Arnold Odong
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 2 Gwakusatu(Mugulansigo) 1999 |
| Omulimu | association football player |
| Ekifo ky'azannya/ obumanyi | centre-back |
| Azannyira mu Kiraabu | SC Villa |
| Omuzannyo | omupiira ogw'ebigere |
Arnold Odong (yazaalibwa mu mwezi Ogwokusatu 25, mu mwaka gwa 1999), [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Association_football muzannyi wa mupiira] omukugu era Munnayuganda, azannya ng'omuzibizi wa wakati mu kiraabu ya Villa mu Uganda Premier League ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda.[1][2][3]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]
Arnold Odong yazaalibwa mu mwezi Ogwokusatu 25,mu mwaka gwa 1999, e Gulu, mu Uganda. Okuva mu buto, yalina obwagazi bw’okusamba omupiira bw'eyali ngakula mu bukiikakkono bwa Uganda.[4] Olugendo lwe olw'omupiira yalutandika ne kiraabu z'omu kitundu nga Watoto Sports Academy ne Watoto FC. Oluvannyuma yazannyira Mawokota ne Buddu mu mpaka za kikoopo kya Masaza, empaka z’ekitundu ezibadde eddaala eri abazannyi b’omupiira bangi mu Uganda.[5]
Odong's yafuna ekifo mu MUBS (Yunivasite ye Makerere Esomesa Eby'obusuubuzi) era n'amaliriza dipulooma ye mu by'obusuubuzi.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Omukisa gwa Arnold Odong omukulu gwatuuka mu mwaka gwa 2023 bwe yeegatta ku SC Villa, emu ku kiraabu z’omupiira ezisinga okuwangula mu Uganda. Bweyagyegatako oluvannyuma lw’okufuluma kw’eyali kapiteeni waabwe Gift Fred ne yeenyweza mu ttiimu.[6] Mu sizoni ya 2023/24, Odong era yateeba ggoolo enkulu mu SC Villa . Yateeba ggoolo ye eyasoka mu ttiimu eno mu mupiira gwe yazannya ne Maroons FC, n’ayambako amaliri ga ggoolo 1-1. Omutindo gwe yayolesezza mu mupiira ogwo gwamufuula omuzannyi w’enkizo.[5][6] Era yakola kinene mu nkulaakulana ya SC Villa mu Uganda Premier League, eyabalaba nga bavuganya ku bifo eby’oku ntikko mu liigi.
Okuyitibwa kwe ku ttiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Omutindo Odong gwa yayolesezza ku SC Villa gwamuleetera okuyitibwa ku ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda,eya Cranes. Okusunsulwa kwe ku ttiimu y’eggwanga kwaliwo mu kiseera ng’abazannyi abakulu nga Kenneth Semakula ne Halid Lwalwa nga tebasobodde kwetabamu olw’ensonga za viza era nga ne Cranes yeetaaga okukola ku mutindo ogubadde gumalamu amaanyi.[1]
Ebituukiddwaako
[kyusa | kolera mu edit source]- Okuyitibwa ku ttiimu y’eggwanga: Yafuna okuyitibwa kwe okwasooka mu Uganda Cranes mu mwaka gwa 2024.
- Yakiikirira Uganda mu mpaka za Pamoja eza African Nations Championship ( CHAN ) eza 2024.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Budding defender Odongo fired up by coveted Cranes call-up". Monitor (in Lungereza). 2024-08-29. Retrieved 2024-10-14.
- ↑ "SC Villa begin season with comfortable win against Mbarara City". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-10-14.
- ↑ "Byekwaso relieved after Jogoos goal taps open". Monitor (in Lungereza). 2024-09-18. Retrieved 2024-10-14.
- ↑ "Arnold Odong's Men's Soccer Recruiting Profile". www.ncsasports.org (in Lungereza). Retrieved 2024-10-14.
- 1 2 Kule, Edwin Kyle (2023-09-25). "Arnold Odong glad to get off the mark at SC Villa". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-10-14.
- 1 2 Sports, Pulse (2023-09-30). "Arnold Odong revels in his goalscoring form for SC Villa". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). Retrieved 2024-10-14.