Jump to content

Aston Kajara

Bisangiddwa ku Wikipedia
Aston Kajara
Munnabyabufuzi Omunnayuganda Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waAston Kyusa Wikidata
Erinnya lya famireKajara Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga19 Gwamwenda(Mutunda) 1956 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnamateeka, munnabyabufuzi Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere, Nyakasura School Kyusa Wikidata
GyabeeraKampala Kyusa Wikidata

Aston Kajara Munnayuganda munnamateeka era munnabyabufuzi. Mu kiseera kino ye Minisita omubeezi ow'ebyensimbi avunaanyizibwa ku by'obwannannyini mu kabineti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Mu nkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 1 Ogwokusatu 2015, yasigala ku kifo kye ekya kabineti.[2] Nga enkyukakyuka tenaberaawo, okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 1 Ogwokusatu 2015, yaweereza nga Minisita omubeezi ow’ebyensimbi ow’okusiga ensimbi.[3] Era ye mubaka omulonde wa Paalamenti (MP), akiikirira Mwenge County South mu Disitulikiti y'e Kyenjojo. Abadde akiikirira ekitundu ekyo mu paalamenti okuva mu 2001 okutuuka mu 2006 n’okuva mu 2011 okutuuka kati.[4]

Obuvo n’obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kyenjojo nga 19 Ogwomwenda 1956. Yasomera mu Kyenjojo Primary School. Yakyuka n’agenda ku ssomero lya Nyakasura e Fort Portal, okusoma kwe kwombi okw'eddaala lya O ne A. Aston Kajara yasoma amateeka ku yunivasite y’e Makerere, yunivasite esinga obukadde mu Uganda, n’afuna diguli ya mu mateeka (LLB). Ono era alina Dipuloma mu by'amateeka, okuva mu Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.[4]

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakati wa 1983 okutuuka mu 1988, Aston Kajara yakolera mu minisitule y’ebyensimbi, nga "Customs Officer". Okuva mu 1988 okutuuka mu 1990, yaweereza nga mmemba ku lukiiko era omuwandiisi wa kampuni eya Uganda Motors Limited, kampuni ya Uganda ettunda mmotoka n’ebyuma by’amakolero, ng’esangibwa mu Kampala. Wakati wa 1992 ne 1995, yaweerezaako nga "Principal Revenue Officer" mu kitongole ky'omusolo ekya Uganda Revenue Authority.

Mu 1994, yalondebwa ku lukiiko lwa Ssemateeka olwawandiika ssemateeka wa Uganda owa 1995. Mu 1995, yagenda mu by’amateeka eby’obwannannyini ng'omu ku ba mmemba mu Kajara, Kabiito & Company Advocates, nayo mu Kampala. Yakuuma omulimu gwe ogw'amateeka okutuusa mu 2001. Mu 1996 yavuganya ku kifo kya paalamenti mu Mwenge County South mu Disitulikiti y'e Kyenjojo. Yawangula era n’aweereza ng’omubaka wa Paalamenti mu kitundu ekyo okutuusa mu 2001. Mu 2002, yafuuka Omuwabuzi mu by'amateeka mu kkampuni ye ey’amateeka nga kati erinnya lyayo lyakyuka nelifulibwa Kateeba, Runyangira & Kajara Advocates. Mu 2006, yaddamu okufuna ekifo kya paalamenti ekya Mwenge County South. Era yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa lwe yalondebwa ku kifo kya kabineti ky’alimu kati mu Gwokubiri 2009. Mu 2011, yaddamu okulondebwa mu paalamenti.[4]

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Aston Kajara mufumbo. Anyumirwa nnyo emikutu gy'empuliziganya, emizannyo n'okutambula.

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. Retrieved 16 March 2015.
  2. ↑ Uganda State House (1 March 2015). "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Daily Monitor (Kampala). Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 16 March 2015.
  3. ↑ Uganda State House (1 March 2015). "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Daily Monitor (Kampala). Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 16 March 2015.
  4. 1 2 3 "Profile of Kajara Aston Peterson, Member of Parliament for Mwenge County South, Kyenjojo District". Parliament of Uganda. 2011. Archived from the original on 2015-02-17. Retrieved 19 February 2015.

Ebijuliziddwamu wabweru wa Wikipidiya

[kyusa | kolera mu edit source]