Jump to content

Asaba Ruyonga

Bisangiddwa ku Wikipedia
Asaba Ruyonga
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa

Asaba Edson Ruyonga Munnayuganda, munnabyabufuzi eyaweereza ebisanja bisatu nga meeya w'ekibuga Fort Portal okuva mu 2001 okutuuka mu 2016..[1][2][3][4][5][6][7] Ruyonga ava mu Bukama bwa Tooro, obumu ku bukulembeze obw'ennono obw'edda mu Uganda.

Yalondebwa ku kaadi y'ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) mu 2006, oluvannyuma n'asalawo okwegatta ku National Resistance Movement (NRM).[8]Yaweerezaako ebisanja bisatu nga meeya wa Fort Portal Municipality (2001-2016).Oluvannyuma yawangulwa mu kifo kye mu kulonda kwa bonna okwa 2016 era n'akomawo mu buwanguzi oluvannyuma lw'emyaka etaano.Yalondebwa nga meeya w'ekibuga Fort Portal Tourism City mu Gwoluberyeberye 2021 ng'omuntu eyeesimbyewo mu kibiina kya NRM ng'awangudde Rev.Willy Kintu Muhanga [9] n'obululu omutwalo gumu kitundu,mu bisatu kiminabiri(15,312).[10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Asaba Ruyonga Gets Third Term in Office". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2020-04-10.
  2. Kajubu, Emmanuel. "How Mayor Asaba Ruyonga Lost In Fort Portal". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2020-04-10.
  3. "Ruyonga is the man!". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-04-10.
  4. "Ruyonga Raps Council". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-04-10.
  5. "NRM To Punish Fort Portal Mayor for Campaigning for FDC". ChimpReports (in American English). 2015-12-08. Retrieved 2020-04-10.
  6. krc. "Leaders on spot as Anti-corruption caravan reaches Fort Portal | KRC" (in American English). Retrieved 2020-04-10.
  7. "Fort Portal earmarked for Tourism City". www.ugandawildlife.org (in British English). Retrieved 2020-04-10.
  8. "How Mayor Asaba Ruyonga Lost In Fort Portal". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-12-18.
  9. "Reverand[sic] once detained over presidential pledges seeks closer ties with Museveni to boost tourism". Monitor (in Lungereza). 2026-05-16. Retrieved 2026-06-05.
  10. Reporter, Independent (2021-01-21). "Asaba Ruyonga bounces back as Fort Portal city mayor". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2025-12-18.