Ateker Ejalu
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Yazaalibwa nga | 15 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1939 | |
| Olunaku lwe yafa | 20 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 2008 | |
| Omulimu | civil servant | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Uganda People's Congress | |
John Ateker Ejalu (15 Ogwomukaaga 1939 – 20 Ogwekkumineebiri 2008) yali munnamawulire era munnabyabufuzi Omunnayuganda. Yaweereza nga Minisita w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga mu Uganda okuva mu Gwokuna okutuuka mu Gwomukaaga 1979, era okuva olwo yaliko Minisita w’enkolagana mu bitundu okutuuka mu Gwekkuminoogumu 1979.
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ateker Ejalu yazaalibwa nga 15 Ogwomukaaga 1939 nga taata we mu Kumam ate nga maama we mu Iteso . Yabatizibwa mu Klezia Katolika era n’aweebwa erinnya ly’Ekikristaayo erya Johnson, kyokka oluvannyuma n’abatizibwa mu kkanisa y’Abakristaayo nga John.[1] Okuva mu 1961 okutuuka mu 1967 yaweereza ng'omuwandiisi w'ekibiina ekigatta abayizi ekya Uganda Students Association mu Bungereza era n'afulumya olupapula lwakyo olwa UGASSO . Bwe yali mu Bungereza yatandikawo ettabi ly’ekibiina kya Uganda People’s Congress (UPC) era n’aweereza ng’omusunsuzi w’emu ku magazini zaayo eya The Vanguard . Mu 1965 yalondebwa okuba pulezidenti w’olukiiko lw’ebibiina bya Africa mu Bungereza ne Ireland. Omwaka ogwaddako yafuulibwa omumyuka w’omuwandiisi ow’abayizi Abannayuganda mu Bulaaya.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ejalu yaweereza ng'omunoonyereza wa Pulezidenti Milton Obote okumala kumpi omwaka mulamba nga tannalondebwa kubeera musunsuzi wa lupapula lwa People ' s Newspaper . Mu Gwomukaaga 1970 Ejalu yafuulibwa omusunsuzi wa Uganda Argus, bw'atyo n'afuuka maneja waayo Omunnayuganda eyasooka. Yaweereza mu kifo ekyo okutuusa Idi Amin lwe yawamba Obote mu 1971 n’akwata obuyinza. Nga 17 Ogwokuna yafuuka omusibe w'ebyobufuzi eyasooka okusibibwa Amin bwe yakwatibwa n'asibibwa mu kkomera ly'e Makindye. Mu Gwokusatu 1972, ba agenti ba Amin baamuggya mu maka ge ne bamukuba nga bamutangira okuwagira Obote. Oluvannyuma yafuuka omuwagizi w'ekibiina ekirwanyisa Amin, n'ayingira mu kibiina kya Save Uganda Movement (SUM) n'agenda mu Arusha, Tanzania. Mu 1977 gavumenti ya Tanzania yakkiriza okuwa emmundu n’okutendeka abamu ku bayeekera ba SUM, era pulogulaamu yategekebwa Ejalu n’abakungu ba Tanzania.
Nga 11 Ogwokuna 1979 Pulezidenti Yusuf Lule yalonda Ejalu nga Minisita w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga. Lule yasikizibwa Godfrey Binaisa, eyalonda Ejalu Minisita w’enkolagana mu bitundu nga 25 Ogwomukaaga. Nga 20 Ogwekkuminoogumu, Binasia yamuggya ku kifo kino n'amufuula Omubaka mu Japan. Ejalu yagaana okugenda ebweru w’eggwanga okutwala ekifo kino.[1] Obote bwe yakomawo mu buyinza mu 1980, yalondebwa okuba Managing Director w'ekitongole ky'eggaali y'omukka ekya Uganda Railways Corporation. Oluvannyuma yalekulira mu 1985, nga Obote tannaddamu kuwambibwa. [1]
Yoweri Museveni bwe yakwata obuyinza mu 1986, Ejalu yaddukira mu buwanganguse e Kenya. Yakomawo mu 1987 ng’akabonero k’okutabagana, Museveni n’amulonda nga Minisita omubeezi.[2] Oluvannyuma lw'ekiseera nga waliwo olutalo lw'omunda n'obuyeekera, endagaano y'emirembe yatuukibwako mu 1988 wakati wa gavumenti eyakulemberwa ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) n'ekibiina ekijeemu ekya Uganda People's Democratic Movement (UPDM). Nga Minisita omubeezi, Ejalu yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukkakkanya ebitundu ebirimu entalo era n’aweebwa omulimu gw’okumaliriza enteeseganya ne UPDM. Mu Gwomunaana 1989 yagenda e London okusisinkana abakulembeze b’ekibiina kino. Kaweefube we yaleeta okussa omukono ku ndagaano ya Addis Ababa nga 13 Ogwomusanvu 1990. Olwo n’assa essira ku kutuuka ku kutabagana n’abalala abawakanya ebyobufuzi, era n’asobola okumatiza abawerako ku bo okudda mu Uganda. Omwaka ogwo era yalonda bammemba b'akakiiko ka Pulezidenti aka Teso, akaatuuka bulungi okuteesa okukendeeza ku buyeekera bw'e Teso.
Obulamu obw’oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2008 Ejalu yalwala obulwadde bwa meningitis. Nga 14 Ogwekkuminoogumu yaleetebwa mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala. Nga wayise ennaku nnya Ejalu yasindikibwa mu ddwaaliro lya The Nairobi Hospital. Yafiirayo nga 20 Ogwekkumineebiri 2008.[3] Olw'ekiragiro kya Pulezidenti Museveni, Ejalu yaweebwa okuziika kw'eggwanga okutongole. Yaziikibwa mu Otatai, Ggombolola lye Asuret, Disitulikiti y'e Soroti nga 23 Ogwekkumineebiri 2008.[4]
Obulamu bw'oluvanyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2008 Ejalu yalwala obulwadde bwa meningitis. Nga 14 Ogwokkuminogumu yaleetebwa mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala . Nga wayise ennaku nnya Ejalu yasindikibwa mu ddwaaliro lya The Nairobi Hospital . Yafiirayo nga 20 Ogwokkuminebiri 2008. [5] Olw'ekiragiro kya Pulezidenti Museveni, Ejalu yazikibwa gavumenti. Yaziikibwa mu Otatai, Asuret Sub-County, Disitulikiti y'e Soroti nga 23 Ogwekkuminebiri 2008. [6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 Kakembo, Titus; Ssenkaaba, Stephen (23 December 2008). "Farewell to a statesman who fought for unity". New Vision. Archived from the original on 23 December 2018. Retrieved 23 December 2018. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "farewell" defined multiple times with different content. - ↑ "Rehuffle reflects need for broad base". African Concord. 1987.
- ↑ Businge, Conoan (20 December 2008). "Ex-minister Ateker Ejalu is dead". New Vision. Archived from the original on 24 December 2018. Retrieved 23 December 2018.
- ↑ Omoding, John (27 December 2008). "Uganda: Ateker Ejalu Honoured With State Funeral". Allafrica.com. Retrieved 23 December 2018.
- ↑ Businge, Conoan (20 December 2008). "Ex-minister Ateker Ejalu is dead". New Vision. Archived from the original on 24 December 2018. Retrieved 23 December 2018.
- ↑ Omoding, John (27 December 2008). "Uganda: Ateker Ejalu Honoured With State Funeral". Allafrica.com. Retrieved 23 December 2018.