Jump to content

Association of Real Estate Agents

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Association of Real Estate Agents Uganda nga mu bumpi mpi kiwandiikibwa nga AREA Uganda, kibiina ekigatta abasuubuzi b'amayumba, abaddukanya, ebibiina n'abakugu abalala mu by'amayumba mu Uganda, eby'enfuna ebikwata eky'okusatu mu kubeera ebinene mu mawanga agali mu mukago gwa East African Community. [1]

Entambuza y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kyekibiina kya Uganda ekikulembera nga kirimu abakugu mu by'okutunda ettaka n'amayumba. Bamemba baayo bakola mu bintu byonna, mu Uganda n’ebweru w’eggwanga. Emirimu bamemba baakyo gye bakola, mulimu okutunda n’okupangisa amayumba n’eby'obusuubuzi, okuddukanya ebintu, okukyusa bizineensi n’okutundira ebintu kunyondo. Ekitebe kyayo ekikulu kiri mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekisinga obunene, AREA Uganda efugibwa Olukiiko Lw'okuntinko Olufuzi. Ekibiina kino kikkiriza buli kiseera bamemba abapya. [2]

Abatekamu ssente n'abavugirizi

[kyusa | kolera mu edit source]

AREA Uganda efuna obuyambi bw’ensimbi n’obulala okuva mu bibiina by’obwanakyewa n’ebitongole, omuli bino wamanga:

  1. International Finance Corporation nga eyita mu nteekateeka ya Uganda eya Primary Mortgage Market Initiative
  2. Ekitongole ky'obwannannyini Uganda
  3. <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/United_States_Agency_for_International_Development" rel="mw:ExtLink" title="United States Agency for International Development" class="cx-link" data-linkid="96">United States Agency for International Development</a> (USAID) nga kiyita mu kitongole kya International Real Property Foundation
  4. Baanka ya DFCU
  5. Baanka ya Stanbic (Uganda) Limited
  6. <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/Housing_Finance_Bank" rel="mw:ExtLink" title="Housing Finance Bank" class="cx-link" data-linkid="102">Housing Finance Bank</a>
  7. Akright Projects Limited
  8. Nationwide Properties Limited - Ekitundu kya Mukwano Group
  9. Kampuni ya Kensington Africa Limited
  10. Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by’ettaka, Amayumba n’Enkulaakulana y’Ebibuga.
  11. Property Services Limited

Emikolo emikulu egibaddewo

[kyusa | kolera mu edit source]
  • 2008: AREA Uganda yatandikibwaawo
  • 2009: Omusomo gw’okutendeka obukugu mu kuddukanya eby’amayumba n’okutunda ettaka ogwasooka mu Uganda gwategekebwa nga bakolagana n’ekitongole kya International Real Property Foundation.
  • 2010: Ekitongole ekitendeka abantu ku by’Amayumba mu Buvanjuba bwa Afrika kyatondebwaawo nga kikolagana n’ekitongole ekikola ku by’amayumba ekya Institution of Surveyors of Kenya n’ekibiina ekigatta abasuubuzi b’ettaka ekya Rwanda. Ewagirwa ekitongole kya IRPF. [3]
  • 2010: Ekibiina ekigatta abayizi abakola ku by’amayumba ekya Makerere University Business School Real Estate Students Association (MURESA) kyatandikibwaawo okuyamba okuyunga abayizi n’abasuubuzi nga bayita mu kubangulwa oluvannyuma lw'okutikirwa n’okukwasaganya emirimu.
  • 2011: Amatabi ga AREA-Uganda gaatondebwaawo mu bitundu by'omubugwanjuba ne mu bukiikakkono nga galina ofiisi e Hoima ne Gulu .
  • 2012: Olukungaana lw’akakiiko k’abakyala olwa AREA-Uganda olwasooka lwatuula nga lukwataganye n’olukiiko lw’abakyala olwa REALTORS® n’ababuulirira ku by’amayumba n’ettaka. [4]
  • 2013: Omusomo gw’abakwatibwako ogwasooka ku bakayungirizi b’amayumba mu ggwanga N'engeri Gyebalina Okweyisaamu gwakolebwa nga bakolagana ne Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by’Ettaka, Amayumba n’Enkulaakulana y’Ebibuga, nga bakolagana n’ekitongole kya IFC ekya Uganda Primary Mortgage Market Initiative (UPMMI).
  • 2013: Olukungaana n'omwoleso ogusoose ku Unblocking Uganda's Real Estate Potential gwategekebwa. Kino kisikiriza abazannyi abakulu omuli ekitongole kya Uganda Investment Authority (UIA), Women’s Council of REALTORS®, ne IRPF.
  • 2014: Pulojekiti y’okutandikawo ekitongole ekikola ku by’okuwandiisa abantu abangi (MLS) ng’ekolagana n’ekitongole kya Uganda Primary Market Mortgage Initiative, wansi w’ekitongole ky’eby'ensimbi ekya International Finance Corporation (IFC). [5]
  • 2015: Yatongoza ekitongole kya Real Estate Institute of East Africa (REIEA), ekitongole ekitendeka bakayungirizi bonna mu bitundu kino mu by’ekikugu, etendekero lino likwatagana ne IHC Global USA .
  • 2016: Baakola kinene nnyo mu kulwanirira ebago ly’eteeka ly’abupangisa ne ba landiroodi nga bali ne Minisitule y’Etaka, Amayumba n’Enkulaakulana y’Ebibuga ( MLHUD ), Private Sector Foundation Uganda ( PSFU ) n’eteeka ly’okuddukanya etaka n’amayumba nga bayita mu Banka y’ensi yonna ne IMF.
  • 2017: Baatongoza ekibiina kya AREA investment Club era Shirley Kongai n’afuuka Pulezidenti w’ekibiina kino omukyala eyasooka.

Ebigendererwa Ebigendererwa ebikulu ebya AREA Uganda bye bino;

  • Okusaka n'okuwolereza
  • KutumTumbula okusomesa ku by’amayumba n’ettaka
  • Okukakasa enkola enungi mu bizineensi
  • Okukola okunoonyereza n’okukulaakulanya
  • Okukubiriza enkolagana n’okukwatagana n’abantu

Okutendekebwa n’emisomo AREA Uganda yeenyigira mu kutendekebwa okuwerako omuli; okutendekebwa ku by’okupangisa amayumba, okutendekebwa mu kugereka emiwendo, okutendekebwa mu nzirukanya y’emirimu n'obwakayungirizi n’okutendekebwa kw’abasomesa mu East Africa Regional Real Estate Training Center e Nairobi . [6]

Ekibiina kino kikola emisomo gino wamanga:

  • Okukola ogwakayungirii okudukanya n'okutunda
  • Enzirukanya y’ebintu n’okubidaabiriza
  • Enkola ez’omulembe mu by’amayumba n’etaka
  • Omukugu mu by’obugagga by’ensi yonna alina ebbaluwa
  • Okusiga ensimbi mu by’amayumba
  • Ensimbi z’amayumba

Okulwanirira n’okubunyisa amawulire Ekibiina kye kitongole ekirwanirira eby’amayumba mu Uganda era kikola, ku lwa bamemba baakyo. Ekitongole kino kibadde kikulembera ensonga z’emisolo mu Paalamenti, embeera y’okulungamya ne Minisitule y’Ebyetaka, Amayumba n’Enkulaakulana y’Ebibuga era kikola enyanjula ku nkiiko z’amayumba ezikiikirira abakola ku by’amayumba.

Okuddukanya Pulojekiti z’Abakyala mu Uganda ez’Okufuna Obwanannyini ku ttaka Pulojekiti eno yategekebwa okwongera okumanyisa abakyala n'okubawa amagezi ku by'eddembe ly’etaka n’ebintu mu kitongole ky’eby'amayumba n'etaka basobole okukola ng’abakulembeze n’okulwanirira ensonga ng’ezo. [7]

Obuwagizi eri Ebibiina by’Abayizi eby’Amayumba n’Ettaka AREA-Uganda mu kaweefube w’okutumbuula omulimu guno nga bayita mu matendekero g’eby'enjigiriza yeewaayo okukolagana n’abayizi nga bayita mu bibiina byabwe ng'ekya Makerere University Business School Real Estate Students Association (MURESA) ekikolagana ennyo ne AREA-Uganda okuyunga abayizi ku bizineensi nga bayita mu kubabangula oluvannyuma lw'okutikirwa n’okubakwataganya n’emirimu.

Webwatukira mu Gwoluberyeberye mu 2014, Ekibiina kino kyalina bamemba kumpi 300 nebekyaali kikolagana nabo abasoba mu 1,500 mu ggwanga n’ensi yonna. [8]

AREA Uganda erimu Ebika by’Obwamemba bwamirundi enna, kwe kugamba: (a) Obwamemba bw’Ekikungu eri ebitongole byonna ebikola ku by’amayumba ne kampuni ezidukanya emirimu; (b) Obwamemba obw’Omuntu Sekinoomu eri abantu bonna abakola oba abafaayo ku by’amayumba ku mutendera gw’omuntu sekinoomu; (c) Obwamemba Obwabakwatagana eri abakola ku by'enkulakulana z'amayumba, abeenyigira by'opupangisa bw'amayumba, abakuba pulaani z'ebizimbe, abakola embalirira y'omuwendo gw'ebintu, amatendekero g’eby'enjigiriza nga kwogase n’emirimu emirala gyonna egyekuusa ku nsonga eno ne (d) Obwamemba bw’Abayizi eri abantu abasoma eby’amayumba n’ettaka. [9]

Ekibiina kino kikiikirirwa olukiiko olufuzi olwa Private Sector Foundation Uganda, ng'akulira AREAU atuula ku kakiiko akabalirira k'ebitabo. Ekibiina kino era kikiikirirwa ku bumu ku bukiiko obuli mu Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by'Ettaka, Amayumba n’Okutegekera Ebibuga nga Pulezidenti w’ekibiina kino n’Omuwandiisi w’Eby'amawulire beebakiise.

Ekibiina kino era kikiikirirwa mu kunoonyereza ku miwendo gy'ebintu, okukolebwa ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics ne Baanka ya Uganda Enkulu. [10] [11]

 

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Agaba, Vincent (29 August 2011). "AREA Uganda: A Young But Accomplished Association". International Real Property Foundation (IRPF). Retrieved 28 November 2014.
  2. Luchini, Sylvia (16 October 2014). "Chicago Welcomed AREA Uganda President". International Real Property Foundation. Retrieved 28 November 2014.
  3. "IRPF Celebrates 20 Years of Success In Establishing International Real Estate Prosperity". National Association of Realtors (NAR). 19 October 2012. Archived from the original on 5 December 2014. Retrieved 28 November 2014.
  4. "Ensuring Home Ownership for Ugandans by Empowering Women". Women's Council of Realtors. 1 September 2012. Archived from the original on 10 October 2014. Retrieved 28 November 2014.
  5. "About Multiple Listing Service Uganda". Multiple Listing Service Uganda (MLSU). 2014. Archived from the original on 1 November 2014. Retrieved 28 November 2014.
  6. "Trainings And Courses". AREA Uganda. 2014. Archived from the original on 9 October 2014. Retrieved 28 November 2014.
  7. "Women Access to Land Project". Association of Real Estate Agents Uganda (AREAU). 2014. Archived from the original on 9 October 2014. Retrieved 28 November 2014.
  8. "AREA-Uganda Accomplishments of 2013". International Real Property Foundation. 27 January 2014. Retrieved 28 November 2014.
  9. "List of AREA Uganda Registered Members". Association of Real Estate Agents Uganda. 27 January 2014. Archived from the original on 9 October 2014. Retrieved 28 November 2014.
  10. Rupiny, David (3 August 2012). "Government Collects Data On Real Estate Industry". Uganda Radio Network. Retrieved 28 November 2014.
  11. Businge, Julius (29 November 2013). "Real Estate Blues Real". Archived from the original on 8 October 2014. Retrieved 28 November 2014.

Ewalala w'oyinza okubiya

[kyusa | kolera mu edit source]