Jump to content

Arthur Kisenyi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Arthur Kisenyi
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waArthur Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga1990 Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
OmulimuOmuzannyi wa firimu Kyusa Wikidata

Arthur Kisenyi (yazaalibwa 1990) Munnayuganda muzannyi wa firimu, muyimbi era omukubi w'endongo. Yatandika okuzannya katemba okw’ekikugu mu 2007 ne Strange News, pulojekiti eyakolebwa omuyimbi w’ennyimba OmuNorway Rolf Wallin ne Dayirekita Omubirigi Josse dePauw ekwata ku baana abajaasi mu Afrika.[1][2][3][4]

Arthur azannya[5] eyali omwana omujaasi mu firimu ya Rolf Wallin ne Josse De Pauw eya Strange News, omulimu omunene ddala ogw'emikutu emingi omuli ekibiina ky'abayimbi, obutambi n'amaloboozi ageetoolodde.

Obulamu n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa era n’akulira mu kibuga kya Uganda ekikulu, yawangula ekifo mu bavubuka 90 mu kugezesebwa kwa wano ku myaka 16. Nga wayise akaseera katono nga agenze e Oslo, Josse De Pauw gye yamutondera omulimu guno naddala ku lulwe. Abadde – okuva lwe yasooka okuyimba ne Oslo Philharmonic Orchestra mu mwaka gwa 2007– aze ayimba Strange News mu bibuga ebiwerako, nga mu bino mulimu Porto ne Chicago, Toronto, Brussels, Amsterdam, Stavanger, Birmingham, London n’ebirala.

Yasoma katemba ku yunivasite y'e Makerere ng’okunoonyereza kwe kwali ku ‘ngeri abantu gyebatwalamu era gyebalabamu abayimbi ku siteegi’ nga yeyambisa abazannyi ba Bakayimbira Drama beyanoonyerezaako. Mu mwaka gwe ogwakamalirizo, yalondebwa okuba dayirekita w’emizannyo asinga obulungi ne pulojekiti ye ey’okulagirira firimu ya Nikolai Gogol eya ‘Marriage’ mu 2012 yafuna endagaano ya Sharing Youth Centre Nsambya ku lw’abataata abazungu okulagirira omuzannyo ‘Loud Silence’ ogwakwata ku kukozesa abaana emirimu, okukukusa abaana n’okuteeka abaana mu buddu. Oluvannyuma omuzannyo gwe guno yagulaga ku Mbarara University of Science & Technology ne Maryhill High School Mbarara.

Yeyalaga abazanyi ekyokola era nazanya mu firimu ya Shakespeare eya King Lear, Gogol eya The Government Inspector n’emizannyo gy’Afirika Nga Amanita, Betrayal in the city, Voice of the people, echoes of silence n’emirala.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Morley, Christopher (June 9, 2008). "Birmingham Contemporary Music Group at CBSO Centre". Birmingham Post. Retrieved 2009-10-31. "But even more memorable was the performance of the young Ugandan actor Arthur Kisenyi, delivering a monologue of astonishing power and immediacy in this 35-minute work, and all from memory."
  2. ↑ "Música: Casa da Música apresenta "Strange News", sobre as crianças-soldado em África". Lusa (in Portuguese). Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 9, 2008. Archived from the original on Gwamusanvu(Kasambula) 25, 2011. Retrieved Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 31, 2009.{{cite news}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  3. ↑ Peixoto, Isabel (2008-10-11). "Meninos-soldado em peça orquestral 2008-10-11". Jornal de Notícias (in Portuguese). Retrieved 2009-10-31.{{cite news}}: CS1 maint: unrecognized language (link)Template:Dead link
  4. ↑ "Afrikas tragedie for fullt orkester". NRK (in Norwegian). May 16, 2007. Retrieved 2009-10-31.
  5. ↑ "Strange News - Josse de Pauw, Rolf Wallin". Archived from the original on 2013-03-17. Retrieved 2013-01-02.