Jump to content

Asuman Lubowa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Asuman Lubowa
Munayuganda omutendesi w'omupiira ogw'ebigere era omuseesa Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Omulimuassociation football coach Kyusa Wikidata

Asuman Lubowa Munnayuganda atendeka omupiira n'okugudukanya. Mu myaka gy'amazze ng'akola, Lubowa abadde aweereza mu bifo eby’enjawulo omuli ng’omutendesi, n'akulira eby'ekikugu.[1]

Emirimu gye n’ebiseera byeyamala ng'asamba omupiira

[kyusa | kolera mu edit source]

Lubowa yatandika okusamba omupiitra mu kiraabu za Uganda omwali Express FC, SC Villa, ne KCCA FC.[2]

Omulimu gw’obutendesi

[kyusa | kolera mu edit source]

Lubowa yamannyikiwa nnyo ng'omutendesi omukulu owa Uganda Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’omupiira, gye yabakulembera okutuuka ku buwanguzi bw'ekikopo kya CECAFA ekya 1996 mu Sudan.[3][4] Nga tannatuuka ku buwanguzi buno, yatendekako ttiimu ya Uganda eyabali wansi w'emyaka 23 emannyikiddwa nga Kobs, n'agitwala paka ku fayinolo z'ekikopo kya CECAFA eya 1995.

Mu mupiira gwa kiraabu, Lubowa yatendekako ttiimu nga Express FC,[5] UMEME FC eyaggalwawo ku nkomerero y’emyaka gya 1990, Police FC,[6][7][8] SC Villa,[9][10][11] ne KCCA FC, wamu n’okukola emirimu n’ebitongole ebirala nga Posta ne Uganda Airlines.[2][12] Wansi w'obulagirizi bwe, Police FC yawangula liigi y'eggwanga mu 2005, neekomekereza ejoogo lya SC Villa eyali yeefuze liigi. Police FC yakuba SC Villa ggoolo 3 - 1 ku penati mu kisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole.[13][14][15]

Egy’okuddukanya emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2009, yalondebwa ku bw'akulira eby'ekikugu mu kibiina ekifuga omupiira mu ggwanga (FUFA). Yaweereza okumala kumpi emyaka 10, ng’obuvunaanyizibwa bwe bwali kulabirira pulogulaamu ez’ekikugu, okukwatagana n’ebigendererwa bya FIFA eby’enkulaakulana, n’okutumbula omupiira okuviira ddala wansi okwetoloola eggwanga.[16][17][18][19][20][21] [ <span title="This claim has too many footnotes for reading to be smooth. (November 2024)">ebijuliziddwa ebisukkiridde</span> ]

Mu kiseera kye, Lubowa yakolera ku nteekateeka z'ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'omupiira munsi yonna (FIFA) okulaba ez'okulaba nga bakulakulanya omupiira okuviira ddala wansi ku byalo, eyali egenderera abaana abali wakati w’emyaka 6-12 ng’esira baasinga kuliteeka masomero n'eb'ebitundu okwetabamu. Yawummula okuva mu FUFA mu Gwokubiri 2018.[22][23]

By'eyenyigiddemu gye buvuddeko

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwokubiri 2019, Lubowa yalondebwa okukulira eby'ekikugu ku ttiimu ya Ndejje University ey'omupiira[24][25]

Okusoomoozebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Lubowa yalekulira obutendesi bwa Uganda Cranes mu 1999 ng’agamba yali tayambibwako kibiina ekifuga omupiira mu ggwanga ekya (FUFA). Okusalawo kuno kwajja oluvannyuma lw’okweyongera okwetamwa olw’ebikozesebwa ebitono n’okusoomoozebwa mu by'okudukanya emirimu, byeyagamba nti byamulemesa okulaba ng'agyamu ebibala ebirungi.[26][27]

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Isabirye, David (2018-02-14). "FUFA Technical Director retires". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  2. 1 2 Isabirye, David (2019-02-19). "Ndejje University FC appoints former Uganda Cranes head coach as T.D". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  3. ↑ "Ugandan football's version of the brain drain – what if? | The Touchline Sports" (in American English). 2020-06-26. Retrieved 2024-11-20.
  4. ↑ Editor, Editor (2011). "The tacticians who have taken charge of Cranes". {{cite news}}: |last= has generic name (help)
  5. ↑ "Express falters again". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-11-20.
  6. ↑ "Easy start for Police". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-11-20.
  7. ↑ Marsha, Ahmed (2014-09-11). "Two goal hero Massa pays his former coach a visit at FUFA House". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  8. ↑ Mwaule, Anthony (2022-05-14). "Busoga, BUL connive to dump Police into Big League cell". Busoga Today (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  9. ↑ "Lubowa to ‘help’ Villa". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-11-20.
  10. ↑ "Lubowa considers retirement from coaching". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-11-20.
  11. ↑ Kawalya, Brian (2019-06-17). "Coach Alex Isabirye Remains Tight-Lipped Over Villa Speculation". Live from ground (in Lungereza). Retrieved 2024-11-20.
  12. ↑ Kiwanuka, Katongole (2005). "Police FC Coach eager to defeat DRC Kabasha".
  13. ↑ Katongole, George (2020-05-03). "Were Police FC the best in the 2005 Uganda Super League?". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  14. ↑ Zziwa, Hassan Badru (2022-04-19). "When Police FC tragically lost four players in 1976". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-20.
  15. ↑ Zziwa, Hassan Badru (2022-04-19). "When Police FC tragically lost four players in 1976". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-20.
  16. ↑ Najib, Mulema (2017-10-19). "FUFA calls for Uganda Cranes coaching job applicants". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-20.
  17. ↑ "COACHING: 30 Ugandan Coaches Start FIFA Member Association Coaching Course at Njeru | PressReleasePoint". www.pressreleasepoint.com (in Lungereza). Archived from the original on 2026-04-18. Retrieved 2024-11-20.
  18. ↑ Marsha, Ahmed (2016-01-27). "Lubowa attends Technical Directors' course in Malawi". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  19. ↑ "We can do a lot more, says FUFA technical boss". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-11-20.
  20. ↑ Najib, Mulema (2017-01-31). "FUFA calls coaches for level one licence course". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-20.
  21. ↑ Najib, Mulema (2017-01-31). "FUFA calls coaches for level one licence course". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-20.
  22. ↑ Marsha, Ahmed (2014-09-15). "Grassroots football launched in Uganda". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  23. ↑ Marsha, Ahmed (2014-05-19). "ARS 4: FUFA technical director Asuman Lubowa impressed by grassroot talents". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  24. ↑ EDITOR, SHABAN LUBEGA | PML Daily DEPUTY (2019-02-19). "Ndejje University appoint Asuman Lubowa as Technical Director - PML Daily" (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  25. ↑ Owori, Eric Eron (2019-04-23). "Ndejje University FC Vs KCCA FC". Uganda Premier League - Official Website (in American English). Retrieved 2024-11-20.
  26. ↑ Tegusulwa, Innocent (2006). "Villa Park Closes in on Deal with Asuman Lubowa".
  27. ↑ Mwanguhya, Andrew (2010). "Coaches wonder what to do to keep jobs".