Jump to content

Arthur Kaluma

Bisangiddwa ku Wikipedia

Arthur Kaluma (yazaalibwa 1 Ogwokusatu, 2002) muzannyi wa nsero omumerika alina obutuuze e Uganda. Yazannyirako mu ttiimu ya Texas Longhorns mu mpaka z'ensero ezamatendekero agawaggulu. Ono era yazannyirako mu ttiimu ya Kansas State Wildcats kwossa ne Creighton Bluejays .

Kaluma yakulira mu kibuga Irving mu ssaza Texas era okusoma yakutandikira ku Universal Academy. [1] Oluvannyuma yadda ku Dream City Christian School e Glendale mu ssaza Arizona nga ali mu mwaka gwe ogw’okubiri mu siniya. [2] Mu budde obwo Kaluma yali ku mutendera gwazannyi ab'olesa omutindo ogusukkulumye kugwa bulijjo era muntandikwa yali assiza omukono kundagaano okuzannyira kiraabu ya University of Nevada eyitibwa UNLV ku mutendera gwempaka z'amatendekero mu Amerika wabula oluvannyuma lw'omutendesi TJ Otzelberger okuva ku UNLV endagaano ya Kaluma yasazibwamu . [3] Wadde nga kiraabu nga Arizona, Western Kentucky, ne Syracuse zaali zimwegwanyiza, yasalawo azannyire Creighton.

Nga omuzannyi ku mutendera gwamatendekero

[kyusa | kolera mu edit source]

Kaluma nga yakegatta ku Creighton yali omu ku bandika emizannyo gya kiraabu eno era mu sizoni eyo okutwaliza awamu yakolanga obugoba 10.4 wamu ne rebounds 5.4 buli muzannyo. [4] Mu sizoni eyaddako, Kaluma yali ku lukalala okuva omuzannyi awangula engule ya Karl Malone . [5] Okutwaliza awamu ebibalo byalaga nti mu sizoni eyo yali akola obugoba11.8, rebounds mukaaga, n'okuyamba banne okuteeba emirundi 1.6 buli muzannyo. [6] Oluvannyuma lwa sizoni, Kaluma yalangirira okuzannya mu 2023 NBA draft omuva abazannyi abasunsulwa okuzannyira mu liigi enkulu. [7] Oluvannyuma era yayingira akatale kabazannyi aka NCAA era erinnga lye naligya mu NBA draft. [8] [9]

Kaluma yegatta ku Kansas State . [10] Mu Kansas State, ebibalo bya Kaluma byali; obugoba 14.4, rebounds 7.0, n'okuyamba banne okuteena emirundi 2.0 mu buli ddakiika 34.5 buli muzannyo gw'ensero. Sizoni bwe yaggwaako, Kaluma yegatta ku Texas .

Ku Texas, Kaluma okutwaliza awamu yateebanga obugoba 12.2, rebounds 7.5, okuyamba banne okuteeba emirundi 1.8 mu buli ddakiika 30.0 ez'ensero.

Ku kiraabu enkulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw’obutaba mu 2025 NBA draft, Kaluma yegatta ku Los Angeles Lakers nga omuzannyi atalina kiraabu mwava . [11]

Ku ttiimu y’eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Kaluma yafuna obutuuze bwa Uganda mu 2020 era nazannyira ttiimu y'eggwanga ey'abasajja ezannya ensero mu mpaka za AfroBasket 2021 . [12] [13] Kaluma era yali ttiimu eyazannya mu mpaka z'okusunsula amawanga agali ag'okuzannya mu mpaka z'ensi yonna eza FIBA Basketball World Cup 2023 . [14]

Kaluma ayina Mugandawe Adam Seiko era naye muzannyi wa nsero ku kiraabu ya San Diego State. Ab'oluganda bano basisinkanako mu mpaka za Elite Eight eza NCAA mu 2023 . [15]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2024-12-13. Retrieved 2025-07-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.azcentral.com/story/sports/high-school/2019/07/17/4-star-2021-recruit-arthur-kaluma-announces-dream-city-commitment/1760354001/
  3. https://lasvegassun.com/news/2021/apr/27/unlv-basketball-loses-top-recruit-arthur-kaluma/
  4. https://omaha.com/sports/college/creighton/is-arthur-kaluma-creightons-next-nba-draft-pick/article_aaa26a8c-f604-11ec-b7f1-df0cacc235ca.html
  5. https://www.kmaland.com/sports/creightons-kaluma-iowas-murray-on-karl-malone-award-watch-list/article_f62b9e56-563a-11ed-b2a4-aba1c61f13f6.html
  6. https://www.si.com/college/gonzaga/basketball/creightons-arthur-kaluma-an-intriguing-option-for-gonzaga-in-transfer-portal
  7. https://omaha.com/sports/college/creighton/creightons-arthur-kaluma-declares-for-nba-draft/article_26b7f780-d89b-11ed-8a88-3b5c63063bc0.html
  8. https://tucson.com/sports/arizonawildcats/basketball/pascoe/former-arizona-recruiting-target-arthur-kaluma-of-creighton-to-enter-transfer-portal/article_6d0a355e-ef89-11ed-b6a3-33f6800c9a03.html
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/ESPN.com
  10. https://www.cbssports.com/college-basketball/news/arthur-kaluma-commits-to-kansas-state-ex-creighton-star-gives-wildcats-another-huge-transfer/
  11. https://thedailytexan.com/2025/06/29/former-texas-big-man-arthur-kaluma-signs-with-los-angeles-lakers-as-undrafted-free-agent/
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/basketball/kaluma-announces-arrival-by-sending-uganda-to-afrobasket-championship-3466962
  13. https://omaha.com/sports/college/creighton/creightons-arthur-kaluma-gets-kudos-from-nba-coach-for-performance-with-uganda/article_8f07991c-0a75-11ec-8e8d-5be4a2f504dd.html
  14. https://www.fiba.basketball/afrobasket/2021/news/ugandan-brothers-making-waves-at-afrobasket-2021-under-watchful-eye-of-mother-saira-ariko
  15. https://www.nytimes.com/2023/03/26/sports/ncaabasketball/creighton-san-diego-state-brothers.html