Aronda Nyakairima
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Yazaalibwa nga | 7 Gwamusanvu(Kasambula) 1959 | |
| Gy'azaalwa | Rukungiri | |
| Olunaku lwe yafa | 12 Gwamwenda(Mutunda) 2015 | |
| Sibling | Jolly Twebaze Ngabirano | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | military officer, munnabyabufuzi, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
| Gyabeera | Kampala | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1981 | |
Aronda Nyakairima (7 Ogwomusanvu 1959 – 12 Ogwomwenda 2015) yali Munnayuganda nga munnamagye era munnabyabufuzi eyaweereza mu kabineti ya Uganda nga minisita w’ensonga z’omunda okuva mu 2013 okutuusa lwe yafa nga 11 Ogwomwenda 2015. Emabegako, yaliko akulira amagye mu Uganda People’s Defence Force (UPDF) okuva mu 2003 okutuuka 2013.[1]
Obuto bwe n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Nyakairima yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Rukungiri. O-Level yagisomera ku Lubiri Senior Secondary School okuva mu 1971 okutuuka mu 1974. Wakati wa 1975 ne 1977, A-Level yagisomera Kitgum High School mu Disitulikiti y’e Kitgum. Yeegatta ku yunivasite y’e Makerere mu 1978, n’atikkirwa mu 1981 ne diguli ya Bachelor of Arts mu byobufuzi. Yasoma course ezitandikirwako ez'amaggye mu 1989, oluvannyuma lw’eggye lya National Resistance Army (NRA) okuwamba obuyinza mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Oluvannyuma yagenda mu kkoosi y’okusoma eby’obukodyo mu Fort Leavenworth mu Amerika. Alina n'ebisaanyizo ebirala eby'amagye okuva mu ttendekero ly'amagye lya Misiri e Cairo.[2]
Obuweereza mu magye
[kyusa | kolera mu edit source]Y'egatta ku NRA mu 1982, amangu ddala nga yaakava mu yunivasite y’e Makerere. Oluvannyuma lw’aba NRA okuwamba obuyinza, yakola ng’omuserikale w’ekitongole ekikessi mu magye ga Uganda. Oluvannyuma yalondebwa okuba omuyambi wa dayirekita mu kitongole ekikessi mu magye mu UPDF. Oluvannyuma yakyusibwa n’atwalibwa mu kitongole ekikuuma Pulezidenti ng’akola mu kitongole ekikessi. Okuva awo, yaliko omuduumizi w’eggye lya Armoured Brigade nga tannalondebwa kubeera muduumizi wa UPDF mu 2003. Abadde akiikirira UPDF mu palamenti ya Uganda okuva mu 1996.[3]
Mu Gwekkumi 2010, Nyakairima yayingizibwa ku International Hall of Fame ku Lewis and Clark Center e Fort Leavenworth olw’okutuuka ku kifo ekisinga obukulu mu magye mu ggwanga lye. Nyakairima yayingizibwa wamu ne General Eui Don Wang owa South Korea, eyatikkirwa mu ttendekero ly’abaduumizi mu 1986, ne Major General Richard Rhys Jones owa New Zealand, eyatikkirwa mu 1992.[4] Nyakairmina yalondebwa ku kabineti nga minisita w'ensonga z'omunda nga 23 Ogwokutaano 2013.[5] Katumba Wamala yalondebwa okudda mu bigere bye ku bwakulira amagye ku lunaku lwe lumu.[6]
Obulamu bw’omuntu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nyakairima yali mufumbo ne Linda Kahooza gwe yazaalamu abaana babiri. Yali amanyi bulungi ennimi eziwera, omuli Oluganda, Olungereza, Luo, Runyakitara, n'Oluswahili.[1] Nga 12 Ogwomwenda 2015, bwe yali atambula ku mirimu emitongole okuva e South Korea okutuuka e Dubai, yafuna obulwadde bw'omutima. Oluvannyuma yakakasibwa nti afudde ku myaka 56 egy’obukulu.[7]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Internal Affairs minister General Aronda Nyakairima dies". Daily Monitor. Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 16 September 2015. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "General" defined multiple times with different content. - ↑ Newvision, Archive (26 October 2005). "Aronda Nyakairima's star illuminates UPDF path". New Vision. Archived from the original on 26 June 2015. Retrieved 12 September 2015.
- ↑ "Aronda Nyakairima's Page At Parliament.co.ug". Parliament of Uganda. 2011. Archived from the original on 2 February 2014. Retrieved 13 May 2014.
- ↑ Raymond Baguma, And Agencies (6 October 2010). "US College to honour Gen. Nyakairima". New Vision. Archived from the original on 14 May 2014. Retrieved 12 September 2015.
- ↑ Musoke, Ronald (24 May 2013). "Gen. Aronda Nyakairima new Internal Affairs Minister as Museveni reshuffles Cabinet". The Independent (Uganda). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 12 September 2015.
- ↑ Kat, Joshua (24 May 2013). "Katumba Wamala new CDF". New Vision. Retrieved 12 September 2015.
- ↑ Newvision (12 September 2015). "Minister Aronda Nyakairima dies at 56". Retrieved 16 September 2015.