21 Ogwokuna 2007 ku myaka 92. Mu myaka gye egy'oluvannyuma, yali amanyikiddwa nga omu ku bantu abalina ettaka eddene mu Buganda era yafuna situlesi olw'enkaayana z'ettaka.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Anne Mugisa, "Diplomat Kironde is dead" Template:Webarchive, New Vision, 22 April 2007.
- ↑ Kironde, Apollo K. (1963-01-08). Apollo K Kironde, First Permanent Representative of Uganda.
- ↑ Apollo Kironde | Uganda's first ambassador to the United Nations. #uganda #obote #amin #history (in Lungereza). Retrieved 2025-12-16 – via www.youtube.com.
- ↑ "Apollo K. Kironde Weds Miss Hawkins". The New York Times Archives. Aug 27, 1966.