Arthur Waako Mboizi
Arthur Waako Mboizi, amanyikiddwa n'erinnya ekkaze erya Katalo, Munnayuganda, munnabyabufuzi era mmemba wa Paalamenti akiikirira Essaza lye Budaka muDisitulikiti y'e Budaka . Yalondebwa mu Paalamenti ya Uganda ng’omubaka atalina kibiina mu 2021. [1] [2] [3] [4] [5] Mu Paalamenti ya Uganda, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu. [6]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mboizi yatandika emirimu gy’ebyobufuzi nga kansala wa Disitulikiti ku daala lya LC 1 ne LC3 nga tannalondebwa kubeera Ssentebe w’olukiiko lwa Disitulikiti y’e Budaka. [7] Mu 2016, yeesimbawo ku kifo kya Budaka LC5 kyokka n’awangulwa Sam Mulomi. Mboizi yaliko ssentebe wa Disitulikiti ow’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement okumala emyaka 15. Mu 2020, yeesimbawo ku bwannamunigina ku kifo ky'omubaka akiikirira Budaka mu Paalamenti ng’akola kampeyini z’okutumbula ebyobulimi, enkola y’ebyenjigiriza n'okutereeza ebyobusuubuzi. [8] [9] Yawangula mu kalulu ka bonna ng’awangula Kezekia Mbogo eyali mu ntebe. [1]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-19. Retrieved 2025-09-21.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/mboizi-arthur-waako-6897/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/court-upholds-election-of-budaka-county-mp-3548658
- ↑ https://chimpreports.com/budaka-kasibbo-loses-election-petition-challenging-mboizis-victory/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-04. Retrieved 2025-09-21.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-gender-labour-and-social-development/
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/mps-councilors-clash-in-budaka-district-council-meeting
- ↑ https://nilepost.co.ug/2020/07/24/budaka-lc5-chairman-says-district-mps-cant-speak-or-laugh-in-english-vows-to-unseat-one-of-them/
- ↑ https://mulengeranews.com/5-eye-mbogos-budaka-county-mp-position/