Jump to content

Arinda Daisy Kankiriho

Bisangiddwa ku Wikipedia
Arinda Daisy Kankiriho
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa

Arinda Daisy Kankiriho (yazaalibwa 2000) Munnayuganda asoma yinginiya mu by'okuzimba mu yunivasite y'e Mbarara eya Sayansi ne Tekinologiya (MUST). Yali pulezidenti wa yunivasite omukyala owookusatu, [1] [2] oluvannyuma lwa Sheila Nduhukire ne Mariam Iculet Arikosi, era pulezidenti w’ekibiina eyasooka okuva ku ttendekero lya Kihumuro, emu ku kampusi za MUST.[3]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Kankiriho yazaalibwa mu mwaka gwa 2000 mu Disitulikiti y’e Kiruhura mu bazadde b’omugenzi Brig. Gen. Patrick Kankiriho ne Deborah Kyokunda Kankiriho nga baana baabwe owookusatu.

Pulayimale yasomera mu Greenhill Academy, Kibuli ne Kampala Parents School. Yeegatta ku King’s College, Budo okusoma ku ddaala erya bulijjo, oluvannyuma n’agenda mu Vienna College Namugongo okusoma ku ddaala ery’oku ntikko. Oluvannyuma yeewandiisa mu MUST, gy’akola diguli ya bbasale mu by’okuzimba. [4]

Olugendo lw'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kankiriho ebyobufuzi yabitandikira mu ssomero lya Kampla Prents School gye yali nga omuwala omukulu . Mu kusoma kwe mu siniya, yaliko pulezidenti wa kiraabu nnyingi omuli ne club ya kansa. Yali mumyuka wa mukulembeze wa Aviation Club, era nga mwogezi mu Junior Debaters’ Club. [4]

Mu 2024, Kankiriho yeesimbawo ku bwa pulezidenti bwa guild mu Mbarara University mu kolegi ya Science ne Technology, ng’avuganya ku bwapulezidenti, ng’avuganya n’abavuganya abalala babiri (Wilson Mugazhu, eyeesimbyewo ku NUP, ne Kisitu Joseph, eyeesimbyewo mu Uganda Young Democrats). Yavuddeyo ng’omuwanguzi n’obululu 1499; Wilson yafunye obululu 1199 ate Kisitu n’afuna obululu 755. [5][6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Special Reports Prime: Arinda Daisy Kankiriho giving her speech after swearing in as the Mbarara University of Science and Technology 36th Guild President in early May". Monitor (in Lungereza). 2024-07-16. Retrieved 2025-04-08.
  2. "Mbarara University welcomes its third female guild president". NTV Uganda (in Lungereza). 2024-05-05. Retrieved 2025-04-08.
  3. Atukunda (2024-05-04). "Daisy Arinda Makes History as Mbarara University's 3rd Female Guild President". Campus Bee (in American English). Retrieved 2025-04-08.
  4. 1 2 "Leadership is about serving others – new MUST guild president". Monitor (in Lungereza). 2024-07-16. Retrieved 2025-04-08.
  5. "New Vision - Latest News". www.newvision.co.ug. Retrieved 2025-04-08.
  6. "Arinda wins Mbarara University's guild presidential race". Monitor (in Lungereza). 2024-05-04. Retrieved 2025-04-08.