Asha Naava Zziwa
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Asha |
| Omulimu | musician |
Asha Naava Zziwa (yazaalibwa mu mweezi gwo'kusattu 18,1987), amanyiddwa nga Naava Gray,muyimbi,muwandiisi wa nnyimba era omusuubuzi Munnayuganda akola ennyimba mu nnimi eziwera, omuli Oluzulu,Zambia,olunigeria,Olungereza n'Oluganda .[1] [2] [3] [4]
Obulamu bwe obwobutto n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Naava yazaalibwa omugenzi omulangira Mulondo n’omugenzi Ndagire Tracy.[2] [3] Jjajjaawe ku luda lwa maama yali Mu irishi, atte eludda olulaala yali Muganda . Ono y’asembayo okuzaalibwa mu bataano abaakula mu bakulu be,be yalowooza nti bamusinga kuba baliina ebitone bingi ate bwe kituuka mu mukuyiimbai, baali batuukiridde. Kitaawe yali muyiiya ate nga naye musuubuzi ng’akuba ebifaananyi n’okusiiga langi. Omwana waabwe omubereberye azannya cricket era balina abasawo, naye bonna basinga kwagala muziki. Yatwalanga oluyimba ewa mwannyina ng’amuvumirira nti lubulamu ekyamuleetera okuwulira ng’atidde okufuluma n’ayimba mu maaso g’abawuliriza ne ku ssomero.[1] [3]
Naava yagenda mu Buganda Road primary school, oluvannyuma Kibuli Secondary School,okumala omwaka gumu.Era yasoma diguli mu by'amawulire mu yunivasite y'e Makerere.[1] [5]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2008, famire ye yamukubiriza okugenda mu mpaka za Tusker Project Fame 2 gye yayita mu kugezesebwa n’amalira mukifo ekyokubiri mu bavuganya 10 abasinga.Ng’ayita mu mpaka za Tusker Project, yakwatagana n’abayimbi bangi ab’ensi zonna ekyamuleetera okuyiga okuwandiika ennyimba era n’asisinkana ne pulodyusa w’ennyimba Steve Jean ng’ayita mu GNL Zamba .[1] [6] [3] [7] [4] [8]
Steve Jean yamwanjulira pulodyusa Michael Fingers eyali yaakakomawo okuva e Bungereza ng’ayagala okutandikawo ekitongole ekifulumya enyiimba.Michael Fingers yamwanjulila ebivuga eby’enjawulo bye yali akoze, nga mu byo mwalimu New Day Beat eyafuuka Nteredde beat.[1] [3]
Mu 2013, Naava yakola endagaano ne kkampuni ya Sony Music Entertainment Africa ne Rockstar 4000 Music Entertainment okufulumya n’okusaasaanya omuziki gwe.Yagabana siteegi n’abayimbi b’ensi yonna ku kivvulu e South Africa mu 2014 bwe yali yaakafulumya Soka Lami.[1]
Naava yakola enteekateeka ya "Ninga Omuloge" mu 2009 bwe yali mu kwawukana n'agimaliriza okugikwata mu 2012.[1] Ezimu ku nnyimba ze yayimba kuliko "Ninga Omuloge", "Soka Lami", "Aliba Omu", "Nja Kwagala" ne "Nteredde". [2] [9]
Ekivvulu ekya kyasooka
[kyusa | kolera mu edit source]Naava yategese ekivvulu kye ekyasooka nga 14 mumwezzi ogwokubiri 2025 ku Kampala Serena hotel ekiivulu ekyatunda.Ekivulu kino yakigulawo ngatatandise n’oluyimba olwamuyingiza mu kisaawe ky’okuyimba lwe yatuuma Aliba Waani, neluddirirwa I Do, Love Eyo a ballad with a touch of zouk. Yeegattwa ko Bruno K ku lwa Aliwa,Mun-G okuyimba Champion ne Ssejjusa.Mu kitundu kye ekyokubiri eky’okuyimba, yatandikila mu kuyimba Alibeera Omu, Soka Lami elwaleetela abawagizi be bonna okuyimirira okuyimba n’okuzina wamu.Yatandika oluyiimba lwe olusembayo n’oluyimba lwe olusinga okwettanirwa Ninga Omuloge, nga lwegattibwako Joshua Baraka n’ayimba Dalilah n’aggalawo ekivulu kye mu ttumbi ne Nteredde.[10] [3] [11] [12] [13]
Olutambi lw'ennyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2015, Naava yafulumya olutambi lw'ennyimba 20 lwe yatuuma Naava Grey: The Album, lwe yatandika okukola okuva lwe yafulumya oluyimba lwe olwasooka "Aliba Wani" mu 2011.Olutambi luno lwali lwa bapulodyusa ab'enjawulo nga Andy Music, Alshizzo, Micheal Fingers, D King, Josh Wonder,Chali Mulalami ne Ogopa Butterfly.[4] [5]
Obulamu bw’omuntu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Naava yanoba ne bba Henry Mzili gwe yazaala naye omwana omuwala ayitibwa Acte Joyce gwe yazaala ku myaka 18.[3] [7] Atya okubeera yekka n'okuzingibwa abantu b'atamanyi.Naava alina ffaamu e Jinja gy’alunda embuzi n’enkoko. Ayagala nnyo okulya enkoko era ebyokunywa by’ayagala ennyo ge mazzi n’omubisi. Era ayagala nnyo okukola emisono ne firimu za Bollywood .[1] [4]
Olukalala lwe'nnyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Enyiimba zobwoomu
- Ninga Omuloge
- Aliba Waani
- Nkwetag
- Nteredde
- Kangume
- Twala
- Nja Kwagala
- Nvuuma
- Enkolagana
- Naava Gray ne Kenneth Mugabi - Owuwo
- Naava Enzirugavu ft Sipiidi - Sokalami
- Naava Gray ft GNL Zamba - Kola eky'okwagala
- Naava Grey ne Bruno K - Aliwa
Engule n'ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Yasunsulwa mu mpaka za vidiyo z'ennyimba za kiraabu(CMVAs) [5] [14]
- Yasunsulwa mu kibinja ky'ebikolwa eby'enjawulo [5] [14]
- Yasunsulwa mu mpaka za New Comer ne Video of the Year [5] [14]
- Yasunsulwa mu mpaka za HiPipo Music Awards eza 2016 n'awangula oluyimba lwa R&B olusinga obulungi. [15]
- Yasunsulwa mu ngule za BEFFTA ez'omulundi ogw'okutaano ezitegekebwa buli mwaka wansi w'omutendera gw'ebikolwa by'ensi yonna ebisinga obulungi [8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijiliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 Jjingo, Ernest (2021-03-02). "I wrote Ninga Omuloge during a breakup - Naava". The Observer (in American English). Retrieved 2025-04-28.
- 1 2 3 Jjingo, Ernest (2021-11-10). "I am not the same person I was before - Naava Grey". The Observer (in American English). Retrieved 2025-04-28.
- 1 2 3 4 5 6 7 "I don't let my career affect my sanity, says Naava Grey". Monitor (in Lungereza). 2025-02-14. Retrieved 2025-04-28.
- 1 2 3 4 Muhindo, Clare (2015-06-19). "- Sqoop - Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos" (in American English). Retrieved 2025-04-29.
- 1 2 3 4 5 "Naava Grey: The only Tusker Project Fame product still standing". Monitor (in Lungereza). 2021-01-07. Retrieved 2025-04-29.
- ↑ Jjingo, Ernest (2021-11-04). "Tusker Malt conversessions returns with Naava Grey". The Observer (in American English). Retrieved 2025-04-28.
- 1 2 "Curtain comes down on Tusker Project Fame II". Daily Nation (in Lungereza). 2020-07-03. Retrieved 2025-04-28.
- 1 2 Abeka, Moses (2013-09-27). "Naava Grey, Chameleone Nominated for BEFFTA AWARDS UK". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2025-05-01.
- ↑ Admin, Exclusive (2025-01-27). "Naava Grey hints at potential retirement after her debut 2025 concert". Exclusive Bizz (in American English). Retrieved 2025-04-28.
- ↑ Atiluk, Nathan (2025-02-25). "Naava Grey sings heart out at maiden concert". The Observer (in American English). Retrieved 2025-04-28. https://en.wikipedia.org/wiki/Kampala_Serena_Hotel
- ↑ "Singer Naava Grey surprises Hajjat Namyalo with heartfelt gift after successful premiere concert". The Voice Uganda (in American English). 2025-02-26. Retrieved 2025-04-28.
- ↑ "Naava Grey offers ultimate sing-along show at Serena". Monitor (in Lungereza). 2025-03-04. Retrieved 2025-04-29.
- ↑ Kazibwe, Kenneth. "Naava Grey shines bright at sold-out maiden concert with I& M Bank on her side". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-04-29.
- 1 2 3 "Club Music Awards 2013 nominees list out". New Vision. Retrieved 2025-04-29.
- ↑ "Naava Grey Biography, Profile, Facts, Life Story, About Naava Grey". PearlTunes (in Lungereza). Retrieved 2025-04-29.