Atomu =akaziba (atom)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Weetegereze Muwanga ky'agamba nti "Akaziba" =atomu ate era "atomu" = akaziba(atom)

Okutuuka ku mulamwa gwa sayansi guno mu Luganda, tweyambisa engeri bbiri:

(i) Okwewola: Twewola atomu eky'olungerza ne tukiyita n'okukiwandiika nga "atomu" mu Luganda.

(ii) Tugaziya amakulu g'ebuziba(far away or very minute). Bw'oba tokiyise "atomu" oyinza okukiyita "akaziba" oba "obuziba" mu bungi.

Okukiyita akaziba kitegeeza nti "kali wala nnyo n'obusobozi bw'eriiso eriri obukunya okukalaba". Eriiso liba lyetaagisa "enzimbulukusa".

"Enzimbulukusa"(Microscope)m eba "ennyanguyirizi ezimbulukusa" ekintu kisobole okulabikira eriiso.

Akaziba bwe kaba nga kategeeza atomu , tusobola okufuna emiramwa emirala egyetaagisa egya sayansi ez'ensibo nga:

(a) Essomabuziba (Chemistry)

(b)Ekikyusabuziba(chemical reaction). Kino kiva mu bigambo by'oluganda " ekikolwa ekikyusa obuziba" the act of changing an atom's electronic configuration).

(c) Enkyukakyuka ez'obuziba (Chemical change)

(d) Enkyusabuziba (Chemicals)

Atomu bw'eba nga etegeeza kaziba(atomu), tusobola okufuna emiramwa emirala egya sayansi nga :

(a) Vatomu (ion). Vatomu kiraga atomu ebaddemu ekikolwa eky'okuva kw'oobusannyalazo. Vatomu eba atomu oba akaziba akaviiriddwako oba akayingiza obusannyalazo, ekintu ekiviirako enkyukakyuka ez'obuziba.

(b)Vatone (Negative ion) .Weetegereze : Vatomu + negatiivu =Vatone

(c) Vatopo (Cat ion). Weetegereze : vatomu + pozitiivu = Vatopo

(d)Okuvaatisa (to ionize atoms ). Kino ky'ekikolwa ekiviirako okuva kw'obusannyalazo mu kaziba( mu atomu)

(e)Ekivaatiso(ionization).Eno y,embeera ennyonnyola ekikolwa eky'okuvaatiso.

Soma ku mulamwa : "ekiyayaano"(valency"