Jump to content

Arthur Kwizera

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Arthur Kwizera Munnayuganda musawo w'okubudamya awamu n'abalwadde abayi, akola ng'omusomesa omukulu mu by'okubudamya n'okulabirira abantu abakulu mu yunivasite e Makerere ettendekero lya sayansi w'ebyobulamu . Era mu kiseera kye kimu akola ng’omusawo w’abakozi mu kitongole ky’abalwadde abayi e Mulago National Referral Hospital . [1] mmemba ku kakiiko akawabula ku bya ssaayansi mu minisitule y’ebyobulamu mu Uganda ku COVID-19. Ye ssentebe w’akakiiko ak’ekiseera, akakola ku kunonyereza, nga kasinziira ku kunoonyereza okufulumiziddwa mu nsi yonna okwesigamiziddwa ku bujulizi, okutegeeza eggwanga bye lisazeewo ku ssennyiga omukambwe . [2]

Ebimukwatako n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Kwizera yazaalibwa mu Uganda era yasomera mu masomero ga pulayimale ne siniya mu kitundu kye. Oluvannyuma lw'okufuna dipulooma ye eya siniya yayingizibwa mu ssomero ly'obusawo e Makerere University School of Medicine erisinga obukadde mu East Africa . gye yatikkirwa diguli ye mu by'eddagala n'okulongoosa . Oluvannyuma lw’okutendekebwa, yaddayo e Makerere n'afuna diguli eyookubiri mu by’obusawo mu by'okubudamya(Anesthesiology) n'okulabirira abantu abakulu(Critical Care) . Mu gw'omukaaga 2020, Kwizera asoma diguli ya Doctor of Philosophy ngalabirirwa Yunivasite y’e Makerere ne y’e Cambridge mu Bungereza. Okunoonyereza kwe okwa PhD kwesigamye ku kulemererwa kw’okussa okw’amaanyi n’okubujjanjaba naddala mu nsi ezirina eby’obugagga ebitono, nga Uganda. [1] [2] [3]

Ng’omusomesa wa yunivasite mu ssomero ly’obusawo erisinga obukadde mu ggwanga era ng’omusawo ow’amaanyi mu ddwaaliro erisinga obukulu mu ggwanga eriweebwa abantu mu matendekero aga waggulu, Kwizera musawo omukugu era amaliridde okutumbula eby’obujjanjabi ng’ayita mu kunoonyereza n’okukola obulungi mu bujjanjabi. Mmemba wa kaweefube w’ensi yonna ow’enkolagana, okwekenneenya obujjanjabi obw’amangu mu bifo ebitono eby’obugagga ng’essira basinga kulissa ku kuddukanya obulwade bwa sepsis wamu n’okusomesa okubudamya n’okujjanjaba abalwadde abayi. Abaddeko mu biseera eby’emabega nga Dayirekita w’enkolagana n’abantu n’empuliziganya mu kibiina ekigatta abakugu mu by’okubudamya abantu mu Uganda (AAU) wakati wa 2015 ne 2018. [4]

Ebirala by’olina okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw’obukugu bw’alina, mmemba ku kakiiko ka minisitule y’ebyobulamu akavunaanyizibwa ku kuteekawo ICU mu malwaliro ga Uganda kkumi naataano agasindikibwa mu bitundu. Aweereddwa omulimu gw’okuteesa ku bikwata ku byuma ebituufu n’okukola pulaani z’emyaliiro ku ICU mu malwaliro gano. [2]

Dr. Kwizera, ye ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku kujjanjaba abalwadde abayi mu ggwanga akaaweebwa omulimu gw’okukola enteekateeka y’okulabirira abalwadde abayi mu ggwanga. Enteekateeka eyo egenda kulungamya okugaziya obusobozi bwa Uganda obw’abalwadde abayi okutuuka ku bitanda byabwe ebitakka wansi wa 4,000. Ng’ali wamu ne ttiimu okuva mu yunivasite y’e Cambridge bakola ekyuma ekiyamba okussa ekigenda okukozesebwa mu bifo ebizibu okutuukako mu nsi yonna. [2]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Profile of Dr Arthur Kwizera". University of Cambridge. May 2020. Retrieved 3 June 2020.
  2. 1 2 3 4 Rachael Ninsiima (2 June 2020). "Dr. Kwizera, An Anesthetist Facing COVID-19 Head-On In Uganda". PML Daily Uganda. Retrieved 3 June 2020.
  3. Thrive (2020). "Thrive-2 PhD Fellows: Cambridge University : Dr. Arthur Kwizera". Training Health Researchers Into Vocational Excellence (Thrive). Retrieved 3 June 2020.
  4. AAU (28 December 2023). "Past Executive Members of the Association of Anesthesiologists of Uganda (AAU): Arthur Kwizera, Public Relations and Communications (2015 - 2018)". Association of Anesthesiologists of Uganda (AAU). Retrieved 28 December 2023.