Apollo Ofwono
Apollo Yeri Ofwono (yazaalibwa nga 14, Ogwokuna 1962) Munnayuganda ow'eby'obufuzi era mmemba wa paalamenti ya Uganda akiikirira Munisipaali y'e Tororo mu Tororo Disitulikiti. Ono yalondebwa ku paalamenti ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM).[1][2] Mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku butonde n’okugaba emirimu.
Obulamu bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ofwono Mukulisito ow'Enzikiriza y'ekipulotesitante. Yasoma ddiguli esooka mu By’obusuubuzi ku bbanguliro ly'e Makerere Yunivasite erya bizinensi n'obusuubuzi.[3]
Emirimu gye mu by'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Ofwono yasooka kwesimbawo ku kifo kye ekya Tororo Disitulikiti mu paalamenti ya Uganda mu 2006 naye naawangulwa omubaka eyali mu kifo ekyo ebiseera ebyo Sanjay Tanna. Nga tamatidde, Ofwono yawakanya ebyava mu kulonda n'ebigambibwa nti gweyavuganya naye yagulirira abalonzi n’aleeta abalonzi abatali bawandiise okumulonda.[4][5] Yawangulwa mu kkooti era n’alagirwa okusasula obukadde bwa ssiringi 44 mu ssente za kkooti.[6][7] Yalemererwa okusasula engassi okutuusa mu 2009 lwe yakwatibwa ku kiragiro kya kkooti.
Yeesimbawo nate mu kalulu ka 2016 era n'awangula ekifo ekyo ng'asinga Sanjay Tanna n'obululu 7,149 ku 7,045, nga guno gwe gwali omulundi gwe ogwasooka okuwangula okulondebwa okukiika mu Palamenti ya Uganda. Ofwono yalondebwa nate mu kalulu ak'awamu aka 2021, n'addamu okuwangula ekifo ekyo mu bavuganya bangi.[8]
Obukulembeze bw'Ekibiina n'Ebyobufuzi eby'Ekitundu
[kyusa | kolera mu edit source]Ofwono era akola kinene mu nzimba z'obukulembeze ez'omu bitundu ez'ekibiina kya National Resistance Movement. Mu kulonda okw'omunda mu kibiina kya NRM mu Tororo Disitulikiti, aweerezza mu bifo eby'enjawulo eby'obukulembeze, omuli n'okubeera ssentebe wa NRM ku mutendera gwa disitulikiti. Okulonda kw'obukulembeze bw'ekibiina oluusi kubadde kubaamu empaka, ng'abamu ku ba mmemba b'ekibiina balumiriza nti waabangawo obutali butuufu mu nkola y'okulonda, kyokka Ofwono n'abiwakanya mu lujjudde.[9]
Enkaayana n'Ebyayogerwa mu Lujjudde
[kyusa | kolera mu edit source]Ofwono aleetedde abantu okwogera ennyo ku bigambo bye ku nsonga ezikwata ku kwetaba mu byobufuzi. Mu mbeera emu, mu mpaka z'abantu b'omu kitundu, yagambibwa okuba mbu yagamba nti abantu balina okuba n'obusobozi bw'ensimbi obumala okusobola okuwangula mu byobufuzi bwa Palamenti, ekigambo ekyaleetera abamu ku bavuganya naye okumunenya.[10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Tororo municipality MP donates ambulance to district taskforce". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-08-10.
- ↑ "Apollo Yeri Ofwono – theinsider.ug". theinsider.ug. Archived from the original on 2021-08-10. Retrieved 2021-08-10.
- ↑ "Hon. Yeri Ofwono Apollo". MPScan Uganda (in American English). Retrieved 2021-08-10.
- ↑ ""If you are poor, forget going to Parliament," says Tororo Municipality MP". Nile Post (in American English). 2020-12-21. Retrieved 2021-08-10.
- ↑ "Construction of two bridges brings joy to Tororo residents". Daily Monitor (in Lungereza). 19 July 2020. Retrieved 2021-08-10.
- ↑ Emolot, Reagan. "Former Tororo Municipality MP Arrested for Court Debt". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2021-08-10.
- ↑ "Sayjay Tanna and Another vs. Ofwono Yeri Apollo - Court of Appeal Election Appl. No. 8 of 2006 - Uganda Online Law Library". ugandalawlibrary.net. Retrieved 2021-08-10.
- ↑ Editor, Flash Uganda; Uganda, Flash (2023-02-17). "Apollo Yeri Ofwono: Biography, Family and Wife". Flash Uganda Media (in English). Retrieved 2025-12-19.
{{cite web}}:|last=has generic name (help)CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ cfeditoren (2025-05-28). "Discontent Brews Among NRM Members in Tororo District over Controversial Party Polls". Uganda (in American English). Retrieved 2025-12-19.
- ↑ admin, N. P. ""If you are poor, forget going to Parliament," says Tororo Municipality MP". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-12-19.
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- CS1 American English-language sources (en-us)
- CS1 errors: generic name
- CS1 maint: unrecognized language
- Bannabyabufuzi mu Uganda
- Bannabyabufuzi aba National Resistance Movement
- Bannayuganda aba Angilikaani
- Abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Abaazaalibwa mu 1962
- Abantu abakyali abalamu
- Abaasomera ku Makerere University