Jump to content

Asif Din

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Mohamed Asif Din (yazaalibwa 21 Ogwomwenda 1960) yaliko Omuzanyi wa cricket mu Bungereza eyazannya cricket w'amasaza mu Warwickshire okuva mu 1981 okutuuka mu 1995. Muzannyi akwata omugo gwa kuliketi nga akozesa ddyo ng'omuggo agutunulizza ekibegabega kya kkono (batsman) nga n'olumu yetololera ku kugulu kwe okukanyuga akapiira (legbreak bowler), asinga kumanyika olw'okuteeba kikumi n'okuwangula engule y'omuzannyi w'omupiira mu fayinolo ya Natwest Trophy eya 1993, abantu bangi bagitwala nga fayinolo y’awaka ekyasinze okunyuma. [1]

Yazaalibwa 21 Ogwomwenda 1960 mu Kampala, Uganda, Din, okufaananako ng’enkumi n’enkumi z’ Abayindi abaali basenga mu Uganda, yagobwa mu ggwanga mu 1972 Idi Amin . Famire ye yatuuka e Bungereza nga balina pawundi 50 mu mannya gaabwe. [2]

Asif yatandika okuzannya second XI mu Warwickshire mu sizoni ya 1978 era n’ayanjulibwa eri ttiimu esooka mu 1981, n’azannya omupiira gwe ogwasooka mu ddaala erisooka ne Yorkshire . [3] Sizoni ye esooka yagimaliriza n'emisinde 878 ku average ya 26.60. [4] Sizoni eyaddako yakola ekyasa ekisooka mu ddaala erisooka mu lululumba lwa Middlesex bowling nga mulimu Wayne Daniel yateeba 102 mu ttiimu ku omugatte gwa 174. [5]

  1. http://www.cricinfo.com/magazine/content/story/307891.html
  2. https://web.archive.org/web/20121026085913/http://www.highbeam.com/doc/1G1-162828661.html
  3. https://cricketarchive.com/Archive/Scorecards/41/41058.html
  4. https://cricketarchive.com/Archive/Players/4/4196/f_Batting_by_Season.html
  5. https://cricketarchive.com/Archive/Scorecards/42/42767.html